TOP

Sisinkana Mayanja Njuki: Munnamawulire wa Amin

Added 15th April 2013

Alojja obulamu bw''okuba omumwa gwa Pulezidenti

 

 

 

 

Bya Hasifah Naava

EYALI Pulezidenti wa Uganda Idi Amin yawambibwa April 11, 1979 Abakomboozi abaava e Tanzania.

Ate ye Amin yawamba Milton Obote mu 1971 era yasanga abantu beetamiddwa gavumenti ya Obote era yomu ku Pulezidenti abantu gwe bakyasinze okusanyukira okujja mu buyinza.

Nga bw'olaba Tamale Mirundi bw'ali omwogezi wa Pulezidenti Museveni twogedde ne Hajji Njuki Mayanja eyali munnamawulire wa Idi Amin n'ayogera by'amujjukirako.

"Nze omu ku be yatwala okuleeta ebyuma bya Satelite e Mpoma era ebimu twabiggya Girimaani, Bufalansa ne Amerika.

Mu 1975 yazimba Uganda House mu New York, okwo kwe yagatta okuzimba ebitebe bya Uganda mu Libya, Bufaransa era nga bino Paul Muwanga ye yabitunda nga bali mu lutalo.

Amin bwe yanyiiganga yayitangawo naye ekirungi ng'obusungu bwe bumuggwaako mangu era ng'olumu amanyi n’okukuba abakozi ebikonde nga kimuyitiriddeko.

Teyasirikiranga kimunyiizizza yakuyitanga n’akikugamba ne kiggweerawo ng'oli bw’amuleetera olugambo gw’olukozeeko amuyita n’akugamba obyogere nga waali.

Sirina lunaku lwe namulabako ng'atta omuntu bw’aba yakikola yakikola siriiwo mpozzi nga tasobola kutta muntu nga bannamawulire weetuli era bwe nkugamba nti alina gwe yatta nga ndaba mbeera nkulimbye.

Ebyenfuna mu kiseera kye byalinga birungi ate nga tewali mukozi wa gavumenti yeetantala kulya nguzi nga bw’olaba ennaku zino.

Emmwaanyi zaabeeranga ku ssente ate nga doola egula ssente 7 olwo pawunda n'egula 20/-.

Ebyamusanyusanga:
Yali musajja mudigize nga bw'atandika okudigida tomanya nti alina ensi yonna.

Hajji Njuki

Yayagala nnyo ebyemizannyo, emmotoka z’empaka, omupiira n'ebikonde ng'ebyo tebabimunyumiza ng'agenda e Nakivubo n'ayingira n'abyerabira.

Bannabyamizannyo ssente enkalu yazibaweerangawo nga bwe babeera balina balina eggwanga gye bagenda nga eby'ennyonyi y'abikolako era buli muzannyi takwatako mu nsawo ye ate ng'asasulwa olw'ekyo kye yabeeranga akoze ate nange buli kye namusaba yakimpa.
Lwe bamuwamba:
Ku lunaku lwe baamuwamba yadduka n'ava mu Kampala n'agenda era yakwata Jinja Road nga mu mmotoka mwe yali mwalimu situdiyo nnamba era nga y'agendanga awa obubaka ku leediyo y'eggwanga ne ku ttivi nga bituuka butereevu. Mu mmotoka ye mwalimu abasirikale


bataano nange munnamawulirewe nga tulina emmotoka ezaali zituvaako emabega ssatu nga zonna zijjudde abaserikale.

Nze nakoma Jinja ne bang'amba nsigale awo nkomyewo amawulire e Kampala. Kyokka nasigala mpuliziganya naye nga buli we batuuka bambuulira era kw'olwo baasula Arua.

Enkeera yeeyongerayo e Koboko eyo gye yava n'agenda e Libya gye yabeera okumala akaseera bwe baatabuka ne Gadaffi n'agenda e Saudi Arabia okutuusa Allah bw'amujjuludde mu nsi.

Wabula mukyalawe yali asigadde Zaire era yateranga okugenda e Zaire n'amulabako.

Enju ya Hajji Njuki esangibwa e Busega, Ekif; Hasfah Naava.

Okusoomoozebwa Tamale Mirundi kw'afuna:

Olw'ensonga nti ggwe oba omumwa n’amatu bya Pulezidenti omulimu guno si mwangu oluusi weekanga oyogedde ky'otandiyogedde.

Kale Mirundi alina okuba omwegendereza ennyo mu buli ky'afulumya nga tekimuviiramu buzibu okuva eri abantu abamuwuliriza ne gw'akiikirira yennyini.

Abantu bennyini boobeeramu tebabeerekamu buli omu abeera akulowooleza kikye era kirungi nnyo buli omu n'omutwalira mu ndowooza ye.

Abantu abasing balowooza ofuna ssente era olumu by'oyogera bayinza okulowooza nti wasasuddwa ate nga si bwe guli mmanyi gy'ayita byonna ebyo babimugamba ebisanyusa n'ebitasanyusa naye oba olina okubeera omukkakkamu n'okumanya okufuga obusungu olwo omalako

 


Mayanja Njuki: Munnamawulire wa Amin

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...