
Taus Nakato ne Hadijah Babirye bagamba buli kimu bakifaananya era ne baganzi baabwe waliwo lwe bababuzaabuza.
Omukwano gwe balina tebaagala kuteηηana era bagamba nti baagala n’embaga yaabwe ebeewo ku lunaku lwe lumu, kuba omu bw’aligenda omulala ekiwuubaalo kisobola okumukosa obulamu bwe bwonna.
“Twetaaga okwanjula n’embaga zaffe zikolebwa lumu era abasajja abaagala okutuwasa balina okwenyweza kuba ebyaffe tubitambuliza wamu,” Nakato bwe yategeezezza.
Mu mboozi ne Bukedde ku Ssande, Nakato yagambye nt n’okutuusa leero basula mu nnyumba emu, bafumbira wamu n’engoye bambala zifaanagana. Nakato yagambye nti kyangu muganzi we okusanga Babirye n’amubuulira bye yandibadde agamba ye (Nakato) nga tamanyi nti ayogera na mulala.
“Obuzibu n’amaloboozi gaffe gafaanagana n’engeri gye twekolako olumu yeemu. Olumu ne lipusitiiki tusooka kumukkaanyaako nga tetunnamwesiiga,” Nakato bwe yagasseeko. N’enneeyisa yaabwe y’emu.
Bombi basaazi ate n’akamwenyumwenyu kaabwe ke kamu. “Bw’osanga Babirye n’omubuuza bye wandimbuuzizza, akuddamu n’akamwenyumwenyu, n’okitwalira ddala nti osanze nze,” Nakato bw’anyumya. Waliwo ekiseera bombi lwe bagejja ate bwe bakogga, era ne kibaawo mu kiseera kye kimu!
ENJAWULO ZAABWE
Yadde bingi babifaanaganya, naye bakola emirimu gya njawulo era kino kye kimu ku biyamba abantu okubaawula.
Nakato munnamawulire omutendeke ate Hadijah Babirye kitunzi mu kkolero lya ssabbuuni ne butto erya Nile Agro Industries Ltd mu kibuga Jinja.
“Emirimu gimanyi okutwawula okumala ekiseera naye ‘ggaapu’ tugijjuza twekubira essimu,” Babirye bwe yategeezezza.
OKUFAANAGANA KITUSANYUSA
“Waliwo Nakato lwe yayita mikwano gye ku kabaga k’amazaalibwa, baagenda okutuuka nga balaba ba ‘Nakato’ babiri...!
Ffembi katono enseko zitutte anti nga balemeddwa okutwawula,” Babirye bwe yagambye.
Waliwo kasitoma eyamala okwogera ne Babirye mu ofi isi, aba yaakafuluma n’asanga Nakato ku luguudo era mu kutya yamuyita ‘muzimu’.
Yakubira Babirye essimu n’amutegeeza nti oyo mulongo munne. Ne mu kyalo e Nsumbi mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso gye bazaalibwa, kitaabwe Hajji Muhammad Kizito olumu alugwamu, Babirye n’amuyita Nakato ate Nakato n’amuyita Babirye.
Nnyaabwe ye mugenzi Aisha Nakku Kizito. Bo olwamala emisomo kwe kugenda e Jnja mu Busoga gye baafuna emirimu.
Be baana abaddirira abasembayo mu famire ey’abaana 12. Badda ku balongo kyokka Babirye (omukulu) yabuuka.