BUKEDDE ategeka okulangirira basereebu abasinga okwambala mu biti eby’enjawulo omuli gomesi, engoye ez’akawugeezi, empale, ebitengi, ebiteeteeyi, sikaati ne bbulawuzi n’ebiti ebirala.
Okulonda kujja kuba mu biti bibiri ng’abasomi balonda ajja okuyitibwa omwambazi w’abantu n’abakugu mu by’ennyambala bajja kulonda abawanguzi mu biti eby’enjawulo.
Bano bajja kuyitibwa basereebu abambazi. Abawanguzi balangirirwa December 8. Basereebu basabibwa okuweereza ebifaananyi ebiggyayo obulungi ennyambala yaabwe.
Mariam Ndagire, Maureen Nantume, Judith Babirye, ne Lady Aisha
Halima Namakula, Maggie Kayima (Nabbi omukazi), Cindy Sanyu ne ulie Mutesaasira
Racheal Kiwanuka, Grace Ssemwogerere, Simon Mirembe, ne Phina Mugerwa
Catherine Kusaasira, Irene Campbell, Betty Mpologoma, ne Stecia Mayanja
Angella Kalule, Renah Nalumansi, Priscah Mikami, ne Leilah Kayondo
LONDA AKUSINGIRA OKWAMBALA.
Sereebu ki omukazi asinga okwambala?