Anthony Martial afunye obuvume n'atiisa aba Man-u

ENKAMBI ya ManU eri mu kutya oluvannyuma lw’omuwuwuttanyi waabwe Anthony Martial okufuna obuvune ttiimu y’eggwanga lye eya Bufalansa bwe yabadde ewangula Kazakhstan ggoolo 2-0.Baabadde bambalagana mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya World Cup y’omwaka ogujja e Qatar.Martial, eyayolesezza omutindo omusuffu, yafulumiziddwa ng’awonyeggera era wadde ng’abasawo ba Bufalansa baagezezzaako okujjanjaba ssita waabwe ono, obulumi Martial bwe yabaddemu tebwamuganyizza kweyongerayo.Omuzannyi ono waakwongera okwetegerezebwa abasawo nga tannakomawo mu ManU.Omuzannyi ono y’omu ku batunuuliddwa omutendesi wa Bufalansa Didier Deschamps okuyamba ttiimu eno okuddayo mu World Cup gye baawangula mu 2018 bwe baakuba Croatia ggoolo 4-2.Mu ngeri y’emu, omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer waakusabirira Martial assuuke mu budde ayongere okuyamba ttiimu ye mu kampeyini gye baliko okuwangula ekikopo kya Europa ssaako okumalira mu bifo ebina ebisooka mu ManU.Wiikendi ewedde, ManU yawanduddwa Leicester mu FA Cup ku ggoolo 3-1.

PREMIUM Bukedde

Anthony Martial afunye obuvume n'atiisa aba Man-u
By NewVision Reporter
Journalists @NewVision

ENKAMBI ya ManU eri mu kutya oluvannyuma lw’omuwuwuttanyi waabwe Anthony Martial okufuna obuvune ttiimu y’eggwanga lye eya Bufalansa bwe yabadde ewangula Kazakhstan ggoolo 2-0.Baabadde bambalagana mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya World

Login to begin your journey to our premium content