TOP

Z’okola zikuyita mu ngalo?

Added 15th September 2009

Bizinensi endala zitandikibwawo nga bwe zigwa! Kyayingira ne ku ssente, amaka mangi gafuna ssente ne zigaggwaako oluvannyuma lw’emyaka mitono.

Amaka agalina ssente ez’olubeerera, eziyinza okusalikako naye nga zisigalawo matono ddala.

Olabira na ku bizinensi z’amaduuka. Om

Bizinensi endala zitandikibwawo nga bwe zigwa! Kyayingira ne ku ssente, amaka mangi gafuna ssente ne zigaggwaako oluvannyuma lw’emyaka mitono.

Amaka agalina ssente ez’olubeerera, eziyinza okusalikako naye nga zisigalawo matono ddala.

Olabira na ku bizinensi z’amaduuka. Omusuubuzi gw’obadde olowooza nti mututumufu, ng’alina edduuka erijjudde mu mwaka gumu liba ligudde!

Weebuuze nti lwaki abantu abamu bafuna obugagga obw’olubeerera, kyokka abalala ne badooba n’ensimbi obulamu bwabwe bwonna?

Abakugu bagamba nti okukuuma obugagga bwo kiva ku ngeri gy’okwatamu ssente z’olina.
Ebintu by’olina okuba nabyo okukuuma obugagga mulimu engeri y’okukwata obwo bw’ofunye, okumanya engeri y’okubuzaaza bwale wamu n’okuyiga okukwata ssente.
Abakugu bawa engerui ttaano mw’oba oyita okukuuma obugagga bwo.

lLowooza ku biyinza okutwala obugagga bwo era obisalire amagezi nga tebinnabaawo.
Okugeza, bw’oba ogenda okuyiwa ssente mu bizinensi gy’olowooza nti ejja kwongera ku bugagga bwo, kimanye nti eyinza okulaba oba okukufiiririra, era osale mangu amagezi singa kibaawo. Lowooza mu ngeri eno:

- Kiki ekiyinza okubaawo singa bizinensi enfiiririra?
- Emikisa giri emeka nti bizinensi gye ntandise eyinza okugwa ne nfiirwa ssente zange?
- Nnina bigendererwa ki? Nnyinza okugenda mu maaso ne bizinensi eno ekijja kijje?

lWeetegekere olunaku lw’oliba nga tokola
Ndaba abantu bangi nga ssente ze bakola ze balya. Abamu bakyewaaniramu nti ‘ezange zannema okutereka!’

Bw’oba okola mu katale, ng’oli musomesa, ng’osiika capati oba ng’oli mulaalo, ssente z’okola fissaawo z’oba otereka.

Bw’oba okola mu katale nga buli lunaku otereka 500/-, mu mwezi ziba 15,000/-, mu mwaka ziba 180,000/-, mu myaka 10 ziba 1,800,000/-.

Ggwe ky’olina okukola kwe kulowooza bbanga ki ly’ojja okukolera, ogezeeko okugabanyaamu ssente mmeka ze weetaaga okutereka buli lunaku (oba buli mwezi).

Mu ngeri eno bw’oba oguze ettaka, ng’ozimbye ebizimbe oba ng’olina ebintu ebikalu tojja kubitunda ng’omulimu guweddewo kuba ojja kuba olina z’olyako.

lTegekera okufa kwo
Olaba bizinensi mmeka ezigwa olwa nnyini yo okufa? Kino kiva mu kuba nti bwe yali omulamu teyafaayo kugitegeka esobole okubaawo ng’afudde. Kola ekiraamo, laga ani gw’olekedde bizinensi ate ofube okumutendeka okugiddukanya bw’oba ovuddewo.

Bameka abeesamba abeng’anda zaabwe, omuli n’abaana kyokka bwe bafa abaana bizinensi ne bagisuula kubanga tebamanyi kugiddukanya?

Oluusi ab’emikwano b’obadde weesiga bagibbamu ebintu ne bagisuula! Lwaki Abayindi basobola okukola bizinensi n’esigala mu famire yaabwe nga ggwe Omuganda tokisobola?

lKyusa endowooza yo ku ssente.s Abantu bangi oyinza okumanya ng’afunye ku ssente kuba endowooza ye, entambula, ennyambala n’enneeyisa bikyuka!
Yiga engeri gy’okwatamu ssente, tozifuula kkomera ate tezikumalaamu.

lBw’ofuna ssente ennyingi ate n’ozidiibuuda, n’otozeeguya era obugagga bujja kukoma awo. Buli kiseera fuba okuyiiya engeri y’okwongera ku bugagga bwo. Kino bw’otokikola era bujja kuggwaawo kuba obutoolako awatali kuzzaawo.

Z’okola zikuyita mu ngalo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...