Bya HAFSWA NANKANJA
Abamu ku babiikira b’ekigo ky’e Kapeeka mu nnyambala yaabwe eyeefanaanyirizaako eya Bikira Maria.
ABAKAZI okwebikkirira kye kimu ku bintu ebikulu mu ddiini ezimu era nga bakikuuma butiribiri okulaba nga bakitwala mu maaso. Bukedde ku Ssande atunuulidde eddiini eziragira abakazi okwebikkirira ku mitwe lwaki bakikola era bannyonnyodde bwe bati:
Msgr. Wynad Katende wa Klezia Katolika:
Okwebikkirira ku mitwe oba okussaako ekikoofiira kiweesa omukazi ekitiibwa. Eyo mpisa gye tuleka naye nga twandigikoppye olw’ekitiibwa ekigirimu era n’Abayudaaya wadde si Basiraamu, beebikka.
Eky’okulabirako kye kya Bikira Maria. Kino kimuweesa ekitiibwa n’enkizo mu bantu era n’abakazi abalala bonna bandikikoppye nabo ne baba n’ekitiibwa. Omukazi alina okwewunda mu ngeri emuweesa ekitiibwa. Wabula omukazi yenna eyeewundira Katonda we nga Bikira Maria, ekyambalo kye kijjumbirwa Omukazi wa ddembe okwebikka singa ategeera obukulu n’ekitiibwa kyakyo. Enkola y’abaweereza mu Klezia yaakatandika naye tetunnasalawo ngeri gye balina kwebikkamu.
Omulabirizi w’e Mityana eyawummula, Bp. Wilson Mutebi:
Abalabirizi ne bakyala baabwe tubadde mu lukung’aana ne tusalawo ku nsonga y’okwambala naddala ku bagole. Okuleka ebifuba, amabeere n’emigogo wabweru ate n’ojja mu maaso ga Katonda tetukiwagira era tukivumirira.
Enjigiriza ey’obutalaga bwereere ku bakazi oba toyambadde bulungi. Omukyala yenna bw’ayambala obulungi okuviira ddala ku mutwe n’engoye empanvu, olaga obuvunaanyizibwa n’ekitiibwa. Tekirina kukoma mu Kkanisa yokka, wabula ne bwe muba nga muli mu maka gammwe mu kifo omuntu omulala atali balo w’akulabira kikuyamba obuteesittaza balala.
Shiekh Mahmood Kibaate, amyuka Spreme Mufti wa Uganda:
“Okwebikkirira si nnyambala ya Bawalabu ng'abantu abalala bwe bakitwala. Lino tteeka okuva eri Allah. Oluvannyuma lwa Nabbi Muhammad (SAW) okuweebwa obubaka, Allah yagenda amuwa amateeka n'ebiragiro ebikwatagana n'Obusiraamu. Amateeka gano nga gaakugobererwa naffe abagoberezi be. Mu gamu ku mateeka mwe mwali n'eryo erikwata ku nnyambala eryakkira mu Quaran sulat Al-Ahzaabu aya 59. Etteeka lino ligamba nti, "Owange gwe Nabbi Muhammadi (SAW) gamba bakyala bo, abaana bo ne bakyala b'abakkiriza bambale ekyambalo kye bayita jiribaabu (ekikaaya).
Etteeka lino lyagenda okukka nga waliwo abakyala bangi abawalabu abasiraamu nga bambala nga bwe basanze olwo Allah ky'ava atuwa ennyambala eneeweesa omukyala ekitiibwa.
Ekimu ku bintu ebiraga obwetowaze bw'omukyala eri Allah kwe kwebikkirira. Omukyala yenna omukkiriza, kimukakatako obutafuluma nju ye okuggyako nga yeebikkiridde. Ne bw'aba mu bantu abatamuzira kufumbirwa ateekeddwa okwebikkirira okuva ku mutwe ppaka ku kagere akasembayo.”
Fr. Nicholas Bayego ow'ekigo ky'e Namung’oona mu Basodokisi.
“Okwebikkirira kya kitiibwa eri omukyala. Omukyala yenna bw'aba yeebisse aweebwa ekitiibwa era ky'ova olaba ng’Abayudaaya beebikka lwa nsonga nti omukazi asinga okutiibwa ye Biikira Maria naye yali yeebikkirira. bayudaaya nabo baagezaako okukoppa Ennyambala ye nabo babeere n'ekitiibwa. Akalombolombo ako naffe tugezaako okukakoppa era ababiikira baffe beebikka. Yenna ayagala okweyisa nga Biikira Maria, waddembe era kisanyikirwa nnyo kubanga abeera amaze okwewa ekitiIbwa n'abamulaba tebamunafuya.”
Abakazi balina okwebikkirira okuva ku mutwe - bannaddiini