TOP

Empirivuma; Zirimu eddagala ku balwadde b'omutima

Added 11th May 2014

Olukindu lwonna n’ekibala kyakwo birina omugaso munene. Zisinga kusangibwa mu bibira.



MUNNAKATEMBA Alex Mukulu mu muzannyo gwe ogumu yayimbanga nti empirivuma ziwooma nnyo..., leero katutunuulire obuwoomi n’emigaso egiri mu kibala kino.

Empirivuma oba ziyite (Wild date Palms), kibala ekisangibwa ku muti gwe bayita olukindukindu.

Mu lulimi lwa saayansi olukindukindu luyitibwa arecaceae.

Dr. Nambatya

Olukindu lwonna n’ekibala kyakwo birina omugaso munene. Zisinga kusangibwa mu bibira.
1 Okusookera ddala olukindu luvaako akaswaki akasenya amannyo nga muno muvaamu amasanda agalwanyisa obuwuka.

Kino kitegeeza nti, olina okukozesa akaswaki nga kabisi akalimu amasanda.

Ekirala olukindu lulina ensansa ezikola emikeeka gye bakozesa okwetangira endwadde eziva ku bucaafu.

Enduli y’olukindu eyamba mu kukola enkoma ezizimba, ennyumba empangaazi, kubanga teruliibwa nkuyege.

2 Ebikoola oba olusansa, biyamba okugoba ebiwuka mu lubuto naddala ng’obifumbye n’onywa oba okugaaya.
3 Atawaanyizibwa ebiwuka ebitali bimu awaka, funa ensansa zino nga mbisi ozisuulewo, ebiwuka bijja kudduka olw’olusu lwabyo.

4 Empirivuma ky’ekibala ekimera ku lukindu ekiriibwa nga obumpwankimpwanki. Ekibala kino, kiriibwa nnyo ebisolo by’omu kibira, naddala enkima, amazike, enkerebwe, n’ebinyonyi. Mulimu eddagala lyonna n’ebiriisa nga calcium, ayamba okugumya amagumba, vitamiini C eyamba amaaso okulaba obulungi n’ebirala.

5 Ensigo z’empirivuma, zikazibwa ne zisekulwa ne zivaamu ensaano enywebwa nga kaawa. Kaawa ono mulungi takubisa ntunnuusi era abantu abatawaanyizibwa obulwadde bw’omutima bwe banywa ku kaawa ono abayamba.

6 Mu bitundu ebimu emprivuma bazirya nga enva endiirwa era zikkakkanya omukkuto, ate ziyambako ku kyenda okugaaya obulungi emmere. Omuntu alya emprivuma si kyangu kyenda kwesibwa kuba kiba kikola bulungi.

7 Empirivuma ziyamba nnyo ku muntu aba akuba empiiyi okukkakkana olubuto, ziyamba okugoba olusu mu kamwa.

Omubisi ogukamuddwa mu mprinvuma

8 Omuntu afuna ennyo ekikeeto, bw’alya ku mpirivuma awona ekikeeto naddala ab’embuto.

9 Empirivuma zikamulwamu juyisi alimu ekiriisa kya vitamiini C okutangira ebintu nga ssennyiga.

10 Amasanda g’empirivuma gakolebwamu omwenge ogulimu ebirungo nga potassium, vitamiini C ne nicotic acid, ebiyamba mu kujjanjaba endwadde ezeekuusa ku nseke n’addala mu basajja.

11 Omunnyo gwa potassium guyamba mu kukuuma obuka bw’omusaayi nga bwa kigero awamu n’okukola amasannyalaze agatambuza obubaka mu busimu.

12 Vitamiini C eyamba oku¬gumya olususu n’empubi awamu n’emisuwa gy’omusaayi. Abatalina
vitamiini C amala mu mubiri batera okwerumika oba n’olususu okwetukuta.

13 Nicotic acid ayamba mu kukenenula amasavu amabi mu mubiri. Vitamiini endala gye tufuna mu palm wine ye ya B ng’eno eyamba obusigo bw’omubiri okwezaala.

14 Omwenge oguva mu mpirivuma gukozesebwa mu kukuuma emmere nga teyonoonese okugeza ng’okuguteeka mu keeki n’emigaati.

15 Omwenge guno gulimu ekizimbulukusa ekyetaagibwa okukuuma amaaso gaffe nga galaba bulungi.
Omwenge ogukoleddwa mu mpirivuma nga muka bulungi tegusaana kunywebwa bantu abalina emitwe eminafu kuba gwabulabe eri ebitundu by’omubiri ebyenjawulo ng’ekibumba, ensigo n’amaaso. Abagunywa balina okulya obulungi.

Dr. Nambatya anoonyereza ku ddagala eriva mu mmere n’emiddo.

Empirivuma; Zirimu eddagala ku balwadde b’omutima

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...