NZE Bosco Kyagulanyi (waggulu) nnina emyaka 24.
Mbeera Wandegeya. Ndi musuubuzi era nkolera mu katale k’e Nakawa.
Njagala mukyala ow’okuwasa kuba nkooye eby’ekiyaaye. Njagala mukazi omulungi wabula nga talina bulemu bwonna ku mubiri gwe era nga mweru kuba nange siri musajja mubi.
Ateekwa okuba ng’ali wakati w’emyaka 20- 30 ng’anaasobola okubeerawo mu mbeera yaffe era nagigumira. Ayagadde oba ansiimye akube ku 0759147395.
NNINA emyaka 40. ndi ku ddagala lya ARVs, mbeera Kamuli mu busoga. Nnina abaana basatu. Nnoonya omukyala ow’emyaka 28- 40, alabika obulungi, atya Katonda, ali ku Arvs, akola tukole obufumbo. Kuba 0758103752.
Nze Umaru. Nnina emyaka 35. Nnoonya omukazi ow’emyaka 25-30, alina akawuka ka siriimu, alabika obulungi, ow’empisa nga muyonjo. NZE Mike Katongole. Nnoonya sugammami ali wakati w’emyaka 30-60. Kuba 0750667156.
Moses Ssali 29. Ndi mutuuze w’e Nabbingo. Nnoonya omukyala owa langi yonna, ali wakati w’emyaka 25 -30, sifaayo ku ggwanga lye kasita abeera nga Munnayuganda. Njagala omukyala alina ky’akola ng’alina omukwano ogwannamaddala tukole obufumbo. Kuba 0756 872 538.
Nze Yusuf Mbaziira 27. Mbeera Luweero. Neddira Kasimba. Nazimba. Nzaalibwa Bukomansimbi. Nnoonya mukazi alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa atanzize mabega. Sifa ku ggwanga. Njagala amanyi omukwano, alina empisa, eddiini, ow’emyaka 30- 45 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.Kuba 0701057201.
Nze Mike Ssentongo. Nnoonya sugammami nga mwetegefu okwekebeza akawuka. Kuba 0703213281.
Nnoonya omukyala omunene ennyo, ow’empisa, ow’ekitiibwa, ow’emyaka 25-45 ng’ayagala laavu yokka. Kuba 0752982766.
Nze Thomas Mwesigwa. Nnina emyaka 32. Nnoonya omukyala omugagga ow’okuwasa ng’asobola okunteekamu ssente nga si mulwadde. Sifa ku myaka. Mbeera Nakasongola. Kuba 0706206533.
Nze Ronald. Mbeera Ntinda. Nnina emyaka 33. Ndi muddugavu, muwanvu. Nazaalako. Njagala omukazi akuze mu birowoozo, atya Katonda, ow’emyaka 25-32 tukole obufumbo. Anjagala kuba 0704256046.
Nnoonya omukazi ow’empisa, ali wakati w’emyaka 20-35. Sifa ku buyingirize, eggwanga wadde eddiini. Kuba 0775756125.
Nnoonya omuwala ow’okuwasa ng’ali siriyaasi. Nze Jimmy. Kuba 0756384238.
Nnina emyaka 30. Nnoonya omukazi, Omusiraamu, ow’emyaka 23-27 nga si muwanvu ate nga si munene, era ng’alabika bulungi. Ansiimye kuba 0792328976.
Nnoonya omukyala tukole omukwano. Njagala ateeyerusa era nga tali ku ssente. Ateekwa okuba ng’ali wakati w’emyaka 32-42. Nze nnina emyaka 43. Omuyaaye, nneekolera gyange, nabiipinga temutawaana. Weereza obubaka emisana. Kuba ku 0776608127 okuva ku 3:00 okutuuka ku 5:00 ez’ekiro.
Nze Robert. Mbeera mu Ndeeba. Nnoonya sugammami omulungi, omugagga, alina omukwano, ne bw’aba wa kyama. Sifa ku myaka. Nze Mark. Nnina emyaka 25. Kuba ku 0759234500.
Nze DK. Mbeera Kampala. Nnina emyaka 38. Nnoonya sugammami alina ku ssente naye ng’alina ennyonta y’omukwano. Kuba 0783607072.
Nze Fred Ssebuuma 24. Nnoonya omukyala ow’okuwasa, ow’emyaka 18- 20, si mweru,si mumpi ate si muwanvu nnyo, atazaalangako ate nga muntumulamu era mwesigwa. Kuba 0701298379.
Nze Paul 30. Nnoonya omukazi alina ssente, ow’emyaka 25-45, Owenkima totawaana. Kuba 0785379925 oba 0757175159.
Nze Ronny 36. Mbeera Kampala. Nkola, nnasoma era nnina laavu. Nneetaaga omukyala nga mulungi, akola, wa buvunaanyizibwa ng’abeera mu Kampala. Ndi Ku ssimu 0753746755.
Nze Haruna. Nnina emyaka 31. Mbeera Lunguja. Nnoonya omukazi omukulu mu birowoozo n’emyaka tukole omukwano nga gwa kyama. Ayagala ssente tonkubira kubanga sizirina. Kuba 0703616345.
Nze Ibra. Njagala omukazi ow’okuwasa ng’ali siriyaasi. Kuba ku 0758128046.
Nnoonya omukyala ow’ekyama ng’ali wakati w’emyaka 18-28 tukole omukwano. Ayagala kuba 0705963410.
Nnoonya omukyala ow’okuwasa alina ku ddiini mu mutima, ataasoma nnyo era nga si munene nnyo nga wa myaka 23-30. Ali siriyaasi ankubire ku 0754493970.
Nze WK 48. Nnoonya omukazi ow’emyaka 40-58, akola ng’alina enkulaakulana. Sifa ku bulungi oba sayizi. Nasoma nnina diguli bbiri naye siri mugagga. Ali siriyaasi kuba 0705987919.
Nze Henry 26. Mbeera Seeta- Mukono. Nnoonya omukazi ali wakati w’emyaka 18-22 ng’amanyi omukwano. Asobola kuba 0705780327/0779540426.
Nze M Ssali. Njagala omukyala ali ku ddagara lya ARVS, akola ng’alabika bulungi nga nze. Kuba 0706240219.
Nnoonya omukazi omunene, nga wa myaka 23. Nze nnina emyaka 37. Nkola mu dduuka. Kuba 0788450266.
Abasajja
Nze Aisha 30 mbeera mu Kampala. Nnina omwana omu, ndabika bulungi era ffiga ngyekakasa. Nnoonya omwami Omusiraamu, ow’emyaka 38- 45, atapangisa,alina omulimu, omwetegefu okugenda ewaffe, atasussa baana basatu ng’alina obusobozi bw’okundabirira. Kuba 0757897397.
Nze Shadia Nakintu 28. Ntunda dduuka, mbeera Mukono. Nnoonya omwami gwenaabeera naye ewange kuba nazimba. Njagala wa myaka 35-40, amanyi omukwano kuba nange ngwekakasa, ateekeddwa okuba ng’alabika bulungi kuba nange bwendi ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0757174663 oba 0778838085.
Nze Sarah Nakidde 28, mbeera Mukono. Nnoonya omwami gwenabeera naye, ow’emyaka 35-40, amanyi laavu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.Ntunda dduuka era nazimba ate ffiga yange ngyekakasa. Kuba 0706699005 oba 0782330445.
Nze Milly Nakalyowa 40. Neddira Njaza. mbeera Mpereerwe, nazaalako era ndabika bulungi. Njagala omwami atapangisa nga mwetegefu okugenda ewaffe. Njagala ng’asussa emyaka 40 , alina eddiini, empisa, afaayo, amanyi omukwano kuba nange ngwekakasa. Kuba 0783545484.
NZE Zaitun Nagujja 34. Neddira Njovu. Mbeera Butambala. Mbeera mu bazadde bange. Nazaalako. Ndi ku ddagala lya ARVS. Njagala omwami ow’emyaka 40-60, atya Katonda, omwesimbu andage essanyu nga mukkakkamu. Kuba 0756248912.
Nze Aisha Nanteza 36. Nazaalako naye abaana sibeera nabo. Nnoonya omwami alina omulimu omulungi, ow’emyaka 45- 50, alina empisa, afaayo, atapangisa nga tavuga boda aba takisi ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0750091491.
Nze Aisha. Nnina emyaka 30. Mbeera mu Kampala. Ndabika bulungi. Nnoonya omwami ali ku ddagala lya ARVS. Ateekwa okuba nga Musiraamu, alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa, eyazimba, amanyi omukwano, ali siriyaasi nga mwetegefu okugenda mu bakadde bange. Kuba 0757674093 oba 0772578807.
Nze Angela. Nnina emyaka 29. Njagala omwami okuva ku myaka 37-50, Omuganda, Omusoga oba Omunyakole. Nneetaaga asomyeko. Kuba 0702373450.
Nnoonya omwami ow’emyaka 32-55 ng’alina obusobozi. Nze Shamim.Nnina emyaka 27. Ndi mutonotono. Kuba 0774382545.
Nze NJS, mbeera Kajjansi. Nnina emyaka 29. Nnoonya omusajja ow’emyaka 35-60, eyazimba, alina omulimu gw’obuvunaanyizibwa, nga mwetegefu okugenda ewaffe, atya Katonda nga nze. Kuba 0785209080.
Okulabula
KKAMPUNI ya New Vision n’olupapula lwa Bukedde tetuvunaanyizibwa ku biyinza kuva mu kufulumya abantu abanoonya wadde ebiyinza okubaawo nga bamaze okufuna abaagalwa.
Obuvunaanyizibwa bwaffe bwa kufulumya ebyo ebituweerezeddwa mu mabaluwa, essimu, omukutu gwaffe ogwa 8338 ne e-mail. Kirungi bw’oba ofunye akusiima , omusisinkane n’omuntu omulala yenna gwe weesiga ate mu kifo eky’olukale.
Ekirala, bw’oba oweereza obubaka bwonna kozesa ennamba yo ey’essimu sso ssi ya mulala. Gy’oweererezzaako obubaka gye tujja na_ e okufulumya.