Bya KIZITO MUSOKE
KITAAWE w’omuyimbi Jose Chameleone ali mu nkalu ne muwalawe gwe yeegaana mu lujjudde ng’omuwala agamba nti kitaawe bw’aba ddala akimanyi nti y’amuzaala addemu amuzaale mu lujjudde nga bwe yamwegaana mu lujjudde.
Kyokka ne kitaabwe, Mw. Gerald Mayanja agamba nti tasobola kukola mukolo bwe gutyo kubanga omwana ono amuswaza, mwavu n’okusoma teyasoma, tayinza kumulaga mu bantu.
Mw. Gerald Mayanja ye kitaawe w’abayimbi okuli Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone, Douglas Mulindwa (Weasel) ne Emmanuel Seguya (AK 47) ne Juliet Nalwanga nga ye mwanawe omukulu.
Juliet Nalwanga (ku ddyo) bwe yakola nga mwannyina omulungi, Daniella (wakati) bwe yali ayanjula Chameleone.
Juliet Nalwanga (45) ye muwala wa Mayanja era omwanawe gwe yasookerako. Mu kiseera kino Nalwanga ne kitaawe tebabuuzaganya ng’entabwe eva ku kitaawe okumwegaana olw’okuba ye si mugagga ng’abaana abalala be yazaala.
Taata bwe yatuukiriddwa naye yakkirizza nga bw’atasobola kumwanjula mu lujjudde okusinziira ku mbeera gy’alimu. Ekibatuusizza ku kino buli omu akyogerako bubwe:
Juliet Nalwanga mwannyina wa ba Chameleone gwe batalabawo.
JULIET NALWANGA
“Nze muwala wa muzeeyi Mayanja omukulu, era taata agenda okuwasa maama ali mu maka (nnyina wa Chameleone) nga nze ndi wa myaka ebiri.
Obulamu okusooka bwali bulungi, okutuusa oluvannyuma mu bukulu taata bw’anneefuulidde n’atuuka n’okunneegaana mu lujjudde era nga mu kiseera kino ne baganda bange tebakyannyega, nange nabeesonyiwa.
Mu kiseera ky’obuto bwaffe twabeeranga Kololo ku luguudo lwa Acacia Avenue, nga twasulanga mu nnyumba za Coffee Marketing Board, kuba taata yali mukozi mu kitongole ekyo.
Nzijukira mu buto bwaffe, maama yanobako n’agenda n’andekera abaana abo nga bato, era mu kugenda yang’amba nti “ggwe nnyabo kwata okuze abaana ba kitaawo, nze ng’enze”.
Josephine Nabukeera, mwannyina wa Chameleone gwe bamanyi.
Mu kiseera ekyo Douglas Mulindwa (Weasel) yali wa myezi esatu gyokka ne ntandika okumulabirira, era maama agenda okukomawo mu maka nga Weasel awezezza omwaka.
Bwe nakula ne nfuna omusajja eyampasa era okwanjula kwange kwaliwo nga October 10, 1987. Mwannyinaze, Henry Kasozi ye yangaba, kyokka nga ne baganda bange bonna abalala omukolo baaguliko, wadde nga baali bakyali bato.
NTANDIKA OKUGOBWA AWAKA
Obutakkaanya bwatandika mwannyinaze Chameleone agenda kuwasa Daniella Atim mu 2008. Maama ali mu maka yali tayagala mbeere mwannyina omulungi.
Maama yagamba nti ndabika bubi sirina ssente. Kyokka Chameleone yalemerako n’ampa ssente ngule bye nnaayambala.
Maama bwe yandaba nga ng’enda ku kwanjula n’abuuza Chameleone nti, ‘Era oyo omwana omulemeddeko? Nakugamba dda ajja kubasiiga obwavu.
Kyokka mu kwanjula era nze nayambaza Daniella ekimuli, ku mukolo ogwali e Mutungo mu maka ga bazadde ba Daniella.
Okwanjula nga kuwedde, engoye zange nali nzirese Kawempe mu maka ga kitaffe, kyokka bwe naddayo, maama olwandabako n’amboggolera nga bw’ambuuza ekindeese mu maka ge.
Yandabula obutaddamu kulinnya mu maka ge era nange ne ngeesonyiwa.
Chameleone lwe yafuna akabenje bwe yava ku kizimbe n’agwa n’amenyeka amagulu, nagenda e Seguku okumulaba obulwadde.
Natuuka ne bannyaniriza wabula mba nsitudde omwana wa Chameleone, maama gye yava n’amunsikako n’ang’amba ng’ende ewa mmange ambuulire kitange ndekere awo okuleereeteranga mu baana be.
“Saagala oddemu kulinnyirira baana bange ojja kubaavuwaza, nakugamba dda obuuze nnyoko akulage kitaawo gye yakuzaala naye towulira.” by’ebigambo maama waffe bye yanvuma. Nalaba kinsusseeko ne mbaviira.
Humphrey Mayanja ng’ali ne mwannyina Juliet Nalwanga ku kwanjula kwa Chameleone.
TAATA NAYE ANNEEGAANA
Taata lumu yali ku leediyo emu ku pulogulaamu gye baayita Gye Nvudde, ne bamubuuza abaana b’alina, mu kwanukula yategeeza nga bw’alina omwana omuwala omu nga ye Josephine Nabukeera.
Oluvannyuma namukubira essimu ne mmubuuza oba nali sikyali mwana we. Yanziramu nti ndi mwana we, kyokka yali talina ngeri gy’ayinza kunnyanjulamu mu bantu, kuba nali saasoma nga bannange.
Namubuuza emirundi gye yali agenzeeko e Makerere mu kutikkira abaana, n’antegeeza nti ekikulu nali mwavu nnyo nga ndi mu mbeera mbi nga talina gannyanjula, kuba sifaanagana na bannange.
Okuva ku lunaku luno nasalawo obutamunyega era sikyalinnya mu maka ge, kuba mbeera nga amwesibako.
Taata teyakoma wano, wabula buli w’abeera bwe bamubuuza abaana be, ayogera nga bw’alina omuwala omu Josephine Nabukeera, wadde nga nze mwana we omukulu era nga nakulira mu maka ge.
Kati nasalawo nti okuddamu okulinnya mu maka ga kitange ng’amaze okukola omukolo mu lujjudde n’anzaala buto era mu lujjudde, kuba mu kiseera kino ndaba ng’atali mwana we, kuba mmuswaza, siraba nsonga lwaki mmwesibako.
Daniella ng’akyalina ensonyi bwe yali ku kwanjula kwe ne Nalwanga kwe yaliko.
BANNYINAZE NABO TEBAKYANDABAWO
Mu kiseera kino ne bannyinaze bonna ne be nalera nga bakula tebakyandabawo. Chameleone, Weasel, AK 47 n’abalala tebakyammanyi era bwe babeera boogera balaga nga bamanyi mwannyinaabwe omu.
Ne bwe bansanga bampitako ng’abatammanyi, naye ekikulu ndi wange era tewali andabirira nange nabeesonyiwa.
KITAAWE, GERALD MAYANJA AYOGEDDE
Omwana oyo ekituufu nze mmuzaala era nga ye mwana wange omukulu. Okuva obuto nayagala abeere bulungi mu bulamu bwe obw’omu maaso ng’omuzadde yenna bwe yandyagalizza omwana we.
Namutwala mu ssomero n’atandika okusoma, kyokka bwe yatuuka mu S.3 n’afuna olubuto.
Weasel ng’ali ne mukwano gwe ku kwanjula kwa Chameleone.
Ekintu kino kyankola bubi kuba nali njagala agende wala n’emisomo gye. Mu kiseera ekyo nasalawo okufuna omukozi awaka alere omwana wa Julie, ate ye addeyo mu ssomero amalirize emisomo gye.
Kyambuukako, Juliet bwe yajja n’antegeeza nti, ‘Taata omanyi kye nzudde, omuntu ne bw’asoma atya n’atuuka e Makerere era amaliriza afumbiddwa, nze mu kiseera kino nfunye omusajja ampasa era njagala kufumbirwa’.
Mba nkyesisiggiriza, ne nnyina ne yeegattako ng’awagira muwala we afumbirwe. Nasalawo okutegeka omukolo awaka n’ayanjula omusajja we gwe yali ayagala.
Kyokka nga bw’omanyi nti eby’obufumbo si byangu, tebyamugendera bulungi era yafundikira ensi emukubye.
Nze ebizibu bye n’embeera gy’alimu siyinza kugamba nti mbivunaanyizibwako kuba si nze nabimutuusaako, kuba nze nakola ogwange ne mmuweerera kyokka ne yeewaggula, engeri gy’ali muntu mukulu kati yeesalirawo ku ky’alaba ekimusanyusa mu bulamu bwe.
Julie yagaana okusoma obutafaanana nga banne, era nga kino kyamuviirako okubeera mu mbeera eteeyagaza.
Kituufu nali ku leediyo ne bambuuza abaana abawala be nnina, ne nziramu nti nnina omuwala omu nga ye Josephine Nabukeera.
Kino saakikola mu butanwa, wabula kyali mu bugenderevu, kuba okusinziira ku mbeera gy’alimu siyinza kumwanjula mu bantu.
Ne mu kiseera kino era bwe mba njogera mu bantu siyinza kumwogerako, wadde asigala nga mwana wange nze mmuzaala.
Okumwanjula mu mbeera gy’alimu, kiba kijja kutabula kuba buli muntu atandika okwebuuza nti ate lwaki ali mu mbeera mbi ng’akola bulimulimu nga banne bali mu mbeera nnungi.
Kye nva nasalawo obutamwanjula mu bantu kuba ye yeetomeza nze nagezaako okumulaga ekituufu n’atampuliriza.
Nze sirina mutawaana oba ajja ewange oba tajja, kubanga nze si bye ndiko, era siyinza na kukola mukolo mbu nziremu mmuyingize mu kika. Ye nga lwaki nkikola? Ndaba muntu mukulu akole ky’alaba nga kye kimusanyusa.
Omwana kasita akula, obeera tokyamuvunaanyizibwako ng’omuzadde era nze nkola mirimu gyange. Ensi mu kiseera kino yamuleka, era banne bo bali bulungi’, Mw. Mayanja bwe yategeezezza ku Lwokuna.
Rehema Nansubuga, maama wa Nalwanga.
NNYINA WA NALWANGA AYOGEDDE
Nnyina wa Nalwanga amuzaala, Rehema Nansubuga bwe yatuukiriddwa n’abuuzibwa lwaki talaga Nalwanga kitaawe omutuufu nga muka Mw. Mayanja bw’asaba, yagambye nti: ‘Obuzibu buleetebwa oyo omukyala ali mu maka kuba wadde yagenda okufumbirwa Mw. Mayanja nze nga siri mu ddya, obuggya bwamulemerako.
Emirundi mingi abadde antumira n’okugamba Julie nti mmulage kitaawe omutuufu, kyokka asaanye akimanye nti nze omwana simuzaalanga mu kika kye, wabula namuzaala mu Mayanja era gw’abeera abibuuza nze anneesonyiwe.
Mwannyina wa Chameleone alidde obuwuka