Bannaddiini musse ekitiibwa mu buwangwa nga Ssaabasumba bw'abadde- Gabunga

James Magala
Journalist @New Vision
Apr 15, 2021

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono.

Gabunga,yasinzidde ku Lutikko e Lubaga mu Mmisa eyategekeddwa ab'ekika ky'e Mmamba okusabira abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala kati omugenzi, Dr. Cyprian Kizito Lwanga n'amwogerako ng’omuzzukulu abadde assa ekitiibwa mu buwanga bwe.

Gabunga, yategeezezza nti okufa kwa Ssaabasumba Lwanga ddibu ddene nnyo mu kika ky'Emmamba olw'engeri gy'abaddde aweerezaamu ekika kye awatali kwekuluntanza nakuyisa lugaayu mu bajjajja be abamulambika mu nnono.

Gabunga yanokoddeyo nti Ssaabasumba Lwanga abadde yenyigira butereevu mu mikolo gyonna egy'ekika era ng’agoberera ennono zonna nga bwe zirambikiddwa awatali kwegulumiza wadde ng’abamu ku Bannaddiini eby'obuwangwa tebabitwalanga ensonga n'asaba bonna okuyigira ku mugenzi Lwanga nga bw'abadde.

Ye omuwandiisi w'ekika ky'Emmamba, Andrew Benon Kibuuka,yasinzidde wano n'alaajanira Klezia okwongera okukwasizaako ekika ky'Emmamba nga Ssaabasumba Lwanga bw'abadde akola nti era abadde abawa ekifo kya Pope Paul Gardens okutuulizaayo enkiiko z'ekika awatali kubasasuza wadde ekikumu n'asaba omwoyo ogwo gusigale nga gutambula.

Mgr. Kasibante, eyakulembeddemu Mmisa, yasiimye Gabunga olw'okwagala muzzukulu we Ssaabasumba Lwanga n'asalawo okukulemberamu bazzukulu be okumusabira ekitambiro kya Mmisa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});