TOP

Ebintu ababbi bye bettanira mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo

Added 17th March 2014

BULI bubbi obukolebwa buliko bakafulu baabwo n’engeri ababbi gye banyagamu ng’ekyuka okusinziira ku kitundu mwe bali.



Bya ALI KIZZA, MEDDIE MUSISI, JOB NANTAKIKA NE RUTH NAKANWAGI
BULI bubbi obukolebwa buliko bakafulu baabwo n’engeri ababbi gye banyagamu ng’ekyuka okusinziira ku kitundu mwe bali.

Abantu abali mu bitundu bamannyi obukodyo bw’ababbi b’omu bitundu mwe babeera n’ebintu bye basinga okwewanika. Bukedde Ku Ssande akuleetedde obubbi obw’enjawulo n’ebitundu mwe businga okubeera:

MBUYA KINNAWATTAKA:
Babba nnyo kompyuta n’amasimu nga basinga kubba bayizi b’e Kyambogo. N’abatambula tebabataliza.

KYALIWAJJALA, MBALWA NE KIRA:
Babba amataala g’emmotoka wamu n’okuteega abava mu bbaala ne babanyaga.

KIREKA NE BWEYOGERERE:
Abalina mobile money babasiba ebicupuli naddala 50,000/-.

KU SSAAWA YA KWIINI:
Abasinga okubwenyigiramu bavubuka abakulidde ku nguudo z’omu Kampala nga banyaga abantu. Ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo batambula okutuuka ku Ssaawa ya Kwiini ne ku luguudo lw’eggaali y’omukka nga beefuula abali mu bwangu abaddayo eka.

Omulimu gwe bakola gubeera gwa kusikambula masimu ku bantu, ensawo z’abakazi n’okukozesa eryanyi ne banyaga.

Abatambulira mu mmotoka tebabataliza anti baggula enzigi ne banyaga ebintu ebiri mu mmotoka.
Kyokka olunaku lwonna balumala nga beefuula abalina bye batunda nga batadde engoye, eby’omu bulago n’ebintu ebirala ku nguudo naye nga baba balinze bantu baakunyaga.

NAJJANANKUMBI, MAKINDYE NE KIBUYE:
Ekibinja kya Bakifeesi Crew kibeera kyetala nga banyaga emisanattuku awatali kutaliza kibayita mu maaso.

Batambulira mu kibinja ng’omuntu gwe bazingizza tebayinza kumuvaako nga tebalina kye bamukwakkuddeko.

Waliwo n’abavubuka abatambula nga bakwata ku nzigi nga bwe basanga bannyini nnyumba nga tebaliimu, nga banyaga. Ate bwe bakusangamu bakozesa lyanyi okutwala bye baagadde.

E Makindye y’esinga ababbi nga bano era omuntu gwe banyaga basooka kumunoonyerezaako nga bw’abeera omugagga bamubba ne bamwavuwaza.

MU NDEEBA:
Naddala okumpi n’eggaali y’omukka. Wano waliwo abavubuka abasikambula ebintu, kyokka abasingawo be beefuula abamanyi ekitundu nga bw’omubuuza edduuka eritunda sipeeya akukunguzza n’akutwala mu kafunda gy’agamba nti gye basuubula n’akunyaga.

NAKULABYE:
Abantu abakeera okukola babatigomya nnyo, nga babanyagako ensimbi ez’okusuubula era ababbi bettanira nnyo obusawo bw’abakazi abagenda okukola. Bodaboda nazo zibbibwa nnyo mu bitundu by’e Nakulabye.

Zino okuzibba ababbi beefuula abasaabaze ne beefuulira omuvuzi wa bodaboda ne bamukuba akatayimbwa nga basinga kubakuba ku mutwe.

Akulira poliisi y’e Nakulabye, Musa Tamuzadde yategeezezza nti ababbi bateega abantu bano mu bifo eby’enjawulo ne babakwata obubadiya olwo ne babanyagulula ebyabwe nga tebaweereddwa wadde omukisa ogwenyeenya.

Sseguya agambibwa okukulembera ababba amataala ku mmotoka ku Agenda ng’ali ku poliisi e Kira.

NANSANA
Eno babbira mu takisi, ku bodaboda, abakuba abantu obutayimbwa, abakwata obubadiya ne banyaga. Ababbi bano bettanira nnyo ebintu by’omu nju omuli emifaliso, entebe ez’ebbeeyi, leediyo n’ebirala nga babeera n’emmotoka oba pikipiki kwe batikka omunyago gwabwe.

NATEETE:
Obubaati obuggyirako layini z’essimu babweyambisa nga babukozesa okuggula obukondo obukwata amadirisa.

Olw’okuba kaba kabaati katono, bakayisa mu layini eddirisa we lyeggalira ne balobesa akatuli kaako mu kakondo ne bakanyoola olwo eddirisa ne lyeggula ne banyaga.

Oluusi bayiwa asidi mu kkufulu ekisumuluzo we kiyingira ekinafuya obuuma obukwata kkufulu ne yeggula nga kino bakyeyambisa nnyo ku kkufulu ezisibirwa munda. Kkufulu ze basinga okugguza asidi ono z’ezo azitali za byuma.

BUSEGA NE BULENGA
Ebiseera ebisinga balinnya ku nnyumba waggulu ne basala nebagwa munda. Enziba eno batera kugikola ku maduuka, sitoowa oba ebifo ebirala ebibeeramu ebyamaguzi.

Bamanyi okuliimisa omuntu naddala ng’obudde buwungedde kasita kakutanda n’ofulumamu ne bw’oba ogenze kweyamba, ogwo omukisa bagukozesa okuyingira ennyumba ne bafuna we beekweka naddala mu siiringi. Olwo mu ttumbi bava gye beekwese ne banyaga bye baagala ne babulawo.

Oluusi bayingirira ku mmotoka, bamanya obudde bw’okomawo ne beekweka ku ggeeti kubanga baba bamanyi obudde bw’okomawo.

Emmotoka bw’eyimirira ku ggeeti ng’olinze bakuggulire, oluusi beebaka wansi waayo ne beekwata ku byuma wansi olwokuba mmotoka eyingira eba etambula mpola n’emuwalula okutuuka mu ggalagi munda.

KALERWE
Eno bateega wabweru ne balinda omuntu n’agenda ebweru okweyamba.

Ke kakutanda n’ofuluma, bakulinda madda ne bakuyingirirako. Abatambula ku kkubo tebabataliza kabubeere misana oba kiro.

POLIISI EYOGEDDE:
Akulira poliisi y’e Nansana, Muhammad Kirumira yategeezezza nti mu kiseera kino ababbi bagenda bakyusa enziba nga kati beeyambisa bamalaaya okusobola okubba abantu abalina ku ssente era nga kino bakikolera ku loogi olwo ne bamubbako ssente zonna z’alina nti era oluusi babeera n’ebisumuluzo by’obusenge bwa loogi.

Akulira ba mbega e Wakiso, George Mpungu yagambye nti obubbi obuli e Wakiso bwakumenya mayumba ekiro n’emisana nga n’oluusi beeyambisa ebisumuluzo ebijingirire ne baggula enju ne babba ebintu by’omu nju kyokka nnyiniyo asanga nzigale bulungi n’ekkufulu!

Akulira Poliisi y’e Kinnawattaka, Pius Oneju ategeezezza nti ku misango gye bafuna ku poliisi buli lunaku, kizibu obutabaako gwa kubba Laptop naddala okuva ku bayizi e Kyambogo nga kino kisinze kukolebwa nnyo mu mwezi February ne March ono gwe tulimu.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi e Kira, David Mugabi ategeezezza nti obubbi bungi nnyo naddala mu Kyaliwajjala n’e Mbalwa buli lunaku bafuna omusango ogwekuusa ku mataala g’emmotoka kyokka n’alabula abantu okubeera abeegendereza ku bifo we basimba emmotoka zaabwe.

 

Ebintu ababbi bye bettanira mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu