
ABANTU bangi ensangi zino abalumbiddwa obulwadde bw’ekiwanga oba sayinaasi, ng’omulwadde aba tasobola kussa bulungi olw’ennyindo okuzibikira ng’ebiseera ebisinga kiva ku buwuka obusirikitu okulumba ekiwanga.
Okusinziira ku mukutu gw’ebyobulamu ogwa Healthy Digest, sayinaasi bagamba nti ziva ku kusika empewo encaafu. Bagamba nti, bino bireetera omuntu obutassa bulungi naye ng’embeera eno oyinza okugigoba n’okuziyiza obulwadde ng’okozesa emmere ey’enjawulo omuli:
Omubisi gwa apo ne VinegarL: Tabula eggiiko ya apo ne Vinegar mu giraasi y’amazzi ogattemu n’omubisi gw’enjuki okusobola okuwoomesa. Nywa by’otabudde emirundi esatu olunaku nga kino osobola okukikola okumala ennaku ttaano. Kino kiyamba okuggya mu nnyindo ebibeera bikuttemu n’otandika okussa obulungi.
Ensaali
Zino ziyamba okulongoosa ennyindo ezizibikidde. Ensaali zirimu ekiriisa ekiyamba okugoba obuwuka mu mubiri.
Kaamulali: Omuntu alina obulwadde buno yandibadde yeekwata kaamulali kuba bw’omulya ayamba okuzibukula emisuwa omuntu n’assa bulungi.
Ekisula:Tabula amazzi ag’ekibuguumirize mu munnyo guno ogw’ekisula n’oluvannyuma weewunzike otonnyeze mu nnyindo emu otambuze omutwe ku ludda amazzi gano gafulumire mu nnyindo eyookubiri. Kino kikole ng’okyusa ennyindo ojja kuzibukuka owulire bulungi.
Obutungulu: Salaasala obutungulu obusse mu mazzi otokose okumala eddakiika ttaano. Oluvannyuma teeka amazzi gano nga gookya awantu w’osobola okweyoteza ng’osika omukka, kino kijja kukuyamba okuzibukula ennyindo. Obutungulu bulungi nnyo mu kulwanyisa obuwuka obusirikitu mu mubiri. Osobola okuggyako amazzi agamu n’oganywa nga gabuguma.
Katungulucumu: Ddira katunguluccumu omusekule bulungi oggyemu amazzi n’oluvannyuma ogattemu omubisi gw’enjuki. Bw’omala tonnyeza mu nnyindo nga kino kiyamba okuzibukula ennyindo n’otandika okussa obulungi.
Kaloti ne Cukamba: Tabula amazzi g’oggye mu kaloti ne Cukamba obinywe ojja kufunawo enjawulo.
Ennimu ne Cukamba: Cukamba mugatte n’ebikoola by’ennimu obitonyeze mu nnyindo zijja kuzibukuka.
Ekiwero ekibuguma: Funa amazzi agabuguma ogasse mu katawulo oba ekiwero ekitukula onyigeenyige mu feesi mu kyenyi, ennyindo n’amatu kijja kukuyamba okuzibukula emikutu omuba mukutte eminyira egireeta sayinaasi.
Nywa nnyo amazzi: Buli lunaku nywa amazzi oba emicungwa egimala ennyindo zisobole okuta. Mu kifo ky’okussa ssukaali mu caayi kozesa omubisi gw’enjuki.
Omulwadde w’ekiwanga tosuulirira mmere eno