TOP

Walter Lubega Mukaaku ayagala ntebe ya Mao.

Added 29th March 2015

BW’OYOGERA ku linnya lya Samuel Walter Mukaaku Lubega, buli omu amutegeera bubwe, anti abamu bamujjukirira ku kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2011 ate abalala bamwogerako nga munnabayabufuzi omulungi atalina mukisa gwa kuwangula kalulu mu byobufuzi.

Bya KIZITO MUSOKE

BW’OYOGERA ku linnya lya Samuel Walter Mukaaku Lubega, buli omu amutegeera bubwe, anti abamu bamujjukirira ku kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2011 ate abalala bamwogerako nga munnabayabufuzi omulungi atalina mukisa gwa kuwangula kalulu mu byobufuzi.

Agamba nti yatondebwa nga munnabyabufuzi era omulwanirizi w’eddembe, agenda okufuuka pulezidenti w’ekibiina kye ekya Democratic Party, awamu n’okubeera pulezidenti w’eggwanga mu 2016. Agamba:

“Banzaala Mitala Maria mu Mpigi, yadde nga nakulira Kawempe mu Kampala. Pulayimale nagisomera Ssese ku bizinga. Siniya nagitandikira ku Old Kampala S.S.S, kyokka S.4 ne ngituulira Mitala Maria, ate haaya ne ngisomera ku Gombe S.S.S. Nasoma dipulooma okuva e Kyambogo mu busomesa, ate oluvannyuma ne nnyingira Makerere ne nfuna diguli mu byenfuna mu byobulimi.

Okuva edda , ndi mukulembeze, era naliko ssentebe wa Nkobazambogo mu yunivasite e Makerere. Saakoma awo kuba navuganyaako ku bukulembeze bw’abayizi e Makerere. Nakulemberako n’abayizi abasoma ebyobulimi e Makerere okumala emyaka ena.

TUTANDIKA UYD
Nga ndi wamu ne bannange okuli Joseph Luzige, Dr. Lulume Bayiga, Opendi Ochwo, twakola ekibiina kya UYD ne tulonda Luzige nga pulezidenti ate nze ne nfuuka omwogezi. Twatandika okuyingiza abavubuka mu kibiina omwali Kenneth Paul Kakande, Rosemary Namayanja n’abalala.

Nali musaale nnyo mu kampeyini za 1996, nga njiggira Dr. Paul Kawanga Semogerere obululu. Mu kiseera kitono twali tumaze okuwamba Kampala, Masaka, Jinja awamu ne Gulu mu bululu.

Twafuba okunnyikiza ekibiina kya DP era nga kaweefube waffe twamutandikira Luzira, Kawempe, Makerere, kyokka abamu baatusiba era amakomera mwe bansibira n’emirundi siyinza kubibala naye era tebyanzigya ku mulamwa.
Nawalirizibwa okudduka mu ggwanga, nga waliwo abaagala okunnemesa obulamu nga naddukira Bungereza era n’eno emirimu gy’ekibiina saagirekerera.

ABALALA ABAAGALA ENTEBBE YA MAO

Loodi MEEYA, Erias Lukwago:   Ono munnamateeka omutendeke, era nga yaliko omubaka wa Kampala Central. Yalondebwa ku bwa Loodi mmeeya mu 2011, kyokka bakansala ba KCCA ne bamukunkumula omukono mu kibya. Ono aludde ng’alwanyisa obukulembeze bwa Mao, bw’agamba nti tebuli mu mateeka, era nga mu kulonda okwaggwa, yavuganya talina kibiina kya bufuzi kw’ajjidde.

 

Dr. Lulume Bayiga:  Ono musawo omutendeke era nga mubaka wa Palamenti owa Buikwe South. Y’omu ku baatandika ekibiina kya UYD, ekiri wansi wa D.P. Ono naye ali mu kibinja ekyali kyagaana okutongoza obukulembeze bwa Mao.

 

KENNETH PAUL KAKANDE:   Y’omu ku bavubuka abaasooka mu kibiina kya UYD, era nga yamala emyaka mingi nga mukulembeze waakyo. Aludde ng’avuganya ku bubaka bwa Palamenti e Nakawa, kyokka nga tawangula. Wabula ku mulundi guno ayagala kusitukira mu Bwapulezidenti bwa DP.

NKOMAWO MU UGANDA
Mu 2010, nakomawo mu Uganda era nga mu kiseera we nakomerawo twali tugenda mu kamyufu ka Democratic Party e Mbale, kyokka okusinziira ku nteekateeka gye nasangawo nagaana okubyetabamu, nga tewali bwerufu.

Ekyewuunyisa ku bakulembeze ab’oku ntikko 42, abantu bataano bokka be baalwetabamu nga ne ssentebe eyali ow’okulukubiriza, Polofeesa Mukiibi n’omumyuka we Haji Ali Serunjogi nabo tebaalinnyayo.

Kino kyampaliriza okwesimbawo ku bwapulezidenti nga sirina kibiina kwe nvuganyirizza, kyokka ekirungi nalina obuwagizi okuva mu bannakibiina bonna abateetaba mu ttabamiruka eyaleeta Mao.

NNEESIMBA KU BWAPULEZIDENTI
Nneewandiisa era ne nvuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu 2011. Abantu abamu baali balowooza nti sijja kumalako kyokka kyabeewuunyisa bwe navuganya ne ntambuza kampeyini, era bwe twali tuzzaayo empapula nze nasooka okulaga ensaasaanya ya ssente mu bonna abaali beesimbyeyo.

Waliwo abagamba nti nadduka mu kampeyini, kino si bwe kyali, waliwo ennaku nnya navaayo ne hhenda e Canada okunoonya ku buyambi ndowooza awo we baalowooleza nti nzidduseemu.
Olulala nzijukira twalina olukiiko ne ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda okumala olunaku ne batuggyako mmotoka nti bazikanika ne sisobola kutambula naye nga si kyeyagalire.

Disitulikiti bbiri zokka okuli Buvuma ne Kisoro ze saatuukamu, naye ng’endala zonna nazituukamu. Olaba luli navuganya bwentyo nga sirina kaadi ya DP, naye bwe bagimpa kati babeera bafudde.

2016 BANNEERINDE
Ttabamiruka waffe aliwo nga June 11, 2015, era mu kiseera kino ndi mu kaweefube wa kugatta ab’oludda oluvuganya gavumenti, era kino kye kyantutte mu lukiiko lwa Mao, kuba eno gye nnina okusookera okutereeza.

Kyokka aba DP singa era bategeka akamyufu omutali bwenkanya, nja kuvuganya ku Bwapulezidenti bw’eggwanga mu 2016 nga sirina kibiina. Mu kiseera kino eggwanga lyetaaga abantu abalengerera ewala, bamwoyogwa ggwanga nga Samuel Lubega Mukaaku.” bwe yategeezezza.

Kyokka abamu Lubega bamulaba ng’atalina buwanguzi bw’ayinza kutuusa ku kibiina olw’engeri gy’azze awangulwamu mu kulonda okw’enjawulo kw’azze yeetabamu.

Okuva mu 1998 yali ku kyeyo, kyokka bwe yakomawo mu 2001, yavuganya ku bubaka bwa Palamenti obwa Kawempe North, kyokka n’awangulwa Latif Sebaggala. Mu 2006 yavuganya Busiro East, kyokka era n’awangulwa Suzan Nakawuki owa FDC.

Mu 2011, yavuganya ku bwapulezidenti era n’awangulwa, kati ekibuuzo 2016, guyinza okubeera omwaka gwe?

 

Walter Lubega Mukaaku ayagala ntebe ya Mao.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...