TOP

Sophie Nantongo bba amugobye

By Musasi Wa

Added 19th November 2010

“Nantongo mukazi mwenzi nnyo ate nga akikola kumpi buli lunaku mu bantu abanene. Nagenda okulaba nga sijja kumalako nga n’obulamu bwange buli mu katyabaga ne mmuta nga bukyali,” Kagoma bwe yagasseeko

Yannyonnyodde nti Sophie bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti aliko mu kyalo ku mirim

“Nantongo mukazi mwenzi nnyo ate nga akikola kumpi buli lunaku mu bantu abanene. Nagenda okulaba nga sijja kumalako nga n’obulamu bwange buli mu katyabaga ne mmuta nga bukyali,” Kagoma bwe yagasseeko

Yannyonnyodde nti Sophie bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti aliko mu kyalo ku mirimu gye egy’okuyimba n’agamba nti kimwetaagisa kusooka kukomawo Kampala annyonnyole ebisingawo.

Wabula gye buvuddeko Sophie yategeezezza Bukedde nti tayagala nnyo kwogera ku bya maka ge kubanga bakkaanya ne bba obutaddamu kuzza bya bufumbo bwabwe mu lwatu  ne bwe baba n’obutakkaanya.

Abamanyi Sophie bagamba nti wadde yafuna obutakkaanya ne bba ensonga baazikwata kintu kikulu kubanga okuggyako buli omu okwesonyiwa munne, amaka Kagoma ge yali amuwadde akyagegazaanyizaamu.

Okusooka Kagoma yagambye nti abamu ku basajja Sophia b’apepeya nabo bazibuzibu olw’emirimu gyabwe. Haji Kagoma yategeezezza nti kati abeera Jinja gy’akolera. Haji Kagoma alina amaka e Jinja era olumu Sophie yalumbayo muggya we Alayisa Kagoma ne bambalagana bukanzu.

Bino byaliwo mu February 2009, Sophie Nantongo n’alumba Alayisa e Jinja ne balwanirayo nga Nantongo ekimutabula ye bba Hajji Kagoma okumala ennaku bbiri ewa Alayisa.
Alayisa yalumiriza Sophie nti buli lwe yamanyanga nga bba ali Jinja, ng’amuweereza obubaka obumuvuma ku ssimu.

Alayisa  okwagala okulumya Sophie, yamuweereza obubaka obumusoomooza ng’amugamba nga Haji bw’ali naye oba yetta yette. Yamubuulira ne langi ya pajama gye yali ayambadde ng’ava e Kampala.

Kino kyaluma nnyo Sophie, era Haji bwe yadda e Kampala n’amubuuza akana n’akataano. Haji Kagoma yakwata Sophie ne bagenda bombi e Jinja nga bali mu mmotoka ey’ekika kya Nadia nnamba UAE 337K. Bwe baatuuka ku YMCA Alayisa gy’akolera, Hajji n’atumya Alayisa.

Sophie teyamulinda  kutuuka ku mmotoka n’atandika omuweereza ebivumo ekyaggya Alayisa mu mbeera n’agenda asikambula Sophie mu mmotoka ne bameggana n’amuyuliza n’engoye.

Haji yazza Sophie mu mmotoka ne bavuga nga badda e Kampala. Nantongo ayimba yekka kyokka nga yava mu Eagles Productions. Ennaku zino alina oluyimba lwa ‘Laavu ssupa’ ng’atenda omukwano gw’alina n’omusajja gw’awaana, wabula nga twamwatula.

Yayatiikirira nnyo omwaka oguwedde bwe yafulumya olutambi lwe olwa ‘Tega akamasu’ olulagirira abakazi engeri y’okuddaabirizaamu abasajja baleme kubalekawo.

Sophie Nantongo bba amugobye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...