TOP

Ennyonyi ennwanyi zikubye aba Al Shabaab

By Musasi Wa

Added 26th September 2010

Wabula abatujju ba al Shabaab nabo baanukudde bwe bawereekerezza ennyonyi ebyasi mu lulumba olw’amaanyi olwakoleddwa eggulo mu kibuga Mogadishu.

Amagye ga gavumenti okusindika ennyonyi ennwaanyi mu katundu k’e Marka akali mu kilomita 90 mu bukiikaddyo bw’ekibuga Mogadishu gaamaze kukitegeer

Wabula abatujju ba al Shabaab nabo baanukudde bwe bawereekerezza ennyonyi ebyasi mu lulumba olw’amaanyi olwakoleddwa eggulo mu kibuga Mogadishu.

Amagye ga gavumenti okusindika ennyonyi ennwaanyi mu katundu k’e Marka akali mu kilomita 90 mu bukiikaddyo bw’ekibuga Mogadishu gaamaze kukitegeera nti mu katundu kano, bannalukalala ba al Shabaab mwe batendekera abatuju.

Ennyonyi okulumba akatundu kano yakoledde ku lipoota za bambega eziraga nti era bannalukalala bakakozesa n’okutegeka ennumba ze bakola ku magye ga gavumenti ya Pulezidenti Sherif Ahmed wamu n’amagye amakuumaddembe aga AMISOM agakolebwa UPDF wamu n’aga Burundi.

Omukutu gw’amawulire ogwa Xinhua gwategeezezza nti ennyonyi eno yaweerezza ebikompola ebiwerako mu bannalukalala kyokka omuwendo gw’abaafudde n’abaalumiziddwa we bwazibidde nga tegunnamanyika.

 Mu kiseera kye kimu waliwo okutya nti bannalukalala ba al Shabaab balina enkambi gye bakubye e Kenya mu kibuga Nairobi.

Lipoota z’abakessi ziraga nti beeyambisizza omuwendo gw’Abasomaali ogw’obukadde 2 n’emitwalo 40 abali mu Kenya okukuba enkambi mu Nairobi.

Eggulo aba al Shabaab baawambye omukungu wa gavumenti era Omukulembeze w’Obuyisiraamu mu kabuga k’e El Irfid mu bukiikakkono bwa Mogadishu.

Sheikh Jurre Ab-dulle baamuggye mu makaage.

Ennyonyi ennwanyi zikubye aba Al Shabaab

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.