TOP

Ab'Ekkanisa ya Makaayi bajaguzza emyaka 100

Added 27th January 2013

EMYAKA giweze 135 bukya omuminsane Makayi atandika kusomesa Bukrisitaayo mu Uganda. Empuku mwe yasomesezanga abantu e Nateete ekyaliwo era yafuuka kyabulambuzi.

BYA MATHIAS MAZINGA

EMYAKA giweze 135 bukya omuminsane Makayi atandika kusomesa Bukrisitaayo mu Uganda. Empuku mwe yasomesezanga abantu e Nateete ekyaliwo era yafuuka kyabulambuzi.

Mu kifo kino awali empuku Makaayi we yasima oluzzi, ng’akamu ku bumasu okukwasa abantu abayigirize eddiini era bwe bajjanga ng’abaliisa enjiri. Empuku eno, Ekkanisa yagirongoosa, okusobola okugikuuma.

Oluzzi luyitibwa Makaayi, oba Oluzzi lw’omukisa nalwo lwalongoosebwa ne mussibwamu emidumu. Ate wakati w’oluzzi n’empuku we wali omuti abagoberezi ba Makaayi gwe beeyambisanga okuketta abambowa abaalinga babayigganya era nagwo gukyaliwo.

Nateete Martyrs Church gye yazimbibwa: Rev. Samuel Kalibbala Ssaalongo, ye bwanamukulu annyonnyola bwati:

“Makaayi nga yaakatuuka wano, yakunga abagoberezi be okuzimba Ekkanisa. Baazimba Ekkanisa nga ssatu ez’essubi n’akadongo era zaagendanga zigwa. Waliwo pulaani gye yava nayo e Tanzania era y’Ekkanisa eyazimbibwa n’okutuusa kati tekyusibwanga.

Kkanisa eno Abakristaayo baamaliriza okugizimba mu 1912. Ng’oggyeeko eky’okuba nti, tuzze tugyiddaabiriza, buli bintu ebigiriko, okugeza amabaati ne bbulooka, by’ebyo ebyagiteekebwako emyaka 100 egiyise.”

Enjawulo eriwo wakati wa Nateete Martyrs Church ne Busega Martyrs’ Church:

Paddy Kityo, eyakulidde enteekateeka z’ebijaguzo, annyonnyola nti: Wano ky’ekifo eddiini we yatandikira okusomesebwa. Abajulizi abasooka, Yusuf Lugalama, Noah Sserwanga ne Marko Kakumba baabagya wano okubatwala e Busega gye baabattira mu 1884.

Olw’okuba abajulizi baabagya wano, ne babattira e Busega, Ekkanisa zino zombi kye ziva ziyitibwa ez’Abajulizi (Martyrs’ Church).

Ekkanisa empya ezimbibwa: Robert Ssemakula y’emuwandiisi w’olukiiko lw’Abakuristaayo. Annyonnyola:

“Ekkanisa yaffe enkadde ekyali ngumu wabula Abakristaayo tweyongedde obungi. Twasalawo tuzimbe Ekkanisa ennene, ey’omulembe esobola okutuuza abantu nga 3,000. Yaakutumalako obuwumbi nga busatu. Tusaba ab’omwoyo omulungi batudduukirire n’obuyambi bw’ensimbi.

Richard Ngombe Mwesigwa asula ku ttaka lya kkanisa: “Ekkanisa ekuumye bulungi empuku ya Makaayi ne pulaani y’Ekkanisa, ebyongera okutujjukiza entandikwa y’okukkiriza kwaffe.

Ekyapa Makaayi kye yakozesa ng’akyusa enjiri ya Matayo mu Luganda nakyo kikyakuumibwa mu myuziyamu. Ebyuma bye yakozesanga okubagya nabyo bikyaliwo e Budo.

Eve Nsubuga omukulembeze w’Abakristaayo: “Twebaza Katonda olw’emyaka 135 egy’Obukristaayo n’ebyenjigiriza, ebyatandikira mu kifo kino. Nga tuyita mu Ssaabasajja Kabaka Mutebi II, tusiima nnyo Obwakabaka bwa Buganda olw’okutuwa ettaka (yiika 40) okutudde Ekkanisa n’amasomero nga Mackay Memorial Primary School ne Makaayi College.

Ab’Ekkanisa ya Makaayi bajaguzza emyaka 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...