Bya ALI KIZZA
Omusumba Paul Semwogerere ow’e ssaza lya Kasana Luweero ng’ali mu kitambiro kya Mmisa ku mukolo gw’okutongoza Omwaka gw’Okukkiriza ku Klezia e Kapeeka.
ABAKATOLIKI mu ssaza lya Kasana Luweero batongozza ‘Omwaka gw'okukkiriza’ ku mukolo ogusombodde abakkiriza okuva mu bitundu eby'enjawulo mu ssaza lino.
Omukolo gw'okutongoza omwaka guno gwatandise n'olusirika lw'abakulu oluvannyuma ne wabaawo okusimba ennyiriri okwatandikidde ku ssomero lya Standard High School e Kapeeka ne kukomekkerezebwa ku Klezia ya Kapeeka emikolo we gyategekeddwa.
Abakristu nga bakutte emisubbaawa egyakoleezeddwa okulaga ekitangaala ekipya
Omusumba w'essaza lya Kasana Luwero Bp. Paul Semwogerere ye yakulidde okutongoza omwaka gw'okukkiriza. Yasinzidde mu kitambiro kya Mmisa n’ategeeza nti, “Omwaka guno gwalangirirwa Paapa Benedicto oluvannyuma lw'okusisinkana abasumba ab'enjawulo.
Paapa yalangirira ‘Omwaka gw'Okukkiriza’ nga gwatandika nga October 11, omwaka guno era nga gwakuggwa nga Novemmber 24, 2013.”
Omusumba Ssemwogerere yagambye nti, ekigendererwa ky'Omwaka gw'Okukkiriza kya kuzza buggya nkolagana n'okukkiriza kw'Abakristu. Yayongeddeko nti mu mwaka guno Abakatoliki basaanidde okusoma n'okusomesa bayibuli buli lunaku naddala mu bibinja, okufuba okuyingiza abantu abalala Obukristu nga batambuza enjiri n'okuva ku bintu ebirala byonna wabula basinze Yezu buli kadde era wagenda kubaawo n'okufuna amasakalamentu buli lunaku.
Bannaddiini nga bakutte amasala oluvannyuma lw’okutongoza Omwaka gw’Okukkiriza.
Abakatoliki abeetabye ku mukolo bonna baawereddwa emisubbaawa egyakoleezeddwa ne giwanikibwa ne wabaawo okusaba okw’enjawulo ng'akabonero akalaga omwaka omupya ogutandise. Waabaddewo okusembera oluvannyuma Abkristu ne bagabulwa ekijjulo.
Amasaza 17 agasangibwa mu Kapeeka gonna gaakiikiriddwa ku mukolo guno ogwetaabiddwaako ne bafaaza abaavudde mu mawanga nga Kenya ne Yitale.
Kasana Luweero batongozza omwaka gw’okukkiriza mu Klezia