TOP

Atawaanyizibwa alaje weekwate emmere eno

Added 11th January 2015

Alaje, buno bulwadde obujja singa omubiri guba gulwanyisa ebintu ebimu ebitali bya bulabe gye guli ate ne gwekolako obulabe obuva mu lutalo luno.

Alaje, buno bulwadde obujja singa omubiri guba gulwanyisa ebintu ebimu ebitali bya bulabe gye guli ate ne gwekolako obulabe obuva mu lutalo luno.

Obubonero omuntu kw’alabira nti afunye alaje mulimu okufuna ebirogologo ku lususu nga bino biba bisiiwa.
Oluusi omuntu azimba ekitundu eky’omubiri kyonna.

Omuntu ayinza okulumwa olubuto, okuddukana n’okusesema, okusiiyibwa amaaso ennyindo okuvaamu eminyira oba n’okufuna olufuba ng’obukutu bw’omukka buzimba ne buzibikira.

BIKI EBIGIREETA?

Ebintu ebitera okutaanuula omubiri ne gufuna alaje bingi ng’ebimu ku byo bye bino: Enfuufu, obwoya bw’ebinyonyi, obuwoowo, ebimuli, obubi bw’ebiwuka, ennyama, amata, ebinyeebwa, obunnyogovu, amagi n’ebirala bingi.
Engeri esinga obukulu mu kujjanjaba alaje kwe kuzuula ekintu ekigireeta era omuntu n’akyewala.

Okugeza bwe gaba mata omuntu n’agavaako, obuwoowo obumu oli n’alekera awo okubukozesa oba bw’eba nga kapeti nga y’evuddeko alaje n’eggyibwa mu nju.

Wadde bino weebiri naye ate waliwo eddagala erisaabulula ebirungo ebizaalibwa omubiri era ebivaako alaje. Waliwo eddagala eriwonya okusiiyibwa n’okuzimba nga alaje ettuse.

Eddagala erimu ligaana obutoffaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde okukola ennyo ne buleeta alaje. Eddagala lino erimu bwe likozesebwa ennyo liyinza ate okuvaako endwadde endala nnyingi.

EBIMERA EBIGIKKAKKANYA?

Ebimu ku bimera ebiyamba mu kukkakkanya endwadde ya alaje bye bino;
1 Katunguluccumu n’akatungulu- bino bijjudde ebirungo ebiyitibwa quercetin nga kino kye kimu ku birungo ebikkakkanya omubiri okwekolako obulabe.

2 Kamyu- ono mulungi naddala ku alaje ezeeyolekera mu kukolola, ezireeta ssennyiga awamu n’okuzibikira mu mukutu gw’omukka.

3 Ebimera ebirimu vitamiini C nga amapeera, vitamiini C kirungo kya maanyi nnyo mu kuziyiza omubiri okwekolako obulabe ate nga tekirina buzibu bulala bw’amaanyi bwekireeta eri omubiri.

Ebirungo ebiyamba okuziyiza kkansa

Omuntu okulwana olutalo lwa kkansa n’aluwangula ateekwa okwetegeka obulungi. Mu kwetegeka afuba okwekebeza ew’omusawo n’okulya emmere eyo emuyamba okuziyiza ebyandimuleetedde kkansa. Eno y’emu ku mmere gy’olina okwekwata okusinziira ku Dr. K. Medhi owa Medical Oncology mu Buyindi:


Kaamulali ayamba mu kuziyiza kkansa.

EKINZAALI: Kino mu Lungereza kiyitibwa Tumeric oba Curcum nga ky’ekisinga amaanyi mu kuziyiza kkansa olw’ebirungo ebikirimu. Mu birungo ebikozesebwa mu mmere ey’enjawulo kino ky’ekisinga amaanyi nga kirina ebirungo nga polyphel curcumin abakugu kye bazudde nti kikola nnyo mu kulwanyisa okukula kw’obutoffaali obuleeta kkansa nga ow’amabeere, ebizimba ku bwongo, ow’omu musaayi, ow’obusajja n’omulala.

BUDALASIINI: Ono singa osalawo okukozesa akatundu k’akagiiko buli lunaku awo kkansa oba omugobye. Budalasiini alimu ebirungo bya ayoni ne calcium ebiyamba okuziyiza okukula oba okuzimba kw’emisuwa mu mubiri. Budalasiini oyinza okumukozesa ng’omuteeka ku caayi, ku kyenkya ne mu mmere, mu juyisi gw’oba okamudde oba mu giraasi y’amata nga gatabuddwaamu omubisi gw’enjuki. Nga bino osobola okubinywa nga tonneebaka ekiro.

KAAMULALI: Naddala obutono obumyufu buyamba okuziyiza embeera y’obutoffaali obuyinza okwekuhhaanya ne mu musaayi ne buleeta kkansa w’omu musaayi. Ku ngeri gye bukaawamu tebukoma ku kukaayirira nnimi zaffe wabula bugoba n’obuwuka obwo obuleeta kkansa.

ENTANGAWUZI: Eno eyamba ku kusala amasavu agateetaagisa mu mubiri n’eyongera ku buserikale obulwanyisa obulwadde mu mubiri nga kino kiyamba okuziyiza obutoffaali obwandikoze kkansa. Kirungi entangawuzi bw’oba togiridde ogiteeke waakiri mu by’ofumba.

Ebirala ebiyamba okuziyiza kkansa mulimu katunguluccumu, enniimu ovakedo, akamuli ka rosemary.
Omuntu bw’anyiikirira okulya ebibala, enva endiirwa n’emmere ey’empeke nga kuno kw’otadde emmere erimu ebigoogwa ng’omuceere ogwa bbulawuni, emberenge biyamba mu kuziyiza kkansa.

 

Atawaanyizibwa alaje weekwate emmere eno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...

Tomusange

Omuzannyi akuba munne omupi...

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka...

Ssenga

Omusajja alina omukazi omul...

OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki? Mwana wange mu bikolwa by'omusajja...

Byarugaba

Bakutte 3 ku by'okutemula s...

POLIISI y'e Rukiga ekutte abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu ttemu lya ssentebe w'ekyalo eyanenyezza abavubuka...

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulan...

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti? Bannamateeka boogedde: Munnamateeka Male Mabirizi...