Emmisa ey'okukungubagira ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga etandis

Bya Henry NsubugaEmmisa ey'okukungubagira ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga etandise mu kkanisa ye gye yeezimbira eya St. Charles Lwanga Kyabakadde esangibwa Ku kyalo Kyabakadde mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono. Eno yeetabiddwamu ebikumi n'ebikumi by'abakungubazi ng'oludda lwa gavumenti lukiikiriddwa ba minisita ow'eby'enjigiriza ebya waggulu J.C Muyingo n'ow'abaana n'abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi. Emmisa eno ekulembeddwa Bp. Christopher Kakooza ow'essaza ly'e Lugazi ng'ayabibwako omuwummuze, Bp. Mathias Ssekamanya ng'okutandika kiddiridde okufuna omukambo oguleeteddwa mu nnyonyi ya UPDF eguggye e Kololo eggwanga gye likoledde omukolo ogw'okumukungubagira mu butongole. Eyaliko Vice President eyawummula, Dr. Specioza Wandera Kazibwe naye waali, abalabirizi b'ekkanisa ya Uganda, ow'e Mukono James William Ssebaggala, omubeezi owa Kampala, Wilson Mutebi, ba ffaaza n'ababiikira bangi babugirizza omukolo gw'okukungubaga. Amaziga n'ebiwoobe bisaanikidde oluggya lwa klezia mu kiseera omulambo nga gwakatuuka nga buli oku yeesasaabaga

PREMIUM Bukedde

Emmisa ey'okukungubagira ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga etandis
By NewVision Reporter
Journalists @NewVision

Bya Henry Nsubuga

Emmisa ey'okukungubagira ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga etandise mu kkanisa ye gye yeezimbira eya St. Charles Lwanga Kyabakadde esangibwa Ku kyalo Kyabakadde mu ggombolola

Login to begin your journey to our premium content