TOP

Eyeesimbyewo e Kawempe abuziddwawo

By Musasi Wa

Added 21st November 2010

Byatandise nga byakusaaga ku ssaawa ng’emu ku Lwomukaaga akawungeezi omuntu bwe yakutte essimu ya Munyagwa n’akubira mwannyina, Yudaya Nakitto, ng’amutegeeza nti omuntu waabwe yabadde akwatiddwa.

“Bankubidde ku ssaawa 2:15 ekiro ne bambuuza bwe mmuyita olwo ne bandagirira mmotoka ye we ba

Byatandise nga byakusaaga ku ssaawa ng’emu ku Lwomukaaga akawungeezi omuntu bwe yakutte essimu ya Munyagwa n’akubira mwannyina, Yudaya Nakitto, ng’amutegeeza nti omuntu waabwe yabadde akwatiddwa.

“Bankubidde ku ssaawa 2:15 ekiro ne bambuuza bwe mmuyita olwo ne bandagirira mmotoka ye we baabadde bagirese,”Nakitto bwe yagambye.

Omuyiggo gwatandikiddewo era abantu ba Munyagwa oluvannyuma baazudde mmotoka eno ku Northern By-Pass wakati w’ettaawo lya Bwaise n’enkulungo ya Kaleerwe.

Mmotoka eno ekika kya Noah eyabbululu nnamba UAN 802Y yasangiddwa ng’esimbiddwa ku bbali w’ekkubo.

Munda mu mmotoka mwabaddemu omusaayi ku ntebe ya dereeva ne ku siteeringi. Mmotoka yasigadde amataala gaayo nga gaaka.

Poliisi yaleese embwa ewunyiriza n’eyingira munda mu mmotoka oluvannyuma n’ebakulembera okubatuusa mu buyumba obuli mu nzigotta ya Kibe Zooni kyokka tewali kye baazuddeyo.

Embwa yatuuse ku bbaala esangibwa mu zooni eno, ng’eyagala okuyingirayo kyokka abaserikale ne bagamba nti babadde tebaagala kutaataaganya mirembe gy’abantu abaabaddemu.

Omu ku bakyala ba Munyagwa,  Joweria yategeezezza nti bba abadde mulwadde omusujja okumala wiiki nnamba.

“Baze bwe yabadde ava awaka, yagenze taliimu mutima era yang’ambye nti bwesikomawo abaana mbakuze bulungi kyokka byatuukiridde kubanga teyakomyewo okuggyako okusanga omusaayi mu mmotoka ye,” Joweria bwe yategeezezza.

Ssenkaggale wa SDP Micheal Mabikke yagambye nti ayagala poliisi okukola kyonna ekisoboka okunoonya Munyagwa.

Eggulo Mabikke yasisinkanye omuduumizi wa poliisi, Maj. Gen. Kale Kayihura eyalagidde akulira ebikwekweto Mw. Grace Turya-gumanawe okunoonya Munyagwa.

Byo eby’okwerinda byayongeddwamu amaanyi e Bwaise abawagizi ba Munya-gwa gye baaba-dde batandise okwegugunga nga bakutte ebipande ebirumiriza baavuganya nabo nti be baamubuzizzaawo.

Abantu abalala abaali babuziddwaawo mwe muli Ashraf Semogerere, Latif Sebaggala ne kansala Minsa Kabanda kyokka nga n’okutuusa kati abaabawamba tebamanyiddwa.

 

Eyeesimbyewo e Kawempe abuziddwawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda