TOP

Katumwa aleetebwa leero mu kkooti ku gw'okusobya ku mwana

Added 12th January 2015

OKUNOONYEREZA ku musango gw’okukwata omwana ow’ekibiina eky’omusanvu oguvunaanibwa David Katumwa owa Katumwa Sports Centre, kuwedde nga poliisi egenda kumutwala mu kkooti enkya (Mmande) avunaanibwe.

 BYA ANTHONY SSEMPEREZA ne  SHAMIM NABUNNYA

OKUNOONYEREZA ku musango gw’okukwata omwana ow’ekibiina eky’omusanvu oguvunaanibwa David Katumwa  owa Katumwa Sports Centre, kuwedde nga poliisi egenda kumutwala mu kkooti  leero ku Mmande avunaanibwe.

Akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi y’e Katwe Benon Ayebare agamba nti bakung'aanyiza obujulizi obumala obubasobozesa okutwala Katumwa mu kkooti nga baasooka kukebera mwana wamu n’okubatwala mu loogi  ewa Zana gye baali.

Okwongera okunyweza fayiro eno, baagenze mu maka ga Katumwa e Makindye ne bagaaza okunoonya  obujulizi omwana bwe yabadde ayogeddeko.

Ensonda zigamba nti omwana yannyonnyodde endabika ya pajama Katumwa gye yali ayambadde era baayazizza okulaba oba gy’eri.   

Ekirala baabadde baagala okumanya oba omwana abadde azannya n’abaana ba Katumwa nga baabadde baagala okukwataganya omwana bye yayogedde n’ebiri awaka.

Omusango gwa Katumwa guli ku fayiro nnamba SD/45/07/01/2015, kyokka nga tannatwalibwa mu kkooti bajja kusooka kumukebera mutwe okuzuula oba mulamu bulungi nga kino kikolebwa ku buli muntu agenda okuvunaanibwa omusango ogw’amaanyi.

EBIBIINA BY’ABAKYALA BIMUTADDEKO AKAZITO

Ebibiina by’abakyala ebirwanirira eddembe ly’abaana bivuddeyo ne bitegeeza nga bwe bigenda okulondoola omusango gw’okusobya ku mwana okulaba nga gulamulwa mu mazima n’obwenkanya.

“Omwana ow’ekibiina eky’omusanvu bbujje lyennyini eryetaaga okuyamba nga buvunaanyizibwa bwaffe okulaba nga tumuyamba mu ngeri yonna esoboka”, Tina Musuya dayirekita w’ekibiina  kya Centre for Domestic Violence Prevention (CEDOVIPP) bwe yategeezeezza.

Musuya agamba nti omwana yeetaaga okuweebwa obukuumi kuba asobola okutuusibwako obulabe engeri gye yaloopye omugagga.    

Ekirala omwana ono ateekwa okutwalibwa  mu ddwaaliro yeekebejjebwa kuba abasajja abamu babeera n’endwadde ez’obukaba z’ayinza okuba nga yazifuna okuva lwe yeekakatibwako. 

Ekirala ebibiina ffenna abalwanirira eddembe ly’abaana tugenda  kuvaayo tuyambe omwana ono tumubudeebude asobole okuyambibwa mu bwongo, kuba singa takifuna ayinza okukosebwa mu bwongo n’akyawa abasajja n’agaana n’okufumbirwa.

DAVID KATUMWA Y’ANI?

OMUGGAGGA Daevid Katumwa 37, musajja musuubuzi. Obusuubuzi yabutandikira mu katale ka Owino gye yatundanga engatto enkadd n’engoye eby’emizannyo. Bino yabitandika oluvannyuma lwokuva mu ssomero amangu ng’alemeddwa okwesasulira ebisale.
  • Agamba yazaalibwa mu maka maavu era nga ye kennyini ye yeenonyezanga fiizi ng’atunda Kabalagala  okutuusa lwe yalemererwa nadda mu owino okuyimba emivumba.  Eno yafunayo omudaala gwe ogwengoye era gukyaliyo kuba agwagala nnyo.
  • Bwe yaweza ku ssente kwe kwejjulula n’ava mu Owino n’akola edduuka erya Katumwa Sports Centre, edduuka lino ligaziye era kati aweza amatabi 20 mu ggwanga lyonna.
  • Katumwa munnabyamizannyo era omupiira yaguzannyako. Ono awagidde eby’emizannyo mu ggwanga omuli emipiira gy’ebika, n’Amasaza mu Buganda ne Uganda  Cranes.
  • Katumwa yaddayo okusoma  era n’akola ebigezo bya siniya eyokuna nafunayo obubonero obumutwala ku haaya, kyokka teyamaliriza.
  • Okweggyako ekikwa ky’obutasoma n’obutajeregebwa baasoma yafuna omuwala eyali ku yunivasite n’amuganza era n’amuzza mu dduuka lye asobole okutambuza emmaali ye. Wabula ono baaayawukana ng’amuzaddemua abaana basatu.

 

Katumwa atwalibwa nkya mu kkooti ku gw’okusobya ku mwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...