TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Aba Al Shabaab bakubye ebikompola mu Palamenti ya Somalia

Aba Al Shabaab bakubye ebikompola mu Palamenti ya Somalia

By Musasi Wa

Added 27th September 2010

Omwezi oguwedde abatujju ba al Shabaab baalumba Palamenti ne basasira amasasi mu bakaka awamu n’okwetulisizaako bbomu era okukakkana ng’ababaka musanvu tebalutonza.

Kyokka ku luno olwatandise okukola ennumba amagye ga gavumenti agayambibwako aga UPDF n’aga Burundi gaabanguyidde ne gabaanuku

Omwezi oguwedde abatujju ba al Shabaab baalumba Palamenti ne basasira amasasi mu bakaka awamu n’okwetulisizaako bbomu era okukakkana ng’ababaka musanvu tebalutonza.

Kyokka ku luno olwatandise okukola ennumba amagye ga gavumenti agayambibwako aga UPDF n’aga Burundi gaabanguyidde ne gabaanukula n’emmundu ez’amaanyi ne badduka nga kirowoozebwa nti n’abamu baalufiiriddemu.

Al Shabaab bongedde okwolesa obutemu bwe basindise abatujju okulumba Kenya bagitulisizeeko bbomu, ekiwalirizza gavumenti ya Pulezidenti Mwai Kibaki okuyiwa abajaasi ku nsalo ya Kenya ne Somalia.

Kenya olwategedde ku lukwe luno n’ekola ekikwekweto mwe yakwatidde Abasomali 34 abaayingidde ekibuga Nairobi mu ngeri emenya amateeka nga kiteeberezebwa nti ku bano kuliko abaabadde bagenda okukolagana n’abatujju okutulisa bbomu.

Omukungu wa poliisi mu kitundu ky’e Girissa e Kenya yagambye nti baayiye amagye ne poliisi ku nsalo ya Kenya ne Somalia e Girissa oluvannyuma lw’okugwa mu lukwe olwabadde lukoleddwa bannalukalala ba al Shabaab nga bayambibwako al Qaeda okukola obulumbaganyi mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Abaakwatiddwa bonna baakuvunaanirwa mu kkooti y’oku nsalo e Girissa.

Mu 1998 abatujju ba al Qeada abakulemberwa Osama bin Laden baatega bbomu ku kitebe kya Amerika mu Kenya ne zitta abantu abasoba mu 200 ng’abasinga Bannakenya.

Bbomu nzino zaategebwa mu kiseera ky’ekimu n’ey’e Tanzania eyatta abantu 12.

Obulumbaganyi obwakoleddwa ku Palamenti  busiikudde gavumenti ya Pulezidenti Sherif Ahmed n’erangirira nga bw’etegese okukuba ebibondo omuli abatujju.

Gavana Ali Mohamud Adow yagambye nti abakungu ba gavumenti ey’ekiseera baatudde mu ne basalawo okulumba enfo za bannalukalala zonna mu kitundu ky’e Hiran n’amassekkati ga Shabelle.

Bino okugwawo ku Ssande ennyonyi ya nnamunkanga egambibwa nti yabuuse ku mmeeri mu Liyanja lya Buyindi yasaanyizzaawo ennyumba  bakamanda ba al Shabaab mwe baabadde bateesezza mu bukiikaddyo bwa Mogadishu.

Aba al Shabaab beewaanye nti ennyionyi yagenze okusaanyaawo enju eno nga bakamanda baayo bavuddemu kyokka yagaanyi bannamawulire okukuba ebifaananyi.

Aba Al Shabaab bakubye ebikompola mu Palamenti ya Somalia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards