TOP

Eyasse mukaziwe bamukutte ne muk'omusajja

Added 1st March 2015

DDEREEVA wa takisi eyatta mukaziwe bamukutte ne muk''omusajja gwe yapaaza ne beekweka e Kibaale mu Bunyoro. Muk''omusajja gwe baamukutte naye abadde mu ddya ng''alina n''abaana bataano.

Bya SARAH ZAWEDDE

DDEREEVA wa takisi eyatta mukaziwe bamukutte ne muk'omusajja gwe yapaaza ne beekweka e Kibaale mu Bunyoro. Muk'omusajja gwe baamukutte naye abadde mu ddya ng'alina n'abaana bataano.

Alex Sendagire oluusi nga yeeyita Akim abadde avugira ku luguudo lwa Nakawa Ntinda Kampala nga yakukunuddwa Kibaale gy'abadde amaze emyezi ebiri nga yeekukumye oluvannyuma lw'okutta mukaziwe gwe yatema ebiso ebisoba mu 13 .

Nga December 29 omwaka oguwedde, ddereeva Sendagire yalumba mukaziwe Tausi Kiconco gye yali anobedde e Buwaate mu ggombolola y'e Kira n'amufumita ebiso mu kifuba emikono n’omubiri gwonna ebyavaako okufa kwe.

Omukyala gwe yatta babadde baakamala naye emyaka 11 nga balina omwana omu nga baakakasa n'obufumbo bwe baakola e Mbarara mu December wa 2013.

Kigambibwa nti okwanjula baakukola kuggyawo butakkaanya bwe baali nabwo ng'omukyala yeemulugunya olwa bba okumuleka mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa, nga tatuuseeko na waabwe.

OKUKWATTIBWA

Poliisi ng'eri wamu n'abenganda z’omugenzi baasoose kukwata omukazi Sendagire gwe yasigula mu ddya ayitibwa Hasifah Nambooze ng'ono baamukwattidde ku kyalo Biryaba e Kyazanga ewa nnyina omuto gye yabadde agenze okunoonya ennyumba ey'okusengukiramu bave e Kibaale gye babadde okuva Sendagire lwe yatta mukyalawe n'adduka. Omukazi baamusanze yaakava ku luzzi ne bamunyweza ne bamukomyawo e Kampala.

Yasabye baleme kumutuusako bulabe waakiri abatuuse ku Sendagire. Yabatutte e Kibaale gye baakukunudde Sendagire mu kazigo gy'amaze emyezi ebiri nga yeekukumye.

Poliisi yayazizza ennyumba ne basangamu akafaliso akatono ddala k'abadde asulako. Wabula abadde yafuna omulimu ng'avuga mmotoka ezisomba omusenyu.

Nambooze gw’abadde yasigula ew’omusajja nga gw’abeera naye

‘NAMUTTA LWA MUKWANO MUNGI’

Sendagire agamba nti okutta mukaziwe gwali mukwano mungi. Yagambye nti, “Twali tubeera Bwaise Tausi n'antegeeza nga bw'ankooye kubanga ndi mwenzi.

Nagezaako okumwegayirira ansonyiwe kubanga abakyala balina abaana bange. Yasibamu ebibye n'agenda mu kitundu gye simanyi.

Namulondoola ne ntegeerawo era ne ntandika okumukyalira nga bba. Namusaba tuddihhane era n'ansaba obukadde bubiri. Nasooka kumuwaako 1,500,000/- kyokka nali sinnaba kuzimalayo ne nkwatirayo engatto z’omusajja omulala mu nnyumba ekyannyiiza.Olunaku lwe namutta entabwe yava ku kusanga musajja mulala mu nnyumba.

Twalwana¬gana n’omusajja ne mmufumita ekiso ne yeemulula n'adduka. Nasigaza Tausi gwe nafumita ebiso ebingi namuleka ataawa ne nziruka ne nninya takisi yange ne mbulawo. Nasibira mu kifo we tuzitereka ku ssaawa nga 5.00 ez’ekiro ne ngirekayo.

MAAMA W'OMUGENZI ATABUSE

Nnyina w’omugenzi Hajati Janat Basuuta yagambye nti, “Sendagire onnanze ki? Kiki kye nakukola n’otuuka okutta omwana wange omuwala omu yekka gwe nalina mu bulamu. Omwana wange abadde mupakasi wo nga y'akwoleza engoye. N’oganza abakazi ab’enjawulo kyokka bw'ova mu loogi n’oleeta engoye n'ayoza ekiseera kyonna.

Muwala wange yakundeetera ne nkusuza mu maka gange okumala myaka ebiri. Omubbye ssente n'aguma nakuleka n'ozitwala mu bakyala abalala. Yakujjanjaba ng’ogudde ku kabenje ne tukujjanjaba n’owona kino kye wansasudde?

Nakusuza ewange okumala omwaka mulamba naye kiki kye nail nkufunyeemu? Muwala wange yateeka ssente mu mukolo gw’okwanjula n'atuuka n’okugula ente akuweese ekittibwa era ekyalo kyonna ne kikutendereza kyokka nga tolina kye wakolawo.

Nambooze gw’abadde yasigula ew’omusajja nga gw’abeera naye

Omubbye ssente n’ogulamu takisi oluvannyuma ne weewaana. Kyokka n'ova awo ate n'omutta?
Oli munaku muzibu nga buli kirungi obadde okufunira ku mwana wange n’onyirira. Laba kati bw'ofaanana! Nange ontiisatiisa okunzita ne muzzukulu wange. Wabula nkoze ekisoboka okulaba ng'okwatibwa

NAMBOOZE AYOGEDDE

Muk’omusajja Hasifah Nambooze yagambye nti, “Mbadde mbeera Kyebando kyokka baze n'angoba bwe yafuna olugambo nti ku baana abataano be nnina ababiri abato ba Sendagire. Nasitula abaana mbatwalire ssenga waabwe e Kiboga era gye nasanga Sendagire. Nasoma amawulire ga Bukedde nga galaga nti, Sendagire yatta mukyalawe kyokka nga buli lwe ngezaako okubimubuuza ng'aboggola ensonga ne nzivaako

Mwannyina abaana yabagaana. Sendagire n'asalawo tweyongereyo e Kibaale era gye tubadde tubeera eki¬seera kyonna. Nabadde hhenze Kyazanga kulaba ku baganda zange era eno gye bankwatidde.

POLIISI EYOGEDDE

Akola ku musango guno ku poliisi y’e Kira D/AIP Slyvia Namona agamba nti bombi bakwattiddwa naye Nambooze agenda kubayambako mu kunoonyereza ku musango guno era agenda kukola sitatimenti ateebwe. Kyokka okunoonyereza kukyagenda mu maaso

 

Eyasse mukaziwe bamukutte ne muk’omusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...