TOP

Ayokeddwa omuliro mujanjabe bwoti

Added 5th July 2015

OYOKEDDWA omuliro, amazzi oba ebyokya ebirala, okwokebwa kweyolekera mu biti bya mirundi nga essatu. Waliwo omuliro ogweyolekera ku kabubi k’olususu ak’okungulu kokka okugeza ng’okwokebwa omusana.

OYOKEDDWA omuliro, amazzi oba ebyokya ebirala, okwokebwa kweyolekera mu biti bya mirundi nga essatu. Waliwo omuliro ogweyolekera ku kabubi k’olususu ak’okungulu kokka okugeza ng’okwokebwa omusana.

Ekiti ekyokubiri, omuliro guyingirako munda katono mu bububi bw’olususu obw’omunda era nga guno gutera okweyoleka n’obulumi obungi.

Ekiti ekyokusatu era ekisinga okuba ekibi, omuliro guba gwokezza era ne guyingira olususu n’ennyama. Tekitera kweyoleka na bulumi bungi kuba omuliro guba guyingiridde ddala mu lususu n’ennyama era nga guno guba gwonoonye obusimu obutambuza obulumi eri obwongo.

Ekika kino kyetaaga obujjanjabi okuva eri omusawo omukugu mu ddwaaliro.
Bino wam¬manga byebimu ku biyinza okuyambako eri ayokeddwa akatundu k’omubiri akatono:
Osobola okuyiwa amazzi agatukula agannyogoga ku lususu awookeddwa, kino kikendeeza ennyama okuggya n’obulumi. Tokulukuunya oba okusiba awayidde. Ayidde osobola okumuwa ku ddagala erikkakkanya obulumi.

Emirundi mingi awayidde wawona mu bbanga ttono nga lya wiiki emu. Wabula singa wajjawo ebbwa, omulalina okutwalibwa mu ddwaaliro.

wadde 

EBIMERA BINO BIKKAKKANYA AWOOKEDDWA:
EKIGAGI: Kirimu ebirungo ebireetera omusaayi okwongera okukulukutira mu bitundu awaba wayidde kino ne kivaako ebirungo ebiwonya, omubiri ogukoseddwa, okweyongera mu kitundu ekyo. Ekigaji era kirimu ekirungo kya ‘carboxypeptidase’ ne ‘bradykininase’ ebiyamba okukkakkanya obulumi n’okutoowolokosa awaba wazimbye.

Amazzi g’ekigagi era galimu ebirungo ebitta obuwuka obusirikitu obuvunza nga bino biziyiza awayidde, okuvunda oba okukukula.

 

 


EMBUTAMU: Eno etera kukozesebwa n’ebyo ebirimu vitamiini C. Ebirungo ‘asiatic acid’, asiaticoside ne madecassic acid ebiri mu mbutamu bireetawo okukkakkanya okuzimba n’okuddaabiriza omubiri oguba guyidde.

KATUNGULUCCUMU N’OBUTUNGULU: Bino obisekulira awatukula n’oteeka awayidde. Biyamba okuziyiza obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde okulumba omubiri oguba guyidde.

Woyiro ava mu bimera nga KALITTUNSI, AKATUNGULU, ‘ROSEMARY’, ‘PEPPERMINT’ NE ‘LAVENDER ‘ ateekebwa ku kitundu awaba wayidde ne buleetawo okuwona amangu. Jjukira nti woyiro ono talina kunywebwa, kuba ne ka ddoozi akatono kayinza okuba ok’obutwa mu mubiri.

Omuntu ayokeddwa ennyo omuliro aba alina okuggyibwa awali ebyokya n’obwegendereza. Bikka awayidde n’olugoye olu¬tukula otegeke okumutwala mu ddwaaliro amangu ddala nga bwe kisoboka
 

Ayokeddwa omuliro mujanjabe bwoti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...