TOP

Mukulu wange yadda n'abanja eyali andyazaamaanya

Added 26th June 2016

Yasembyayo kunkuutira okwegendereza abantu, n’okutya ennyo ensi era buli lw’alabawo embeera gye yeekengera oba oli awo ng’ajja ng’akugamba nti, ‘Nakugamba okubeera omwegendereza, kati lwaki weeyisa bw’otyo?’ Sarah Nassanga 37 ow’e Sseguku anyumya engeri mukulu we Zam Nagujja gy’atabalekeredde:

 Nassanga  anyumya ku mukulu we amulabula. Omugenzi Nagujja.

Nassanga anyumya ku mukulu we amulabula. Omugenzi Nagujja.

Bya HASIFAH NAAVA

Yasembyayo kunkuutira okwegendereza abantu, n’okutya ennyo ensi era buli lw’alabawo embeera gye yeekengera oba oli awo ng’ajja ng’akugamba nti, ‘Nakugamba okubeera omwegendereza, kati lwaki weeyisa bw’otyo?’ Sarah Nassanga 37 ow’e Sseguku anyumya engeri mukulu we Zam Nagujja gy’atabalekeredde:

Mukulu waffe Nagujja yatandika okulumizibwa omutwe mu 2003. Lwe gwasooka okumuluma ennyo baamujjanjabira ku Namulundu e Kajjansi n’atereera.

July wa 2003 ng’atandika yakomawo okuva ku mulimu ng’agamba nti, ‘Bannange nfa’, ne tumuddusa mu ddwaaliro e Kajjansi bwe twamutuusaayo baamukebera ng’embeera ye mbi kye baava batusindika e Nsambya.

Waayitawo ennaku bbiri ng’ali ku kitanda e Nsambya omutwe gweyongera okumuluma ne gumufuula n’amaaso nga naffe abamujjanjaba atutiisa. Bwe waayitawo wiiki emu ne gaziba nga takyasobola kutunula, wabula buli lwe gwamulumanga ng’agamba nti, ‘Baganda bange mbakuutira ekintu kimu mwegendereze nnyo abantu, ate ensi eno mugitye’.

Lwe yafa nga July 18, 2003 yampita n’ahhamba nti Sarah nze nfudde naye ensi eno nzibu era mugyegendereze, nkukuutira ebigambo bino naawe obikuutira abaana bange.

Addamu okundabula

Waliwo gwe nali nawola ssente ng’ono nali ntutte ebbanga nga mmubanja. Ono namusanga ne mmubuuza ddi lw’alinsasula, yanziramu kimu nti bwe mba njagala hhende ku poliisi.

Twayawukana nnina obusungu ne nsalawo nti bwe bukya nsookera ku poliisi. Ebiseera ebyo waali wayise emyaka ebiri bukya tuziika mukulu waffe.

Ekiro ekyo mukulu wange yandoosa n’ahhamba nti, ‘Nali mmanyi njogera na muntu mukulu akwata bye bamugamba! Nakugamba weegendereze ensi, kati oyo omutwala ku poliisi ofunemu ki?

Natya nnyo ne mpawamuka mu tulo, naye oluvannyuma naddawo ne nneebaka n’ahhamba nti, ‘Saagala kuncankalanya bye nakugamba olina okubissa mu nkola sikulaba ng’ogenze ku poliisi wabula ky’oba okola zuukuka ekiro kino ofune wuzu osaale weegayirire Katonda ojja kulaba nga ssente zo azikuwadde nga temusise muguwa’.

Bwe nasisimuka ne nfuna akadomola ne nfuna wuzu ne nsaala ,namala wiiki nnamba nga y’anzuukusa nti golokoka ekiro osaale gw’obanja ajja kukusasula.

Wiiki yali eggwaako kye nzijukira lwali Lwakutaano, mba ndi awo nga gwe mmanja ajja ahhamba nti mmusonyiwe okunneeyisizaako obubi era ng’andeetedde ekitundu ku ssente zange n’ansuubiza endala okuzimalayo ku Lwokubiri. Era bwe gwali.

Naddamu okuloota mukulu wange nga tuva kusaala Juma n’ansiibula n’abula okuva olwo ebigambo bye mbissaako essira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...