TOP

Ekiyondo kikkakkanya enkaka

Added 25th May 2014

EKIYONDO erinnya erya saayansi kiyitibwa ‘Kalanchoe pinnata Lam’ kigwa mu famire y’ebimera ebigumira ekyeya oba eddungu ebiyitibwa Crassulaceae. Kirina amannya amalala mu nnimi endala, mu Luswayiri bakiyita Kinetenete, mu Lungereza kiyitibwa amannya gano Air plant, Cathedral Bells, Miracle leaf

Bya DR. GRACE NAMBATYA KYEYUNE 

EKIYONDO erinnya erya saayansi kiyitibwa  ‘Kalanchoe pinnata Lam’ kigwa mu famire y’ebimera ebigumira ekyeya oba eddungu ebiyitibwa Crassulaceae. Kirina amannya amalala mu nnimi endala,  mu Luswayiri bakiyita  Kinetenete,  mu Lungereza kiyitibwa amannya gano Air plant, Cathedral Bells, Miracle leaf, Life plant.

Ebirungo ebiri mu kiyondo

Ekiyondo kirimu ebirungo bingi ebiyamba omubiri naddala nga bikola nga eddagala. Ebimu ku birungo bino mulimu
Isocitric acid ne citric acid, ono yeekusaako  vitamiini C asangibwa mu bibala.
 
Okufuna ebirungo bino onoga ebikoola by’ekiyondo n’obiteekamu amazzi n’ofumba oluvannyuma onywa n’ofuna ebirungo bino.
 
Ekiyondo kirimu ekirungo bufadienolides, kino kirina amaanyi agasobola okuziyiza n’okutta obutoffaali bw’omubiri obwandivuddemu kkansa. Kkansa ava ku kamu ku butoffaali bw’omubiri okwezaala mu bwangu ennyo ate nga tekasirisaamu. Obutoffaali bwe buwera bukola ekizimba buno bwe busensera ebitundu ebibuliraanye, n’okusaasaana mu bitundu ebirala nga buyita mu nsanjabavu oba mu musaayi. 
 
Emigaso gy’ekiyondo
 
1 Ebikoola bikozesebwa okuvumula awaba wayidde omuliro ate era ne mu kujjanjaba ebiwundu ebireetebwa okwokebwa kw’amafuta oba amazzi. 
 
2 Ebikoola by’ekiyondo bw’obibugumyako n’oyokyayokya  awabeera ekizimba ku mubiri kitoowolokoka. Ate mu ngeri y’emu omuntu aba afunye entunuka afuna ekiyondo n’akivumbika mu vvu eryokya olwo n’ayokya awali entunuka n’ebula. Ate oluusi eyengera mangu n’evaamu amasira omuntu n’awona obulumi.
 
   3 Emirandira gy’ekiyondo gikozesebwa okutta enjoka. Ofuna emirandira gy’ekiyondo n’ofumba bwe kiwola ng’onywa. Osobola n’okugikaza n’ofunamu ensaano n’ossa ku caayi, enjoka ziwona.            
 
4 Ekiyondo kikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ezeekuusa ku binywa n’amagumba ng’okunuuka, okumenyeka amagumba, okuzimba. Ofuna ekiyondo n’okibugumyako ne kivaamu amazzi n’osiiga nga bw’oyunga awaluma.
   
5 Ebikoola by’ekiyondo bikozesebwa mu kujjanjaba obuyinja obuzibikira enseke z’ensigo. Kyoza enseke bw’onywa amazzi gaakyo.
 
6 Alina enkaka bw’akozesa ekikoola ky’ekiyondo obulwadde bukkakkana ne butoowolokoka.
7 Ekiyondo era kiyamba mu kujjanjaba puleesa eri waggulu. Ofumba ebikoola n’onywa.
 
8 Omuntu afuka omusulo ogwokya, oba ogusiiwa, ogweyawulamu n’ogwo ogufuluma nga mungi lumu. Ekizibu kino kiva ku nseke ezifulumya omusulo era ekiyondo kikitereeza. Funa ekiyondo okifumbe onywe. Ku Nahecco e Wandegeya waliyo ensaano yaakyo.
 
9 Abalina enkalamata etewona, yokya ku bikoola by’ekiyondo ogaaye omire amazzi agavaamu.
 
10 Ottuzi otuva mu bikoola ebibabuddwaako tukozesebwa okujjanjaba amabwa mu matu.
 
11 Ebikoola nga bigattiddwaamu kaamulali bikozesebwa mu kujjanjaba ebizimba.
 

Ekiyondo kikkakkanya enkaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...