TOP

Nkoyoyo ayogedde ku musambwa e Namirembe

Added 4th January 2015

Bannaddiini mu Kkanisa ya Uganda baanukudde eyaliko Ssaabalabirizi wa Uganda Henry Luke Orombi eyategeezezza nga Namirembe awali ekitikkiro ky’Ekkanisa ya Uganda, bw’alimu emisambwa.

Bya Anthony Ssempereza

Bannaddiini mu Kkanisa ya Uganda baanukudde eyaliko Ssaabalabirizi wa Uganda Henry Luke Orombi eyategeezezza nga Namirembe awali ekitikkiro ky’Ekkanisa ya Uganda, bw’alimu emisambwa.

Ssaabalabirizi wa Uganda eyawummula Luke Orombi, yategeezezza nti emisambwa gino gyamulumbagana ebbanga lye yamala ng’abeera e Namirembe ng’alwanagana nagyo ng’akozesa amaanyi g’essaala.

Orombi yawadde obujulizi buno bwe yabadde abuulira Abakristaayo mu kusaba okw’okumalako omwaka ku Lutikko e Namirembe.

“Emisambwa gino nagirabanga era gyalabikiranga mu kkapa ezirugavu. Kkapa eno yayingiranga ennyumba yange n’ezaala n’obwana, kyokka nga waliwo endala eyalyanga obwana buno. Lumu yayingira mmotoka yange n’ekutula waya zonna mu yingini era bwe twasaanukula boneti y’emmotoka twasangamu ebyoya bya kkapa nga waya zonna yazikutudde.

Nalagira omukozi w’awaka agikube agitte era bwe yaleeta enkumbi okugikuba enkumbi yakwasa jjinja eryetondekawo amagu ago kkapa n’edduka.

Abaana bange baatandika okugiyigga okutuusa lwe bagitta, kyokka olwafa ate endala egifaananira ddala n’ejja n’egezaako okuyingira enju. Twasaba essaala nnyingi omusambwa guno ne gudduka.

Orombi yakubirizza abakulembeze mu kkanisa okwenyigira ennyo mu kusaba n’okusiiba. “Tetusobola kusaanyaawo musambwa ku kasozi Namirembe nga waliwo obunafu n’obukoowu mu Kkanisa,” Orombi bwe yakaatirizza.

Abalabirizi kye bagamba

Ssaabalabirizi eyawummula Mpalanyi Nkoyoyo agamba: Nabeera e Namirembe, okuva mu 1976 okutuuka mu 1981, ate ne nzirayo mu 1995 okutuuka mu 2004. Sirabanga musambwa gwonna e Namirembe.

Ennyumba Ssaabalabirizi Orombi mwe yasulanga nze nagizimba era nagisulamu okumala emyaka 10 naye saalabayo musambwa gwonna. Ekiriwo kiri nti e Namirembe twalyanga ebintu bingi, emmere n’erema ne tusuula olwo kkapa n’emmese ne zijja okulya bye tusudde.

Orombi ng'anyonnyola ku musambwa ogugambibwa okubeera e Namirembe

Oluusi, emmese zaayingiranga mu nnyumba ne zeekweka mu galagi, kino kitegeeze nti kkapa nga zijja okuyigga emmese buli wamu okuzirya, emmese nga zeekweka mu mmotoka, era nze nkakasa emmese zino ze zaalya waya z’emmotoka kuba zo emmese mwe zeekwekanga olwo kkapa n’egenda mu mmotoka okuziyigga.

Ekirala abantu abamu bamanyi okweraguza, obwongo bwabwe ne buyingiramu ebirowoozo ebikyamu nga buli kye balaba bakirabamu emisambwa oba emizimu noolwekyo oyo agamba nti alaba omusambwa asaana abuuzibwe annyonnyole era akakase abantu nti ddala ky’alaba musambwa.

Omulabirizi Samuel Balagadde Ssekkadde- Ono yali Mulabirizi w’e Namirembe okumala emyaka 15: “Ebbanga lyonna lye namala e Namirembe saalabayo musambwa naye kkapa zo nazirabanga. Zajjanga okulya emmese n’emmere ey’obunkunkumuka ne zigenda.

Ssaabalabirizi Orombi nnali muliraanwa we naye teyahhambako nti waliwo emisambwa egyamutawaanyanga. Omanyi abantu abamu wadde nga bambala amaganduula bamanyi okulowooleza mu misambwa okusinziira gye baba bakulidde naye nze sirowooleza mu misambwa. Bwe nali omwawule nayokya amasabo mwenda kwossa n’ebyawongo.

Ekirala tulina okwawula Namirembe ku Mengo, ekifo awali amaka ga Ssaabalabirizi bayitawo Mengo. Erinnya Mengo liva ku mmengo ebbiri ezaalinga mu kifo kino nga kuno kwe baakoleranga omulimu gw’okusa eddagala lya Kabaka, Abambejja n’Abalangira.

Mu kifo awali amaka ga Ssaabalabirizi, mmanyiiwo empuku eriwo, eno yasimibwa Ssekabaka Mwanga II, bwe yalinga ayagala okutuuka ku kayanja ke mu Ndeeba ng’ayita wansi. Kino yali akikola lwa byakwerinda kwe nti singa aba ng’alumbiddwa asobola okudduka ng’ayita mu mpuku okugenda ku kayanja ke.

Omulabirizi Wilson Mutebi

Ono Mulabirizi wa Mityana eyawummula: “Omulabirizi Dunstan Nsubuga yansindika e Namirembe ku Lutikko mu 1971 ng’omumyuka w’Omulabirizi. Okutuukira ddala mu 1988 naye saalabayo musambwa gwonna.

Waliwo abawanuuza nti ebifo by’ensozi mu Buganda edda byabangamu emisambwa ng’eno gye gibeera, abalina endowooza eyo basobola okugamba nti ne ku luzozi e Namirembe waliyo emisambwa naye ekiba kisinga obukulu kwe kubuuza oyo yennyini aba agambye nti agulabye. Nze sikkiririza mu bya misambwa.

Bp Nkoyooyo ng'awakanya Orombi kuby'omusambwa

Ebyafaayo bya Namirembe

Obulabirizi bw’e Namirembe bwe businga obukadde mu bulabirizi bwonna 34 obuli mu Uganda buno bwatondebwawo mu 1897, era bwajaguza emyaka 100 mu 1997.

Omulimu gw’okubuulira enjiri mu Uganda gwo gwatandika mu 1870, Kabaka Muteesa I ng’amaze okuyita abasomi ne baweebwa akasozi Namirembe. Ssekabaka Daudi Chwa yakola omulimu munene mu kuzimba Lutikko eriwo kati.
Ekkanisa eno bwe yali, ezimbibwa yafuna okusoomoozebwa okw’amaanyi. Eyasooka okuzimbibwa yatandikibwa mu 1891 ng’eno yasuulibwa kibuyaga mu 1894.

Omulimu gw’okuzimba ekkanisa eyookubiri gwaddamu okutojjera era gwatandikibwa mu 1895 ate n’eyabizibwa mu 1901.
Ekkanisa eyookusatu yatandikibwa okuzimbibwa mu kifo kino mu 1902 n’eggya omuliro gwa laddu mu 1910. Kabaka Daudi Chwa ne Katikkiro we Apollo Kaggwa baakola nnyo mu kugizimba.

Lutikko yabbulwamu omutukuvu Paulo olwo n’efuna ne motto yaabwe nti, “ Katonda ayinza byonna”.
Abantu abamu baawanuuzanga nti, ebikangabwa bino ebyatuukanga ku kkanisa byavanga ku misambwa egyalinga mu kitundu kino.

Abenvubu boogedde

Omuwandiisi w’ennono mu kika ky’Envubu, Kikambi Everest Beekalaze agambye nti, “Ekifo okutudde ennyumba y’a Ssaabalabirizi e Namirembe bwali butaka bwa kika kya Nvubu era Ssekabaka Mwanga ye yatusengula n’atuzza e Kyaggwe Mbazzi gye yatuwa ettaka.

Ekifo kino e Namirembe kyonna kya misambwa era wano we wali amaanyi ga lubaale Ddungu n’amaanyi g’obuyinza bwonna obw’abakulembeze era wano we gakkira.
Emmengo zaffe tukyazikuuma bulungi era ziriko lubaale waffe azikuuma ziri mu nnyumba okuliraana essomero lya Mengo we zikuumibwa.”

EBIWANUUZIBWA KU KKAPA ENZIRUGAVU

Abazungu bawanuuza nti kkapa ezirugavu ya bisiraani era etambulira mu misambwa.  Bo abagenda mu bbaala eza casino bw’asanga kkapa ezirugavu kiba kisiraani gy’ali era batera okumukuba ensimbi ze.

   Abagirimaani bo balowooza nti kkapa ezirugavu bw’esala ekkubo n’edda ku mukono ogwa kkono kiba kisiraani. Kyokka bw’eva ku ddyo nedda ku kkono guba mukisa.

   Ate mu Bagereki, bw’ekutunuuliza amaaso enkaliriza eba eranga kufa kwa muntu mu nnyumba eyo. Ate bw’eyingira mu nnyumba ereeta ebisiraani omuli okulwala oba okulwaza oluusi n’okufa era bo bagigobaganya nnyo.

   Abarooma bawanuuza nti kkapa enzirugavu bw’ogisanga n’etambula ng’ejja gy’oli kiba kisiraani naye ate bw’edduka ngedda gy’olaga giba mikisa.

Abamerika bawanuuza nti kkapa ezirugavu eranga ekisiraani naddala ku munnabyamizannyo.

 Abaganda bo bwanuuza nti kkapa ezirugavu bw’ekaabira awaka wabaawo omuntu afa, era nti etambuliramu omusambwa ng’esobola okulaba ekintu ggwe ky’otasobola kulaba. Bw’eyingira mu nnyumba mubaamu alwala oba afa oba nnyinimu okufiirwa omulimu.

   Wabula bo abalunnyanja baagala nnyo okugisanga kuba bawanuuza nti buli lwe bagisanga baba basanze mikisa tebafuna buzibu bwonna ku nnyanja.


Abalabirizi ababadde mu kifo kino

1961-1966 Leslie Brown (1912-1999)
1966-1974 Eric Sabiti
1974-1977 Janani Luwum
1977-1984 Silvanus Wani
1984-1995 Yonah Okoth
1995-2004 Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo
2004-2012 Henry Luke Orombi
2012-n’okutuusa kati Stanley Ntagali

 

Nkoyoyo ayogedde ku musambwa e Namirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni mu Kawempe nga bajaganya ku Akamwesi Gardens e Kyebando.

Bannange mukulike bbookisi

Bannange akalulu akaakubiddwa ku Lwokusatu tekaabadde kangu era abaakawangudde baba basaana kuyozaayozebwa nnyo....