TOP

Haa laba embooko y'e Wakiso

Added 25th August 2013

JENNIFER Namyalo 23, ye Miss Wkiso era omwolesi w’emisono y’omu ku bawala abaavuganya mu mpaka za Miss Uganda 2013 ezaakamalirizo. Muwala wa Oliver Christ Luwedde Nagawa n’omugenzi Bedan Kiberu naye ng’abeera wa jjajjaawe Margaret Kabenge e Masajja mu Wakiso.



Bya Martin Ndijjo

JENNIFER Namyalo 23, ye Miss Wkiso era omwolesi w’emisono y’omu ku bawala abaavuganya mu mpaka za Miss Uganda 2013 ezaakamalirizo. Muwala wa Oliver Christ Luwedde Nagawa n’omugenzi Bedan Kiberu naye ng’abeera  wa jjajjaawe Margaret Kabenge e Masajja mu Wakiso. Namusisinkanye era mu mboozi yaffe yagambye bwati:

Obulamu buli butya nnyabo?

Si bwa mulembe ndi mukoowu, ebitabo bimpuuba. Nsomera ku Multitech Business Institute njagala kuba mubaliririzi wa bitabo.

Ebitabo n’okwolesa emisono obikwataganya otya? 

Okwolesa emisono kuba kwa kiro ate ebitabo bya misana.

Kusoomozebwa ki kw’osanze mu misono?

Batusasula obusente butono ate okufuuna dizayina ow’erinnya si kyangu. 

Kiki ekyakusikiriza ovuganye mu mpaka za Miss Uganda?

Jjajja ye yampa amawulire nti, abategesi baagala abaagala okuvuganya n’ang’amaba ngende ngezeeko. Ekirala nayagala kulikozesa nga kkubo okutuukiriza ebimu ku birooto byange. Njagala nnyo abaana abato era nnumwa buli lwe ndaba omwana abonaabona ate lumu nakyalako ku Sanyu Babies Home ne ndaba obwetaavu bw’abaana bano nalowooza nti nga mpita mu miss Uganda nnyinza okufuna abantu abannyambako okuyamba abaana bano.  

Jennifer Namyalo Miss Wakiso 2013.

Wawulira otya obutawangulayo ngule?

Okuvuganya kwali kwa maanyi okuviira ddala e Masaka gye twasookera mu kusunsulamu ne nnindirira kyonna ekijja.

Biki bye wafunayo?

Nneeyongedde okumanyika, emikwano, obuvumu kubanga kati nsobola okwogerera mu lukung’aana n’ebirala bingi. 

Olinayo omwagalwa?

Ebyo nabikoowa bimala budde kati ndi ku bitabo eby’omukwano nabirimu ne nta.

Osuubira ddi okuddamu okufuna omwagalwa era wandiyagadde musajja ki?

Ekiseera ekituufu bwe kinaatuuka mmanyi nja kumufuna era njagala mukozi.

Haa laba embooko y’e Wakiso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...