TOP

Abantu 44 be baakafa mu kulwana e Somalia

By Musasi Wa

Added 21st November 2010

Omuwendo gw’abafudde mu kulwanagana okwatandise okunyinyitira ku Lwokutaano gulinnye ne gutuuka ku 44 era abasinga ku bano bantu baabulijjo kw’ossa bannalukalala n’abajaasi ba gavumenti ya Somalia abatonotono.

Wakati mu kulwana kuno, omukulu w’ekika eyeebuuzibwako ensonga Sultan Isse Hass

Omuwendo gw’abafudde mu kulwanagana okwatandise okunyinyitira ku Lwokutaano gulinnye ne gutuuka ku 44 era abasinga ku bano bantu baabulijjo kw’ossa bannalukalala n’abajaasi ba gavumenti ya Somalia abatonotono.

Wakati mu kulwana kuno, omukulu w’ekika eyeebuuzibwako ensonga Sultan Isse Hassan Omar yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo.

Okulwanagana kuno okwatandikidde  e Mogadishu kwasaasaanidde ebitundu by’eggwanga ebirala omuli Gulgadud n’e Bari mu kitundu ky’e Puntland gye battidde omukulu w’ekika Omar.

Wabula aba al Shabaab beesammudde eby’okutta Omar ne bagamba nti kyandiba nga yattiddwa bazigu.

Abantu abasinga baabattidde ku nkingizzi z’ekibuga Mogadishu oluvannyuma lwa bannalukalala ba al Shabaab okulumba enkambi z’abajaasi ba gavumenti e Hawl-wadag, Hodan n’okuliraana ekisaawe ky’ennyonyi eky’e Aden Adde ate abalala ne babattira e Bakara awali akatale akasinga obunene mu Mogadishu.

Omuduumizi w’amagye ga UPDF ag’oku ttaka Lt. Gen. Katumba Wamala yalambudde enkambi z’amagye amakuumaddembe aga AMISOM n’azzaamu abajaasi amaanyi mu kaweefube gwe baliko okutebenkeza Somalia n’okulinnya abatujju ba al Shabaab ne Hizbul ku nfeete.

Abantu abasukka mu 100 baalumiziddwa olw’ebikompola, amasasi ne bbomu ebyakubiddwa mu kulwanagana kw’oku Lwomukaaga ne ku Ssande era ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bali mu mbeera mbi.

Minisita wa Somalia, Muhammed Abdullahi Omar yagambye nti aba al Shabaab be basse abantu baabulijjo bwe baabadde bagezaako okulumbagana enkambi z’abajaasi ba gavumenti.

Kyokka aba al Shabaab beewaanye nti okulumba kwabwe tekwagudde butaka kubanga nti baasobodde okuwamba ebitundu ebisinga obunene mu Galgudud mu massekkati ga Somalia.

Sheikh Abdiazis Abu Musab omwogezi wa al Shabaab mu Galgudud yagambye nti baawambye emiruka okuli Wardumale ne Tulo-oman.

 

 

Abantu 44 be baakafa mu kulwana e Somalia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?