TOP

Muto wange yafa ambuulidde eyamutta

Added 28th September 2014

AMON Katende yali muganzi eri bazadde baffe n’abantu ab’oku kyalo olw’empisa n’eggonjebwa bye yalina awatali kusosola muntu yenna oba mukulu oba muto.

Bya PHIONA NABADDA

AMON Katende yali muganzi eri bazadde baffe n’abantu ab’oku kyalo olw’empisa n’eggonjebwa bye yalina awatali kusosola muntu yenna oba mukulu oba muto.

Bakadde baffe, abagenzi Ronald Ssemwogerere ne Zulayika Nankya abaali abatuuze b’e Masuuliita, baatuzaala abaana bana ababiri baafa abakadde bakyaliwo ne tusigala babiri naye kati nsigadde omu.

Bwatyo Andrew Ssemwogerere ow’e Makindye bw’atandika emboozi ye ku muto we. Katende yalina emyaka 11 bazadde baffe we baatuviira ku maaso mu 2012. Taata ye yasooka okufa mu 2009 olwo
ne nnyaffe n’agoberera mu 2012 ng’ono yafiira mu kabenje.

Ekiseera ekyo nali nninda bibuuzo byange ebya S.6 ate nga muto wange ali mu kibiina kyakutaano.

Mu kaseera kano, nasoberwa nga nneebuuza eky’okukola ngasikiraba okuggyako okuguma amasajja
ndabirire muto wange kuba yali  afuuse buvunaanyizibwa bwange.

Eby’okweyongerayo okusoma nabivaako ne ntandika kunoonya byakukola nsobole okusomesa muganda wange. Natandikira mu byakuweereza musenyu mu bazimbi olwo ne nfuna ezisasula
enju mwe tusula.

Ssemwogerere anyumya ku muto we.

Mu gw’okuweereza nafubanga okuyiga ebintu ebitali bimu mu kuzimba olwo ne nkuguka ne ssente ne zeeyogerako. Mu bukugu bwe nafuna be nkolera banteekamu obwesige, gye nafunira omugagga eyankwasa ekizimbe kye, ssente ne zeeyongerako.

Muto wange yali asoma ekintu ekyampa essanyu awo we twasengukira ne tudda e Makindye n’akyusa n’essomero era we yafiira yali mu P.7 ng’alindiridde kutuula bibuuzo.

KATENDE ALWALA
Omwaka oguwedde Katende yalwala omusujja n’afuna obujjanjabi obusookerwako ng’era afunyeemu omusujja bw’aba. Obulwadde bwamunyiikirira ne  mmutwala e Mulago gye baamuweera
ekitanda.

Eno twamalayo omwezi mulamba ne batusiibula ne tudda awaka nga ndowooza ateredde.

Waayita wiiki bbiri ate n’atabuka ne tuddayo e Mulago wabula ku luno abasawo bangamba nti obulwadde tebabulaba.

Namuzza awaka naye nga simanyi kya kumukolera ne ngezaako ku buli kye baali bandagirira naye nga muto wange ayongera kukenena aggwaawo ate nga n’olubuto luzimbye.

Buli lwe namutunuuliranga nga ndaba ali mu bulumi ng’amaziga gampitamu.

Buli kimu nga kigaanyi nali ntudde mu ntebe mbirowoozaamu n’ampita n’ang'amba nti, ‘Baaba, omukyala oli maama Joel twali tusamba akapiira ne tulwanagana ne mutabani we ne mmukuba ekikonde erinnyo erimu ne livaamu omukyala n’angamba nti ojja kulaba ekinaakutuukako lwakuba ssaakugamba wali ogenze kukola.”

Bino olwabiwulira kwe kugenda ew’omukyala kuba nali mmanyi w’akolera ne mmwetondera ne mmusaba asonyiwe muto wange, yanziramu buzzi nti, ‘mujja kulaba nnyo ennaku, omwana wange musobola okuzzaawo erinnyo lye?’ Namusuubiza nti nja kugula ezzungu wabula nga tawuliriza.

Nadda awaka ne ngumya muto wange nga mmugamba nti ojja kutereera wabula nga sikikakasa nga nzenna amaziga gampitamu.

Saakoowa kwegayirira mukyala oli okutuusa mu July muganda wange bwe yava mu bulamu
bw’ensi eno mu bintu ebitaliimu.

ATANDIKA OKUNZIJIRA
Mu mwaka guno mu July, omwezi muganda wange mwe yafiira yanzijira, mu kirooto nga munakuwavu ng’avaamu amaziga wabula nga tayogera kintu kyonna.

Nawawamuka nga ntidde nnyo era muli nga nneewuunya kiki. Yakomawo ogwokubiri n’abaako
by’andaga ng’asonga mu nsonda mu nju kyokka nga talina ky’ayogera era nga sibitegeera. Bwe bwakya ne ngenda mu nsonda omugenzi we yali asonga mu kirooto ndabe kiki ekyaliwo.

Wano nasangawo ebintu mu kaveera ne nneebuuza eyali abitaddewo ne mbikwata ne mbikanyuga ebweru. Nneebuuza enju gye nsulamu nzekka ani yaleeta akaveera, ekyo ne nkita.

Lumu yali Ssande lwe nsiiba awaka mba ntambula ne tuyising'anya n’omukyala oli maama Joel n’ambuuza nti erinnyo lye wasuubizza mutabani wange? Ono saamuddamu nga muli
ngamba nti ndaba ne muganda wange yafa ate ebyo nali ntunulamu byaki?

Mu kusirika yangamba nti, kye nkozesa kikulu kuba sifa nti naye luliba olwo! Awo we namanyira nti omukazi ono teyakoma ku muganda wange naye  nange ayagala kunzigyawo olw’erinnyo!

Muganda wange bulijjo y’antaasa ku mukazi ono. Kwe kusalawo nviire ekibambulira.

Muto wange yafa ambuulidde eyamutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...