TOP

Omusuubuzi Wamala abaamutta bamulondodde n'e Magombe

Added 23rd July 2013

OMWAKA mulamba bukya eyali omusuubuzi w’omu Kampala Noah Wilberforce Wamala Ssendeeba atemulwa nga February 2,2012 wabula buli lw’agezaako okubaako by’ategeeza nnyina Perusi Nakintu Mulokole ow’e Kyamuliibwa mu Kalungu ng’abaako abamutangira.Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

OMWAKA mulamba bukya eyali omusuubuzi w’omu Kampala Noah Wilberforce Wamala Ssendeeba atemulwa nga February 2,2012 wabula buli lw’agezaako okubaako by’ategeeza nnyina Perusi Nakintu Mulokole ow’e Kyamuliibwa mu Kalungu ng’abaako abamutangira.

Nnyina Nakintu byonna abinyumya bwati: Guweze omwaka gumu n’emyezi etaano bukya mutabani wange Wamala atemulwa kyokka poliisi tezuulanga batemu bano ekintu ekyennyamiza.

Buli lwe ndoowooza ku mutabani ndaba nga n’emagombe gy’ali waliwo abamulondoola.

Abantu bankuumako okumala ennaku bwe baansiibula ebirowoozo ne bintandika okunneesomba ng’oluusi ndaba ng’anzijira mu bifaananyi.

Wabula buli lw’ajja abaako abasajja abamukutte, olumu yajja nga mmulaba ansemberere naye nga waliwo amukutte tamuganya kuntuukako.

Waliwo lwe yagezaako okwesika ansemberere ne bamulemesa nasisimuka tantuuseeko nga kw’olwo namulaba tetuli waka.

Omulundi omulala, teyantuukirira ng’amukutte amuvumbagidde ng’alinga omusibe ekyankakasa nti omwana wange aliko abamussaako eddagala aleme kwatula baamutta,olulala yaloosa muzzukulu ng’ansaba ndabirire abaana be.

Ennaku zino omwana Toofa Ssenkungu yaloose ng’ekisenge kyange kibikkuseeko akasolya bw’ansika okudda erudda ne kinzijukiza abandaalika okunjokera mu nju lwe nagendako e Kampala okugoberera emmaali ya Wamala.

Nafuna ekisulo mu bulago nga kiringa ekinsalirira obukiika ng’olunnaku kinsala enfunda ssatu okumala ebbanga okutuusa omusumba bwe yansabira ne kinvaako naye nga kyantiisa nnyo nti nange bagenda kunsala ng’omwana wange.

NAMUKADDE AGATTAKO EBIMUTADDE MU KUTYA:

Ekisinga okunneewuunyisa be bantu abeesibye ku mwana wange kuba basimba eddagala ku malaalo ge era buli lwe ndisangawo nga mpita omusumba ng’ajja n’asaba olumala n’abyokya.

Ekirala ambobbya omutwe y’omu ku bannamwandu ajja okulima ku biggya bya bba n’atambuuzaako.

Nagezaako olumu ne mmubuuza n’abantu be yajja nabo ky’akola ku malaalo g’omwana wange nga tasoose kubuuza b’awaka abagakuuma n’anziramu ng’akinagguka kwe kusalawo ne mbakubira enduulu.

Nze nneekuliza Wamala kitaawe Gaadi Wamala bwe yamungobya nga wa myaka ena era ne mu kuziika teyakolwako mikolo ng’abaana.

Omuzzukulu Prosscovia Najjemba by'agamba:Nali waka ng’obudde butandiikiriza okuziba ne ndaba taata ng’azze
avuga mmotoka n’avaamu n’abasajja abalala babiri. Nasooka kutyamu ne nzirukira emmanju.

Abasajja kwavaako omu n’ampita nti kitaawo ne nkomawo ne mugwa mu kafuba nga bwe mmubuuza nti ye ggwe taata, gwe twaziika okomyewo?

Wano jjajja w’ajjira n’abuuza nti ani oyo akaaba ye (taata) n’amuddamu nti, ‘Najjemba’ we nasisimukira.

Nazuukuka sirina maanyi naye ku basajja abo sirinaako gwe nategeera ate ye muganda wange Kirabo Muwuluzi yamuloosa ng’amugamba nti,

‘Mulowooza nti abanzita balala?’ we yakoma teyayongerako.

Amalaalo ge bagateekako eddagala okumusiba - Nnyina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?