TOP

Ssebbaale ne Katumba aba Kadongokamu ani asinga?

Added 21st December 2014

BW’ALINNYA ku siteegi abantu basaanuuka olw’engeri gy’azinamu amazina ne bamaama nga bw’abawaana.

Bya Meddie Musisi

BW’ALINNYA ku siteegi abantu basaanuuka olw’engeri gy’azinamu amazina ne bamaama nga bw’abawaana. Ono ye Mamuli Katumba eyakuyimbira ‘Naigaga’ mw’awaanira omwana w’Omusoga eyamusensera obwongo n’abumalawo era luno oluyimba bw’alusuulamu, byanabiwala ebigonda ebiwato byeyiwa ku siteegi ne binyeenya obubina okubula okubusuula ku siteegi.

Ate Fred Ssebbaale yamenyawo likodi bwe yayimba oluyimba oluyamba okumalawo entalo ezeekuusa ku ssimu mu maka. Mu luyimba lwe, ‘Akasimu ka hhende nkaase’ yayanika entalo ezibalukawo mu bafumbo nga buli omu alumiriza munne okugyeyambisa mu bwenzi.

Wano yawa abafumbo amagezi buli omu okwesonyiwa essimu ya munne bwe baba baagala okuwangaaza ekkula ly’obufumbo era bangi abaatwala amagezi ge batebenkedde mirembe.Ekyebuuzibwa, ku bayimbi bano bombi, ani akira munne?

Bano bombi baludde mu kisaawe kya kadongokamu ate era bakyalemeddeko.
Kye basinza ku bayimbi abalala, bombi balina ebigambo bingi ebibuulirira ate nga binyuma mu ngeri yaabyo. Ennyimba zaabwe ziba mpanvu nnyo era olumu lwokka ggwe aluwuliriza oba olina okuba n'obudde obumala n'olyoka ofunamu ekyokuyiga.

Ssebbaale y’ani?

Bamuzaala ku kyalo Bulamba mu Bulemeezi mu maka g'omugenzi Crespo
Mpanga. Okusoma yakutandikira Njeru P/S n'akukomya mu Jinja S.S nga ssente
ziweddewo. Okuyimba yakutandika mu 1992 mu Matendo Promoted singers eya
Fred Ssebatta.
Oluyimba lwe olwasooka yalutuuma ‘Pulaani y'amaka’ era lwamuyamba nnyo
abantu okutandika okumumanya.

Kuno yazzaako ennyimba endala nga Abasuula abaana, Ehhanda teziyamba, Omutembeeyi, Sidda mu kyalo, ngenda ne sikaati n'endala nnyingi.

Kyokka mu nnyimba ze ezikutte ennyo abantu omubabiro era nga n'endongo yaazo bangi bagimanyi mulimu; Abasitamira emmere, Akasimu, olutalo lwa ssente, Bamutunda byapa ne Mr. Kondomu.

Ssebbaale musajja musirise kyokka ebigambo ebingi era ebinyuvu obiwulira atandise okuyimba. Abanyumirwa kadongokamu bamwagalako ngeri gy’asengekamu ebigambo ebinyuma ng’ayimba era y’omu ku bayimbi ababeera ‘simaati’ ku siteegi kuba ayagala nnyo amasuuti.

Ebikwata ku katumba

Ate Katumba bamuzaala ku kyalo Mpangatti - Ziroobwe Bulemeezi. Eyo gye yatandikira eby'okusoma mu Wakataayi P/S era we yabikomya ng'olutalo lutandise. Okuyimba yakutandikira mu Kulabako mu 1994 n'oluyimba lwe ‘Abaagala
eby’endola.’ Akubye ennyimba endala nyingi omuli, Nandudu, Naigaga,
Emboozi ya Kafeero, Ofumbye nnyo mukyala, Embalu, Gloria, Buli siteegi nagenda nzaala ne Namagoye olukwata ennyo abantu omubabiro.

Katumba naye mwambazi era naye atera okubeera mu masuuti naddala agameremeenya. Ono ky’asinza ku Ssebbaale ge mazima anti bw’atandika okutyabula aleka abalabi bafa nseko.

Amaanyi gaabwe

Katumba amaanyi ge gamuli ku ngeri gy’acankalanyaamu siteegi anti agenda ne yeecanga naddala ku luyimba lwe olwa Namagoye n’abula okusuula abawagizi be eddalu.

Mu mazina ag’ekinnansi yeekansa anti bw’atyabula Amaganda oba Amasoga gubula asala. Wadde ennaku zino mulwadde naye era gy’ayimbidde aleka bamatidde.

Ye Ssebbaale w’amaanyi mu bantu abalina obudde okuwuliriza eby’amakulu. Ennyimba ze nnyingi ziba zibuulirira era kye kimwagaza. Si muntu wa mazina nnyo naye agira n’anyeenyaamu.

 

Ssebbaale ne Katumba aba Kadongokamu ani asinga?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...

Kwiini ne bba Philip (kati omugenzi)

Philip, bba wa Kwiini wa Bu...

OMULANGIRA Philip, bba wa Kwiini wa Bungereza afudde!

Kanso y'e Mbale etangaazizz...

Kkanso y’e Mbale evuddeyo n’etangaanza ku nsako ya bakansala emaze emyaka 2 nga tebaweebwa. Bakansala 36 be baludde...