TOP

Ow'abaana 19 afunye 11 mu PLE n'asinga muwala we

Added 18th January 2015

OMUSAJJA ow’abaana 19 n’abakyala babiri eyatudde ne muwalawe afunye obubonero 11 n’asinga muwalawe eyafunye 20.

Bya DAVID KIBUUKA

OMUSAJJA ow’abaana 19 n’abakyala babiri eyatudde ne muwalawe afunye obubonero 11 n’asinga muwalawe eyafunye 20.

Awali Tezikuba, 50 omutuuze w’e Bufulubi mu Zooni B era nga ye ssentebe w’ekyalo ekyo, mu ggombolola y’e Baitabogwe ye yakoze PLE ne muwalawe Janat Mukisa, 14 nga baatuulidde ku Bufulubi P/S. 

Tezikuba yategeezezza nti si musanyufu olw’obubonero bwe yafunye kubanga abadde akolerera 4 ate n’eky’okusinga muwalawe tekyamusanyusizza.

Tezikuba mu Lungereza yafunye 3, okubala 2, SST 2 ate Saayansi 4.
Ye Mukisa yafunye Olungereza 6, Okubala 4, SST 6 ne Saayansi 4.

Agamba nti okuddayo okusoma yali ayagala kusanyusa baana be n’okubazzaamu amaanyi bamanye obukulu bw’okusoma.

Yategeezezza nti agenda kweyongerayo mu siniya era attunke ne muwalawe ono. Bakyala ba Tezikuba okuli Salimati, 47 ne Masitula Namukob, 39 bagamba nti basanyufu olwa bbaabwe okuyitira waggulu PLE ne bamusaba agende mu maaso n’okusoma afuuke minisita.

Ajjukizza omubaka mu Palamenti owa Bunya West, Vicent Bagire eyamusuubiza okumukolera akabaga singa ayitira mu ddaala erisooka.

 

Ow’abaana 19 afunye 11 mu PLE

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?