TOP

Emirandira gya ffene gikkakkanya asima

Added 6th May 2014

LEERO katutunuulire ekibala ekya ffene. Ono mu lulimi lwa saayansi ayitibwa, Artocarpus Heterophyllus agwa mu kika ky’ebimera ebigwa mu lulyo lwa ‘Moraceae nga bino bibala ebirimu ssukaali. Mu Lungereza kiyitibwa Jackfruit.



Bya Dr. Grace Nambatya Kyeyune

LEERO katutunuulire ekibala ekya ffene. Ono mu lulimi lwa saayansi ayitibwa, Artocarpus Heterophyllus agwa mu kika ky’ebimera  ebigwa mu lulyo lwa ‘Moraceae nga bino bibala ebirimu ssukaali. Mu Lungereza kiyitibwa Jackfruit.

Ffene waamugaso nnyo eri obulamu bw’omuntu okuva ku kibala, ensigo, emirandira n’ebikoola byonna bijjuddemu ebirungo ebiyamba omubiri.  Omuntu  alina ettaka oba ennimiro yandibadde waakiri asimbayo emiti gya ffene olw’emigaso enfaafa gy’alina. 

Ng’oggyeeko ffene okuba emmere, omwana alya ennyo ffene kiba kizibu okulwalalwala ate akula bulungi obwongo. Omuntu atera okulya ffene ebirowoozo tebitera kumulwaza,  era oyo eyeeraliikirira ennyo ffene  amuyamba  okuyita mu mbeera eno.

  • Ffene alimu  vitamiini C, ekiriisa ekiyamba emibiri gyaffe okulwanyisa endwadde eziva ku  buwuka obusirikitu obuvunza. Vitamiini C era eyamba mu kugumya emisuwa gy’omusaayi n’okuyamba  ennyo obutoffaali bw’omusaayi obweru okukola emirimu obulungi nga bulwanyisa obuwuka obulumba emibiri.
  • Ffene alimu ekirungo ekiyitibwa lignansis flavones ne saponins bino biyamba  okuwa  omubiri  obusobozi bw’okulwanyisa kookolo n’okulwanyisa obukadde. 
  • Alimu ebigoogwa  ebiyamba  olubuto okusobola  okusa emmere obulungi ne kiziyiza olubuto okwesiba. 
  • Okulya Ffene  era kiyamba ekyenda okuba nga kisa bulungi emmere omuntu n’aziyiza okufuna amabwa g’oku kyenda ekinene oba alusa.
  • Ekiriisa ekya vitamiini A ekisangibwa mu ffene, kiyamba okukuuma amaaso n’ensusu nga biramu bulungi. Obutaba na vitamiini A emala kivaako endwadde y’obutalaba kiro.
  • Ffene alimu ssukaali ayitibwa fructose ne sucrose, era ng’ono awa emibiri gyaffe amaanyi. Omuntu bw’akola ennyo oba ng’alimye olubimbi olunene oba okudduka emisinde, ekisobola okumuzzaamu amaanyi amangu kulya ffene.
  • Ffene alimu omunnyo oguyitibwa potassium, guno guyamba emibiri gyaffe okukkakkanya puleesa y’omusaayi, etawaanya ennyo omutima.
  • Emirandira gya ffene nga gifumbiddwa,  omuntu n’anywa giyamba  okutoowolokosa  asima,omusujja n’okuddukana.
  • Ffene alimu ekiriisa  ekya magnesium  ne calcium ebiyamba amagumba okuguma.
  • Ffene alimu omunnyo  ogwa ayoni oguyamba  mu kukola omusaayi.  Era ayamba nnyo mu kutambuza omukka gw’obulamu ogwa okisigeni okutuuka mu buli kitundu ky’omubiri.
  • Ffene alimu ekirungo ekya  kkopa kino kiyamba  nnyo okukuuma ebinywa by’obulago  nga bigonvu bulungi omuntu okusobola okukyuka obulungi ng’ensingo temuluma.

Ensigo za ffene ezifumbiddwa oba ezikaliriddwa oba okuzivumbika ziyamba okukkakkanya okusesema. 

Ensigo era ziyamba okwongera obwagazi bw’okwegatta. Mu bakyala n’abasajja  osobola  okuzaanika ne zikala n’ozisekulamu  obuwunga n’oteeka mu mazzi agookya n’onywa ofuna obwagazi.

  • Ffene alimu ebirungo ebirala ebiyitibwa Beta carotene ne lutein ebiyamba  okuziyiza okufuna kookolo w’amabeere oba ow’obusajja.
  • Ebikoola n’ekikuta bikozesebwa mu kujjanjaba ebiwundu n’okutowolokosa ekitundu ky’omubiri ekiba kizimbye.
  • Amasanda ga ffene gasobola okutabulwa ne vinegar ne gawonya ebizimba oba okuwonya aba alumiddwa omusota.
  • Ensigo za ffene bw’ozirya ziyamba ku ndwadde z’ensigo n’okukkakkanya abalwadde ba ssukaali.    
  • Ffene era bamukamulamu  omubisi oguwooma ennyo.
 

Emirandira gya ffene gikkakkanya asima

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...