
OBUTABA na musaayi bulwadde nnyo gye tuli naye bangi tetukimanyi. Bw’otoba na musaayi gumala mu mubiri gwo ofuna obuzibu obutali bumu okugeza nga kammunguluze. Wano mu Afrika obulwadde buno butawaanya abantu omuli n’okubatta.
Omuntu atalina musaayi gumala aba n’obutoffaali bw’omusaayi obumyufu butono. Obutoffaali buno bwe buwa omusaayi ekirungo ekireeta langi yaagwo emmyufu ate era bwa mugaso mu kwetikka omukka gw’obulamu gwe bwetaaga ogwa okisijeeni.
Omuntu bwataba na musaayi gumala, ennyama y’omubiri eba tefuna mukka guno ekivaako ebitundu by’omubiri ebyenjawulo okuba nga tebikola bulungi. Mu baana obwongo buzingama, tebukula bulungi, b’ebo abaana abakaluubirirwa ennyo mu kibiina okuyiga obulungi. Oluusi kino kivaako n’okubongoota nga buli kadde omuntu aba ayagala kwebaka.
Ebimu ku bireeta omuntu okuggwaamu omusaayi mulimu, endya embi, okulwala omusujja gw’ensiri, okuba n’obutoffaali obugoomye nga tebuli mu mbeera nnungi, okulwala ennyo mu nsonga z’omwezi, okuzaalira
okumukumu, okuba n’enjoka mu lubuto, amabwa mu byenda, kookolo w’ebyenda, obusomyo obutakola musaayi gumala kookolo w’obusomyo, ensigo ezitakola bulungi n’eddagala erimu erigendererwa okujjanjaba endwadde endala ate liyinza okugaana obusomyo okukola obutoffaali bw’omusaayi.
OBUBONERO KW’OLABIRA
Buno bwe bumu ku bubonero omuntu kw’ayinza okulabira nti talina musaayi gumala.
Okukoowa amangu buli lw’ogezaako okukola ennyo.
Okulumwa omutwe.
Kammunguluze.
Entunnunsi okukuba ennyo.
Okukwatibwa amangu endwadde ezireetebwa obuwuka obusirikitu nga ssennyiga n’endwadde z’ensusu eziva ku buwuka.
ENGERI Y’OKUKIRWANYISA
Endya ennungi yeetaagisa okulwanyisa obutaba na musaayi gumala kuba ebirungo ebiva mu mmere bye biyamba okuzimba obutoffaali bw’omusaayi.
Ebirungo ebisinga okuba eby’omugaso ku nsonga eno mwe muli ayoni, ebiriisa ebivaamu amaanyi, vitamiini B12, omunnyo oguzimba obutambi obuzaale. Vitamiini B1, B2, B6, C, E ne cop¬per nabyo birungo ebyetaagibwa okukola omusaayi.
Omuntu atalina musaayi gumala yeetaaga okulya ebimu ku bintu bino wammanga: ebijanjaalo, ebibala nga beetroot, ovakedo, obutunda, ennimu, grapes, en¬tungo za sunflower, enva endiirwa nga ebbugga n’ennyama.
Enniimu ya mugaso mu kuy¬amba ekyenda okunyuunyuunta omunnyo gwa ayoni mu byokulya.
Beetroot- Alimu ayoni ne vitamiini C ng’ono aluhhamya ennyuun-yuunta ya ayoni mu mmere. Alina n’ebirungo ebirala ebyetaagibwa obusomyo okusobola okuzaala obutoffaali obumyufu obumala.
Beetroot ono asobola okuli¬ibwa mu salad oba okumunywa nga juyisi waakiri emirundi ebiri olunaku.
Omuntu atalina musaayi gumala asaanye akendeeze oba yeewale ebintu ebikoleddwa mu hhaano, amata, amajaani, n’eby’okunywa ebitamiiza.
EKIZIMBA bwe kikukwata osula oboyaana ng’okufuna obuweerero omala kugenda wa musawo.
Abasinga bagamba nti, ebizimba biva ku bucaafu, okukozesa ekintu alina ekizimba ky’amaze okukozesa nga tawulo, oba engoye ssaako obutalya mmere erimu kiriisa kya vitamiini ng’ebibala n’enva endiirwa.
Okusinziira ku mukutu gw’ebyobulamu ogwa Healthy Digest, omuntu ng’akwatiddwa ekizimba asobola okukozesa bino okukikkakkanya oba okuwonera ddala:
Amata gayamba okukkakkanya ekizimba
1. Amata: Funa ekikopo ky’amata ogafumbe ogattemu ebijiiko by’omunnyo bisatu otabule bulungi, osobola ok¬wongeramu ehhano okutuusa nga bikutte bulungi. By’omaze okutabula bisse awali ekizimba obirekeko okumala ebbanga okutuusa nga bikaze bulungi. Kirungi okukikola emirundi egitakka wansi w’essatu olunaku.
2. Akatungulu: Osala akatungulu n’okassa ku kizimba n’okasibirako akagoye okumala ebbanga okutuusa bw’owulira ng’ebbugumu eriva mu katungulu likuyingidde, kino okikola emirundi ng’esatu olunaku.
3. Eggi: Sooka olifumbeko bw’omala olisuse oggyeko ekyeru. Ekyeru kino ky’oggyeeko kisseeko amazzi okisibe mu kifo kyennyini awali ekizimba ng’okozesa akagoye kyokka kalina okuba nga katukula bulungi. Enjuba kakasa nga ogiggyeemu.
4. Katunguluccumu: Osooka kumusekula bulungi n’omussa awali ekizimba n’omulekawo okumala ebbanga. Obulumi bujja kugenda n’obuzimbu buggweewo.
5. Butto w’ebinazi: Omussa ku kizimba n’amalako ekiseera kyokka tolina kumutabulamu kintu kyonna. Kino oteekwa okukikola emirundi egiwerako.
6 Amazzi agookya: Oddira amazzi agookya n’ogassaamu omunnyo. Funa olugoye olusse mu mazzi agookya ng’oga-taddemu omunnyo. Ekiwero kisse ku kizimba kimaleko eddakiika ezitakka wansi wa 10, nga kino osobola okukikola emirundi egiwerako
Atalina musaayi gumala lya bino