TOP

Abajapan baleeta bbaasi ezitanywa mafuta

Added 9th September 2009

Bbaasi zino ezikozesa bbaatule  zaakutuuka mu ggwanga mu 2010.

Kino kiddiridde ekibinja ky’Abajapan okuva mu yunivasite y’e KEIO abaakoze tekinologiya wa bbaasi zino okukyalako mu Uganda wiiki ewedde ne banoonyereza ku mbeera y’enguudo za muno wamu n’okuteesa ne minisitule y’eb

Bbaasi zino ezikozesa bbaatule  zaakutuuka mu ggwanga mu 2010.

Kino kiddiridde ekibinja ky’Abajapan okuva mu yunivasite y’e KEIO abaakoze tekinologiya wa bbaasi zino okukyalako mu Uganda wiiki ewedde ne banoonyereza ku mbeera y’enguudo za muno wamu n’okuteesa ne minisitule y’ebyenguudo n’ebyetambula, abaddukanya bbaasi n’ekibiina ekigatta baddereeva ba bbaasi (UBDA) ne babannyonnyola bbaasi zino bwe zigenda okukola.

Polof. Hiroshi Shimizu  eyakulembedde ekibinja ky’Abajapan yagambye  nti okuyiiza tekinologiya wa bbaasi ono kivudde ku bbula n’obuseere bw’amafuta ku katale k’ensi yonna.

“Mu kifo ky’amasundiro g’amafuta  tugenda kussaawo bifo we bacaajingira bbaatule zaazo.
Kino kijja kugonza nnyi entambula mu ggwanga,”  Polof. Hiroshi bwe yagambye.
Agamba nti Gavumenti ya Japan yabassaamu ssente okulongoosa tekinologiya wa bbaasi oluvannyuma bamunoonyeze akatale mu nsi yonna.

“ Mmotoka zino tezivaamu ddoboozi yadde omukka. Zigenda kuyamba okutaasa obutonde bw’ensi,” Hiroshi bwe  yagasseeko

 Okusinziira ku ndabika ya bbaasi zino, zaazuuliddwa nga nnyimpi , zeetaaga okwongera okusitulamu okusobola okugimira embeera y’ebinnya n’enkonko ebiri mu nguudo za Uganda.

Bbaasi  bwe zissibwako bbaatule ezijjudde omuliro zisobola okutambula kiromita 300 wabula nga ziddukira ku sipiidi 180 buli ssaawa. Na kino  balina okukisalira amagezi  kuba tewali wayinza kuvugirwa ku misinde gino ku nguudo za Uganda.

 Yunusu Kiggundu, ssentebe w’ekibiina ekigatta  baddereeva ba bbaasi mu ggwanga ekya United Bus Drivers’ Association (UBDA) yagambye nti okusobola okutuukiriza kino Abajapan balina okusooka okutwala abamu ku bali mu mulimu guno mu Japan okwongera okwetegereza enkola ya bbaasi zino

“Kituufu bbaasi zino zijjidde mu kiseera eggwanga we libadde lisinga okuzeetaagira olw’obuseere bw’amafuta. Tugenda kukolaganira n’Abajapan bano okulaba nga kino kituukirira,”Kiggundu bwe yagasseeko.

Abajapan baleeta bbaasi ezitanywa mafuta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...