TOP

Ebizuuse ku yabuziddwawo e Kawempe

By Musasi Wa

Added 22nd November 2010

Eggulo poliisi yakedde kuyiwa baserikale okwetooloola amaka ga Munyagwa  e Kawempe okutangira abeekalakaasi kyokka baagikubye eddolera ne bawaguliza mu makubo amalala.

Baabadde bakutte ebipande ebibanja gavumenti omuntu waabwe nga bwe bayimba ennyimba ezisomooza poliiisi.

Baawaguzza ne ba

Eggulo poliisi yakedde kuyiwa baserikale okwetooloola amaka ga Munyagwa  e Kawempe okutangira abeekalakaasi kyokka baagikubye eddolera ne bawaguliza mu makubo amalala.

Baabadde bakutte ebipande ebibanja gavumenti omuntu waabwe nga bwe bayimba ennyimba ezisomooza poliiisi.

Baawaguzza ne batuuka ku katale ka Kaleerwe oluvannyuma ne bayita mu Kibe Zooni okugguka ku luguudo lwa Northern Bypass.

Bino we byabeereddewo nga poliisi ebakanye n’omulimu gw’okwekenneenya obujulizi obwakafunikawo ku kubulawo kwa Munyagwa.

Emmotoka ya Munyagwa yasangiddwa ku luguudo lwa Nothern ByPass .

Yasangiddwaamu omusaayi ogwabadde gumansiddwa ku ntebe ya ddereeva ne siteeringi.

 Poliisi yaleese embwa eziwunyiriza wabula nga na kati tebannakakasa oba nga ddala omusaayi ogwasangiddwa mu mmotoka gwabadde gwa muntu era nga ddala gwa Munyagwa.

Abawagizi ba Munywagwa bwe batuuse e Makerere Kubbiri poliisi ekkakkanya obujagalalo n’ebasalako era yabalemesezza okutuuka e Wandegeya olwo ne badda e Mulago.

Eno ekibinja kya poliisi ekyabadde kiduumirwa Andrew Sorowen kyabalemesezza okweyongerayo ne badda ku Kaleerwe gye baasanze ekibinja kya Grace Turyagumanawe nga babalinze nabo ne babalemesa.

Abeekalakaasi beeyongeddeyo ne bagezaako okulumba poliisi y’e Kawempe kyokka bwe baabalemesezza ne baddayo mu maka ga Munyagwa gye baagumbye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, ASP Iddi Ssenkumbi, yategeezeza  nti bataddewo akakiiko akaliko bambega b’ebitongole ekikuumaddembe bakwataganire wamu ne Poliisi okuzuula Munywagwa.

Eggulo omulambo gw’omusajja gwasangiddwa e Kalagala ku lw’e Masaka kyokka abantu ba Munyagwa baagwetegerezza nga si gwa muntu waabwe.

Ku lunaku lwe yabuze yalese agambye mukyala we nti bwe sikomawo labirira bulungi abaana ekireetedde poliisi okubuusabuusa nti yandiba nga yabadde ategeddeko ku bigenda okubaawo.

 Munyagwa y’ani?

 Haji Mubarak Munyagwa musomesa mutendeke. Yasomesaako ku East High e Ntinda, Gombe SS ne mu masomero amalala. Oluvannyuma obusomesa yabuvaako n’ayingirira ebyobusuubuzi.

Musajja Musiraamu era yakola ne Hija e Mecca. Alina abakyala babiri n’amaka 3 e Kawempe - Mbogo, Mulago n’e Muyenga.

Ebyobufuzi yabiyingira akyasoma mu yunivasite mu kibiina kya DP era nga y’omu ku baali mu kibiina kya bamusaayimuto ekya DP ekya UYD, wabula nga mu kiseera kino yagyabulira ne yeegatta ku kibiina kya Micheal Mabikke ekya Social Democratic Party.

Munyagwa y’omu ku baakola ennyo mu kunoonyeza Meeya Ntege Sebaggala akalulu mu 1998 bwe yali yeesimbyewo ku bwameeya era n’abuwangula, wabula oluvannyuma ne bamusibira mu Amerika.

Omu ku bakyala be Joweria agamba nti bba abadde tabajuza era ng’oluusi abatwalako n’ebweru w’eggwanga okucakala.

 

Ebizuuse ku yabuziddwawo e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu