TOP

Bapasita 10 abasinga obugagga mu Uganda

Added 3rd February 2014

SSANDE ewedde twafulumizza bapasita 10 abasinga obugagga mu nsi yonna, Bannayuganda ne basigala nga beebuuza nti bapasita ba wano bo baavu? KIZITO MUSOKE NE ALI KIZZA bakuleetedde bapasita ba wano 10 abasinga obugagga



SSANDE ewedde twafulumizza bapasita 10 abasinga obugagga mu nsi yonna, Bannayuganda ne basigala nga beebuuza nti bapasita ba wano bo baavu? KIZITO MUSOKE NE ALI KIZZA bakuleetedde bapasita ba wano 10 abasinga obugagga:

Gary Skinner

Gary Skinner: Ye nnannyini makanisa ga Watoto agaali gamanyiddwa nga KPC, nga gabunye mu bitundu by’eggwanga ebiwerako.

Alina amasomero ga pulayimale ne siniya mu bitundu nga; Nakirebe ku lw’e Masaka, e Bbira ku lw’e Mityana, e Lira, Mbale n’awalala.

Kigambibwa nti y’asinga okukung’aanya ssente ennyingi ku Ssande, ng’okusaba bwe kuggwa, emmotoka ya bbanka y’ezinona.

Okusinziira ku kkampuni ebalirira ebitabo by’ekkanisa eno mu 2006, kkwaaya wa Watoto yafuna obuyambi bwa buwumbi kkumi n’obukadde 500. Ekkanisa era etunda T-Shirt ne DVD nga bayita ku website yaabwe.

Bishop Fredrick Wafula

Bishop Fredrick Wafula: Ye nnannyini Redeemed Gospel Church e Kisaasi. Alina amakanisa agasoba mu 50 okwetooloola eggwanga.

Ye nnannnyini lupapula lw’amawulire oluyitibwa Dynasty. Kigambibwa nti alina emigabo mu kkampuni ya Go-TV era nga y’azimba emirongooti gyayo mu ggwanga.

Alina kkampuni egula n’okutunda ettaka eya Property Project. Alina yiika z’ettaka 270 e Kibaale Bugonzi, alina yiika 320 e Namayingo mu buvanjuba bwa Uganda.

Dr. Joseph Serwadda:
Y’akulira ekkanisa ya Victory Christian Centre era ng’alina abagoberezi abasukka mu 5000. Alina amakanisa 500 okwetooloola ensi yonna.

Ye nnannyini leediyo ya Impact FM (ya Luganda), Alpha Radio (ya Lungereza), 101.5 (Masaka), 103.7 (Mbale) ne 92.9 (Busoga).

Pasita Robert Kayanja

Pasita Robert Kayanja:
Ye musumba w’ekkanisa ya Lubaga Miracle Centre egambibwa okuba nga y’esinga okutuuza abantu abangi mu buvanjuba bwa Afrika.

Etuuza abantu 10,0500 ng’okugizimba baakozesa ssente ezisukka mu buwumbi 14. Alina amakanisa ga Miracle Centre agasukka mu 1000 okwetooloola eggwanga lyonna.

Ye nnannyini ttivi ya Miracle TV (Channel 44). Era y’asinga okukuba enkung’aana ez’amaanyi ebweru wa Uganda. Azikuba mu Afrika ne mu Bulaaya.



Nabbi Samuel Kakande

Nabbi Samuel Kakande
Ye nnannyini kkanisa ya Synagogue of all Nations ku Bbiri e Mulago. Alina yiika z’ettaka eziwera 10 mu Kampala era atera okukuba enkung’aana ez’amaanyi buli mwaka mu kisaawe e Nakivubo.

Y’omu ku bantu abasinga okulima mu ggwanga. Alina yiika za kasooli 500 e Mubende, ez’entangawuzi 650 e Kyankwanzi era mulimi wa wootameroni.

Alina faamu e Buloba, alina ettaka eriwerako mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Mu 2009, minisita Hilary Onek yatongoza tulakita ze yali aguze ezirima nga zibalirirwamu obuwumbi busatu.

Tulakita zino ez’omulembe buli emu esobola okulima yiika 400 mu ssaawa emu. Alina ebyalo bisatu e Masindi okuli; Nabyewanga, Nkinzi ne Mugge kw’alimira omuceere.

Polof. Gilbert Bukenya mu 2010, yamwogerako ng’omu ku bantu abasinga okulima omuceere mu ggwanga bwe yalambula faamu ye.


Pasita Jackson Senyonga

Pasita Jackson Senyonga:
Ye Pasita asinga leediyo ennyingi mu ggwanga okuli; Top Radio, F.M J, Rhino FM e Lira era ye nnannyini Top TV.

Alina n’amasomero 2 aga Life Academy Primary and Secondary Schools e Seeta n’e Lira. Ye nnannyini kkanisa ya Life Chritian Centre e Bwaise era alina n’amakanisa amalala 30 okwetooloola eggwanga lyonna.

Alina amaka e Kololo nga gatudde ku yiika 5. Ennyumba ye erimu ebisenge 65. Abeera n’okusaba buli mwaka okukomekkereza omwaka e Kololo.

Ategeka olukung’aana buli mwaka olukomekkereza omwaka ku kisaawe e Kololo. Ekisaawe kino akipangisa ennaku ssatu nga buli lunaku asasula obukadde 25. Mu nnaku ssatu aba asasudde obukadde 75.


Simeon Kayiwa

Polof. Simeon Kayiwa: Ye nnannyini Namirembe Christian Fellowship emu ku makanisa agasinga obukadde mu ggwanga. Alina yunivasite gy’azimbye mu kifo kye kimu era kigambibwa nti agitaddemu obuwumbi obusoba mu butaano okugizimba.


Herbert Kiwanuka:
Ye musumba wa Glory of Christ Church e Kasubi - Kawaala. Alina bbanka ya Glory Saving and Credit, alina eddwaaliro lya Glory Medical Centre. Akola ebikookooma (toilet paper) ze bayita Glory toilet paper. Alina ekifo ekiwummulirwamu ky’azimbye e Bussi ku nnyanja.


Pasita Stephen Senfuma: Ye musumba w’ekkanisa ya United Christian Centre esangibwa e Makerere Kikoni. Alina leediyo eyitibwa Innerman leediyo n’essomero lya Innerman Pre-and Primary School e Makerere. Alina n’ekifo ekirabirira abaana abatalina mwasirizi.

Irene Manjeri
Ye nannyini kanisa ya Bethel esangibwa awaali Pride Theatre ku luguudo lwa Namirembe Road.
Alina ekkanisa endala gy’ali mu kuzimba e Kajjansi nga ya kalina. Ekifo kya Pride Theatre kyokka kibalirirwa okubeeramu obuwumbi obusukka 30.

Bapasita 10 abasinga obugagga mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...