TOP

Ow’emifumbi ayagala mukazi muserikale

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

Okusinga njagala mukazi nga muserikale bw’aba muddugavu ate bw’aba muzungu njagala okuva mu mawanga omuli Amerika, Canada, Germany n'awalala okuva ku myaka 18 n’okweyongerayo.

Kapoyera1 703x422

Kapoyera

 

Kiki mwana mulenzi? Sigamba mpozzi ggwe

Ogamba ki? Nnoonya mukazi

Mpozzi ggwe ani? Nze Peter Ssennyonjo eyakazibwaako erya Kapoyera G-unit.

Okola mulimu ki? Ndi yinginiya mu byobuzimbi ate nkola ng'omukuumi w'abayimbi ne basereebu.

Obeera wa? Mbeera Masaka.

Olina abaana bameka? Sizaalangako.

Weddira ki? Nneddira Nnyonyi Nyange.

Oyagala mukazi alina bisaanyizo ki? Okusinga njagala mukazi nga muserikale bw’aba muddugavu ate bw’aba muzungu njagala okuva mu mawanga omuli Amerika, Canada, Germany n'awalala okuva ku myaka 18 n’okweyongerayo.

Lwaki oyagala muserikale ng'abasinga babadduka? Ekyo kyama kyange. Bakufunye batya? Ndi ku ssimu 0773981350.  

NZE Allan Kirabira 32. Mbeera Kira. Ndi ddereeva ate ntunda dduuka. Nnina abaana babiri era nazimba. Nakuguka mu by'amasannyalaze. Nnoonya omukazi omwetegefu okukola obufumbo. Ateekeddwa okuba ng'alina empisa, alina eddiini, omwetegefu okwekebeza omusaayi nga tasussa myaka 30. Kuba 0759301452 oba 0784785883.

Nze Kamada Serugo 27. Mbeera Kiteezi. Neddira Mmamba. Nnina omwana omu. Ndi muzimbi. Nnoonya mukazi alina ffi ga, omweru, ow’emyaka 20-30 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0750915067.

Nnoonya omukazi ow’emyaka 20- 28, ng’alina akabina nga wa kigero. Nze Joseph. Mbeera Masaka. Kuba 0758060604.

Nze Johnson Lubega. Mbeera Mitala Maria. Nnina emyaka 35. Nnoonya sugammami ow’emyaka 40-55, ali siriyaasi nga mwetegefu okukolagana nange tusobole okwekulaakulanya. Kuba 0703098529.

Nze Umaru. Nnina emyaka 35. Nnoonya omukazi ow’emyaka 25-30, alina siriimu, alabika bulungi, ow’empisa, muyonjo, akola nga Musiraamu. Nze nneddira Mmamba. Ansiimye kuba 0751332414.

Nnoonya omukazi alina ku ssente ng’onoozinteekamu nkulage omukwano. Ndi wa myaka 27. Mbeera Luweero. Njagala asussa emyaka 30 n’okweyongerayo. Ali siriyaasi kuba 0790014700.

Nnoonya omukazi ali ku ARVs, ali wakati w’emyaka 18-35. Nze nnina 28. Ndi Muteso era ndi Soroti. Nkanika masimu. Nnina ne wooteeri. Olina okuba omukozi. Kuba 0705408839.

Nze Allan 32. Nnoonya sugammami ow’emyaka 35-45, alina ku ssente kubanga nze sirina naye omukwano gwo nnina mungi. Sifa ku ggwanga.Kuba 0754959626.

Nnoonya omukyala ow’okuwasa nga yasomako, asobola okukola bizinensi wadde nga teyasomako.Nsinga kwagala musomesa oba musawo. Njagala atazaalangako. Anjagala akube 0701473861oba 0701641616.

Nze Mukasa. Nnina emyaka 35. Nkola era sipangisa. Njagala omukyala gwenaakuba embaga, atya Katonda, akola, akuze mu birowoozo, atali muyaaye, amanyi ky’ayagala, ali wakati w’emyaka 25-45. Alina ebyo kuba 0757010422.

Nze Lawrence. Nnina emyaka 27. Nnoonya omukyala ayagala obufumbo, atasussa myaka 24. Njagala Munyarwanda oba Muhima. Ndi ku ssimu. 0754454789.

Nze Jackson Osillo 55. Mbeera Mengo. Nkolera mu katale ka St. Balikuddembe. Banzaala Tororo. Ndi mulokole. Nnoonya omukyala omwetegefu okukola obufumbo, ow’emyaka 28-35 ng’atya Katonda. Sifuddeyo ku ggwanga. Njagala omwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba ssimu 0775934368.

Nze MM. Njagala omukyala ow’okuwasa nga wa myaka 25-35. ndi mwetegefu okumufunira ekyokukola. Mbeera Mubende. Alina okuba ng’ali ku ARVs. Kuba 0758160040.

Nze Haruna Kateregga. Mbeera Ntebe. Nnoonya omuwala nga Musiraamu ng’alina eddiini. Tulina okwekebeza omusaayi. Kuba 0752296579.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako