TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Weekkaanye bino ku musajja nga tonnamufumbirwa mu 2016

Weekkaanye bino ku musajja nga tonnamufumbirwa mu 2016

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2016

OMWAKA 2016 mugufuule gwa kuva ku mudaala. Abawala bangi abatuuse okufumbirwa abatafaayo ku nsonga eno.

Yamba 703x422

OMWAKA 2016 mugufuule gwa kuva ku mudaala. Abawala bangi abatuuse okufumbirwa abatafaayo ku nsonga eno. Wabula ng'omuwala kikwetaagisa okufuna omuntu omutuufu osobole okuwona waasiwaasi w'embeera y'obwomu.

Wammanga bye bintu by'olina okwekkaanya ku musajja ayagala okukuggya ku mudaala.
Famire mw'ava

Famire y'omusajja nsonga nkulu nnyo bwe kituuka ku nsonga y'obufumbo.Twala obudde omanye bazadde be n'ab'ehhanda ze abalala.Tokola ensobi n'ofumbirwa omusajja nga tomaze kutuukirira bantu be kukumanya. Buli lw'ofumbirwa omusajja ng'abantu be tobamanyi akujooga nnyo.

Mwekebeze omusaayi: Abawala bakola nnyo ensobi y'okutandika obufumbo nga tebamaze kwekebeza musaayi.Kikwetaagisa okwekebeza omusaayi enfunda ezitakka wansi wa ssatu n'omusajja ayagala okukola naawe obufumbo.Temukoma ku kyakwekebeza siriimu yekka wabula n'obulwadde obulala.

Ennyingiza ye : Enfuna y'omusajja nsonga nkulu mu nsonga z'obufumbo. Kakasa nti omusajja akutwala mu bufumbo alina omulimu ogunaabasobozesa okuba obulungi n'abaana bammwe. Obufumbo obutaliimu ssente tebuwangaala. Kakasa nti alina ne w'asula awategeerekeka.

Eddiini: Omusajja alimu eddiini ebiseera ebisinga embeera ze ziba nnungi. Eno y'ensonga lwaki nga temunnagenda wala mu nsonga y'obufumbo kikwetaagisa okumanya eddiini gy'asoma n'essinzizo lye. Mu ngeri endala kiba kirungi n'okutuukirira ku bakulu mu ddiini abamumanyi ne bakuyamba ku nsonga eno.

Ebimusanyusa: Buli muntu alina ebintu ebimusanyusa.Mu bino mulimu omwenge, ssigala, amazina, emizannyo n'ebirala. Kirungi n'ofaayo okumanya ebintu bino n'olaba oba ng'onoomalako nabyo.

Obuyigirize: Wakati mu mboozi zammwe ezisooka, faayo okumanya obuyigirize bwa munno olabe oba butuukana n'ebisaanyizo byo. Kya bulabe nnyo okwesanga oluvannyuma lw'ekiseera ng'obuyigirize bw'omusajja bwa wansi nnyo bw'obugeraageranya n'obubwo. Okutegeera ekituufu ku nsonga eno baako abantu abamumanyi b'obuuza ku nsonga eno.

Emyaka: Abantu bakweka nnyo emyaka era kizibu okusanga aboogera amazima ku nsonga eno.

Okuzuula ekituufu weebuuze ku bantu abamu abamumanyi naddala abooluganda lwe ofune ekituufu.

Enjawulo mu myaka eyinza okuvaako obuzibu mu bufumbo mu biseera by'omu maaso.

Eggwanga: Eggwanga ly'omusajja nsonga nkulu nnyo omuwala yenna anoonya gy'otolina kubuusa maaso.Abasajja bangi abayinza okwekwekwa mu mawanga amalala, kyokka oluvannyuma n'okizuula nga yakulimba. Ku nsonga eno kikwetaagisa okukiwa obudde n'okusalawo ng’otegedde ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...

Gaba 220x290

Ssaabayaga El Chapo afunye essuubi...

SSAABAYAGA wa Mexico ow’omutawaana eyasingisiddwa emisango mu kkooti y’e New York mu Amerika nga kati alindiridde...