TOP

Owa UPDF abadde yaakava e Somalia bamugabyeko abalongo

Added 12th January 2015

MUSAJJAWATTU abadde mu ddukadduka n’okubwatuka kwa bbomu n’okwewoma amasasi mu ddwaaniro e Somalia okumala emyaka esatu nga mu byonna akolerera nnaalongo we n’abalongo be yaleka nga ba wiiki emu yokka.

BYA LAWRENCE KITATA

MUSAJJAWATTU abadde mu ddukadduka n’okubwatuka kwa bbomu n’okwewoma amasasi mu ddwaaniro e Somalia okumala emyaka esatu nga mu byonna akolerera nnaalongo we n’abalongo be yaleka nga ba wiiki emu yokka. 

Tomasi Kateregga ow’e Kasokoso Kireka nga muserikale wa UPDF yamaze eddakiika mu ddiiro ng’alinda abalongo bajje bamwanirize kyokka nga tewali kanyego.

Yalabye akasiriikiriro kasusse kwe kubuuza mukyala we Lydia Namugenyi wa abalongo gye bali. Ono yamuzzeemu nti alina gye yabatwala nga bamutawaanya kyokka ate ekyamuggye enviiri ku mutwe kwe kuwulira bbebi akaaba so nga ye amaze emyaka esatu nga talaba ku nnaalongo.

Kateregga agamba: Okukimanya nti abalongo si bange, abatuuze be banzibiddeko nti omukyala abaana yabagabira omutuuze omulala, Anthony Musoke era gye bali. Nazikubyemu ne zaaka ne mmanya nti bino birina kuggweera ku poliisi. 

Mbadde e Somalia okumala emyaka esatu  era nga we nabeererawo mukyala wange yali ali lubuto ne ndulabirira okutuusa lwe yazaala nga mmanyi ndabirira lubuto bange. Nagenda e Somalia mu 2012 nga wayise wiiki emu ng’omukyala azadde abalongo. Buli mwezi mbadde mpeereza emitwalo 40 nga zaakulabirira baana, awaka ne mmange.

Maama n’abaana bange abalala yabagoba awaka, ssente abadde azikolamu bibye okuli okugula poloti ssatu e Namugongo, Kireka n’e Mutungo.”

Nga bali ku poliisi, Musoke yavuddeyo  n’akawahhamula nti abaana babe era omukyala ono naye yali amulabirira nga ne mu ddwaaliro lwe yazaala abalongo ye yagenda okumujjanjaba.

Musoke agamba: Namugenyi yandeetera abaana nga balina omwaka gumu ng’agamba nti baali balwalalwala wabula ng’okuva lwe yabaleeta awaka babadde tebaddangamu kufuna buzibu”.

Oluvudde ku poliisi Kateregga awazeewaze Namugenyi n’amutwala mu nnyumba gye yamulekera n’amukasukira buli kikye ebweru, n’amugoba. 

Owa UPDF abadde yaakava e Somalia bamugabyeko abalongo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...