TOP

Wuuno Fiina wa Bugembe amukubya omutima be ttu ttu...!

Added 28th April 2013

OKWAGALA kulinga mwenge, bwe kukukwata obulwa amaanyi agakwetaasa. Ggwe tunuulira omusumba Wilson Bugembe. Okwagala kumuyuzizza emba okukkakkana ng’alidde mu ndago n’ayimba omulungi we Fiina gw’agamba nti amukubya omutima be ttu ttu!

 

 

 

 

Bya MUSASI WAFFE

OKWAGALA kulinga mwenge, bwe kukukwata obulwa amaanyi agakwetaasa. Ggwe tunuulira omusumba Wilson Bugembe. Okwagala kumuyuzizza emba okukkakkana ng’alidde mu ndago n’ayimba omulungi we Fiina gw’agamba nti amukubya omutima be ttu ttu!

Okumanya nga Bugembe ekitambo ky’okwagala kimutembye atuuse n’okulaajana nti Fiina ono (Sarafina) nti y’amulemesezza okuwasa ebbanga lino lyonna kubanga yekka gw’alinze okumumalako ennaku.

Fiina amukubya omutima

Bino biri mu luyimba lwe olupya lw’atuumye Sarafiina lwe yakwatidde vidiyo ku Lwokusatu ekiro ku kkanisa ye.

Musajja wa Katonda atuuse n’okuwanjaga nti alina ensonyi nnyingi abadde atya okumugamba bwatyo n’amutumira abantu abatali bamu naye nga mwanamuwala Fiina agugubye ky’avudde eby’okutuma abivaako ne yeesitukira.

Bugembe mu kuwanjaga kwe ng’omukwano gumutembye, ajjukira luvannyuma nti muyimbi wa nnyimba za ddiini bwatyo n’agezaako okuweta oluyimba alage nti abadde ayimba ku mukwano gwa Yesu ng’anoonya aboonoonyi.

Kyokka bw’owulira oluyimba luno kyeragirawo nti ebitundu byombi, ekya Fiina n’ekya Yesu tebikwatagana nti era Bugembe ajjukira luvannyuma okukookerako ekya Yesu ng’ayita aboonoonyi.

Oluyimba naawe lwewulirire ojja kukkaanya nange nti ddala Omusumba Bugembe alina omuwala amulya obwongo gw’ayatulira mu luyimba luno era ebya Yesu abijjukira luvannyuma.

Bugembe luno si lwe luyimba lw’asoose okuyimba ku muwala ali mu bulamu bwe. Olulala yayimba ku muwala gwe yayita Kani gwe yagamba nti yali amwagala okufa kyokka ng’asusse okwagala ensimbi.

Ku mulundi ogwo Bugembe oluyimba yalusiba bulungi n’alowoozesa abantu nti ayimba ku kkanisa ya Yesu wadde omuwala gwe yali ayimbako yavaayo n’ategeeza nti ddala kituufu Bugembe yli ajeeja ye mu luyimba olwo.

Kyokka ku luno omusumba Bugembe omukwano gumwabizza amatama era ajja kukisanga nga kizibu ddala okumatiza abantu nti ne ku luno ayimba ku mukwano gwa Yesu.

Mmwe abamanyi Fiina mumugambe nti ayambe Paasita amuggye mu nnaku nga tannamweyambuza kusinga bwe yakoze mu luyimba lwa Fiina.

Paasita Bugembe teyasobose kufunika kubaako ky’ayogera ku Fiina amukubya omutima.

 

Wuuno Fiina wa Bugembe amukubya omutima be ttu ttu...!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....