TOP

Okukomawo kwa jjajja kwakyusa obulamu bwange

Added 7th January 2014

OKUFA kw’omugenzi Faith Nannyonga Kafuluma kwaleka ennyiike ku mitima gy’abeng’anda ze wabula ate ne liba essanyu gy’ali anti yafiira mu mbeera nga bwe yalinga asaba Katonda olutatadde okusooka abaana be okufa mu kifo ky’okubaziika omu kw’omu.



Bya ALI KIZZA
OKUFA kw’omugenzi Faith Nannyonga Kafuluma kwaleka ennyiike ku mitima gy’abeng’anda ze wabula ate ne liba essanyu gy’ali anti yafiira mu mbeera nga bwe yalinga asaba Katonda olutatadde okusooka abaana be okufa mu kifo ky’okubaziika omu kw’omu.

Omugenzi Nannyonga yali mukyala munnaddiini omukuukuutivu anti yamala ekiseera ky’obulamu bwe kyonna ng’akola mulimu gwa buweereza ku Lutikko e Mityana.

Erinest Kafuluma Namwanja muzzukkulu wa Nannyonga annyonnyola bw’ati ku jjajjaawe gwe yeenyumirizaamu olw’okumufaako ne bwe yava ku nsi.

Obulwadde obwaggya jjajjange mu nsi bwali bwa puleesa. Yalina puleesa ng’eno yamumalako ebbanga ddene okutuusa lwe yamusinza amaanyi n’afa mu 2012.

Jjajja yali amaze emyaka etaano nga puleesa zimutaawanya wabula okumugonza kyava ku kufiirwa omu ku baana be omukaaga.

Jjajja ebiseera ebisinga yabeeranga yeebaza Mukama okuba nti akuzizza abaana be bulungi naye okufa kwa muwalawe Margaret Luzinda kwamukuba encukwe era kwe kwava ne puleesa ezaamutta.

Muwalawe Luzinda bwe yafa baasala amagezi okumubikira mu kakodyo. Baaleeta mmotoka mu kyalo e Mityana ne bamugamba nti waliwo gye bamutwala.

Okutegeera nti muwalawe afudde yamala kutuuka ku Lutikko e Mukono omulambo gwa muwala we we baali bagututte okumusabira.

Okufa kwa muwala we, jjajja kwamumalamu amaanyi era olwava e magombe n’ayita abaana be bonna n’abagamba nti, “Baana bange, nsaba Katonda anzigye mu nsi nga sizzeemu kuziika ku mwana wange n’omu.

Yagenda mu maaso n’okusaba ekintu kino era nga ne bw’asanga mukulu munne ng’abadde atambuddeko amugamba kimu nti, Katonda yanzigyako omwana wange wabula nsaba antwale
nga sizzeemu kuziika mwana wange mulala.

Bwe twalama okuziika n’addayo mu kyalo teyaddamu kutereera era puleesa zaagenda mu maaso n’okumukuba okumala emyezi mukaaga nga tateredde lwe yafa.

OKUZIIKIBWA KWE
Yali yalaama era nga yasaba n’omusumba ku Lutikko e Mityana nti bw’aba ng’afudde bamuziike ku kkanisa olw’emirimu gy’agikoledde egy’obuweereza. Ng’agamba okumuziika ku kkanisa kwe kujja okulaga nti asiimiddwa.

Kino bwe kyali era yaziikibwa ku Lutikko nga bwe yasaba wabula waayitawo omwaka gumu Obulabirizi ne bulagira abantu abaaziikibwa okumpi ennyo n’Ekkanisa okusembezebwayo.

Twagenda ne tusima entaana endala okwesuulako n’ekkanisa ne tuddamu okuziika jjajja nga ku
mulundi guno twamuliraanya nnyina anti naye yali yaziikibwa ku kkanisa kubanga naye yali muweereza mu Lutikko eno.

JJAJJA ANZIJIRA
Nga tumaze okusengula amalaalo ga bajjajja, buli omu yadda ku mirimu gye. Nabeeranga awo nga
buli kimu tekitambula nga n’amabanja gandi mu bulago olwo ne ndowoozanga ku jjajja nti singa abaddeyo yandindabiridde nga bwe yakolanga nga mulamu.

Bwe nava mu kyalo natuuka awaka ne nsanga nga muwala wange mulwadde kyokka nga sirina wadde ekikumi ekimutwala mu ddwaaliro.

Natuula ku kitanda nga mbirowoozaamu sibitegeera ne binsobera, wano n’otulo we twantwalira. Nafuna ekirooto nga ndaba bajjajja bombi nga bwe twali tubasengudde nga batudde waggulu ku
ntaana zaabwe nga nze mbali wakati.

Jjajja Kafuluma yambuuza,’ Muzzukulu buzibu ki?’ Namuddamu jjajja omwana wange agenda kunfaako kyokka nnina amabanja gye naalibadde nzirukira okufuna ku ssente.

Yang’amba, ‘Muzukkulu mubeere bagumiikiriza nnyo mu bulamu bw’ensi ate olina okubeera
omugumu. Olwamala okung’amba ebyo ne babulawo ng’owookubiri talina kyayogedde era wano we nawawamukira mu kirooto.

Obudde olwakya nagenda ku mulimu naye ssente ze nakola kw’olwo siddangamu kuzikola kubanga ku bbanga ery’emyaka egisoba mw’etaano gye nvugidde booda nali sizikolangako.

Nakola ssente ne nsasula amabanja agaali ganneeraliikiriza kubanga agamu gaali ga kibiina n’omwana ne mmujjanjabisa.

Okuva lwe naloota jjajja siddangamu kufuna kizibu kinneeraliikiriza kubanga nkolera ddala ssente zange era mbeera nazo ekitaaliwo nga sinnamuloota wabula okuva olwo siddangamu kumuloota.

Okukomawo kwa jjajja kwakyusa obulamu bwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Ababaka abayise mu ttanuulu

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga....