TOP

Ettimabusika

By Musasi Wa

Added 26th September 2010

Omwana omu afiiriddewo  ate omulala n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi. Abatuuze beekunze mangu ne bataayiza omuvubuka ono naye ne bamukuba nga baagala okumutta wabula poliisi n’emutaasa.

Edward Kimuli 20, ye yalumbye amaka ga mukuluwe Herbert Lutwama 29, ng’ayagala amutte kub

Omwana omu afiiriddewo  ate omulala n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi. Abatuuze beekunze mangu ne bataayiza omuvubuka ono naye ne bamukuba nga baagala okumutta wabula poliisi n’emutaasa.

Edward Kimuli 20, ye yalumbye amaka ga mukuluwe Herbert Lutwama 29, ng’ayagala amutte kuba yakitegeddeko nti ayagala kumulemesa (Kimuli) okusikira kitaabwe, Gumikiriza Gwonyooma, eyafudde mu June w’omwaka guno n’aleka ebintu ebiwerako omuli n’ettaka.

Ettemu lino lyabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 4:30 ez’oku makya ku kyalo Ggamba okumpi ne Lwemwedde mu ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omwana eyattiddwa ye Allan Lubwama (6) abadde asoma  P1 ku ssomero lya Buguju Primary School ate mutoowe Timothy Nsimbe (5) asoma Top Class ku ssomero lya Namutenga Nursery School.

Bino okubaawo kitaabwe  Lutwama yabadde yakeewungulako okuva awaka ng’agenze okulambula abakozi mu kibanda kye ekya firimu.

Lutwama agamba nti bwe yatuuse ku kibanda ate teyabandaddeyo omutima ne gumulumira abaana be kuba  y’abadde abeera nabo yekka oluvannyuma lw’okusowaganamu ne mukaziwe nti kyokka kyamubuuseeko okusanga nga bombi bali mu kitaba ky’omusaayi.

Nga yenna awunzeemu yakubye enduulu abantu ne bajja olwo kwe kutandika omuyiggo gw’omuntu eyabadde  akoze ekikolwa kino wabula baabadde bakanoonyako katono ne wabaawo eyajjukidde okulaba Kimuli ng’ayambuka  ewa Lutwama n’akakumbi kwe kutandika okumuwenja. Zaabadde ssaawa nga 4.30 ez’oku makya.

Baasoose kukkirira ku nnyumba ye eyeesudde miita nga 500 okuva ewa Lutwama era baamusanze akyavulubanye omusaayi ng’ate naye ng’alinga awunzeemu olwo kwe kutandika okumukuba.

Ssentebe wa LC1, Hassan Lukandwa n’abatuuze abalala baategeezezza nti Kimuli olwatandise okumukuba n’ayogera byonna ebyabaddewo era n’abeegayirira baleme kumutta.Waliwo eyakubidde poliisi eri okumpi n’ewaabadde obutemu buno essimu nayo n’esitukiramu n’esanga nga Kimuli bamuli bubi n’emutaasa.

Kimuli yategeezezza wakati mu kukubwa emiggo nti “bannange temunzita ekyo nkikozesezza busungu kubanga mukulu wange ono abadde anneesimbamu mu buli kantu nga n’obusika mw’obutwalidde. Mbadde nzize kutta ye kyokka n’asimattuka”.

Omulambo gw’omwana Lubwama gw’abaddeko ebiwundu eby’amaanyi bibiri ebyamukubiddwa ku mutwe ate Nsimbe aliko ekiwundu ekitono ku kutu kwe okwa ddyo. Lutwama abaana yabazaala mu bakazi banjawulo.

Jjaja wa Lubwama ayitibwa  Faridah Nakiwala  yagambye  nti  mutuuze munne yeeyamuyise nti muzzukulu we attiddwa mu bukambwe ate  Jane Namusisi ng’ono ye  jjajja wa Nsimbe agamba yabadde ku kkanisa ya Lwemwedde SDA ng’asaba ne bamutumira omwana amutegeeze ebyabaddewo.

 Lukandwa yagaseeko nti Kimuli abadde ayitirizza okunywa enjaga era ng’olumu yagezaako n’okutta kitaabwe omugenzi kyokka poliisi n’emukwata n’emusibako e Luzira kyokka oluvannyuma n’ayimbulwa.

Akulira bambega ba poliisi mu disitulikiti y’e Wakiso Richard Mugisha yategeezezza nga Kimuli bwe yagguddwako omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba SD 05/25/09/10 ku poliisi y’e Lwemwedde gye yagyiddwa n’atwalibwa ku  y’e Kakiri gy’akuumirwa.

Ettimabusika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana