TOP

Abeekakasa mu laavu tubalinze

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2017

Njagala musajja Musiraamu, alina eddiini nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Njagala yazimba nga tasussa mwana omu ng’ali wakati w’emyaka 27 - 40.

Sulayina 703x422

Sulayina

Weebale kunyirira Nze bwentyo
 
Ye ggwe ani maama? Nze Sulayina Nansereko
 
Obeera wa? Mbeera Kazo
 
Gy’obeera watusinza ki? Tewali buzibu
 
Weddira ki? Neddira Kkobe.
 
Olinayo ku baana oba si by’oliko? Nninayo omwana omu.
 
Ozaalibwa wa? Nzaalibwa Masaka.
 
Kiki ekisinze okukumalako emirembe? Obutabeera na musajja kye kizibu kyange.
 
Hoo, wano w’otuuse oli ku kituufu. Oyagala musajja afaanana atya?
Njagala musajja Musiraamu, alina eddiini nga mwetegefu
okwekebeza omusaayi. Njagala yazimba nga tasussa mwana omu ng’ali wakati w’emyaka 27 - 40.
 
Olimu kyama ki?
Mmanyi bwe bakwata omusajja era nkakasa nti ananjagala tajja kwejjusa. Ndi ku ssimu 0700869111.

Noonya omusajja omukkakkamu, omwesimbu, ow’ekitiibwa ate ng’alina omulimu. Njagala ali wakati w’emyaka 26 - 35 nga yazimba ate nga yeevuga. Nze ndi Ntebe era ndi ku ssimu 0701081678.

Nze Hadijja Nafula , nnina emyaka 21 nga mbeera Busia. Nakuguka mu byakwekolako, ssizaalangako. Nnoonya musajja Musiraamu okuva ku myaka 30 okweyongerayo. Njagala amanyi omukwano, alina empisa, afaayo nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Ndi ku ssimu 0704851555.

Nze Tina, mbeera Kaliisizo, nnina emyaka 35 nga neddira Ngabi. Nkola mu saluuni, nnina n’abaana babiri wadde nga sibeera nabo. Nnoonya musajja wa buvunaanyizibwa ng’ali ku ddagala ng’alabika bulungi kuba nange bwendi. Alina okubeera ng’akola ate ng’atya Katonda. Kuba 0705034366.

Nze Lukia Nakiyemba, ndi wa myaka 29 mbeera Mbale. Nze nazaalako era nzaalibwa Iganga. Nnoonya musajja alina empisa okuva ku myaka 30 - 40 ng’amanyi omukwano ate nga Musiraamu. Alina okuba omwetegefu okubeera n’abaana bange n’okugenda ewaffe mu bakadde. Ssimu 0773709192

Nze Lydia Nabirye, ndi wa myaka 25, mbeera Jinja naye nzaalibwa Kamuli. Nnina omwana omu, era nakuguka mu byakutunga ngoye. Nnoonya omwami ng’alabika bulungi kuba nange bwe ndi okuva ku myaka 30 - 40. Njagala yeekakasa mu mukwano, alina omulimu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba ku ssimu eno, 0757209213.

Noonya omwami ali wakati w’emyaka 40 - 60 ng’akola kuba nange nkola. Nnina emyaka 38, ndi mukyala mutonotono. Kuba O7OI974397.

Nze Suzan Namutebi, emyaka 47, mbeera Nakulabye, neddira Mamba. Sirina baana naye nakuguka mu byakufumba era gwe mulimu gwe nkola. Noonya mwami wakati w’emyaka 48 - 57, alina empisa n’omulimu ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0782785366.

Nze Stella ndabika bulungi, nnina emyaka 26 n’omwana omu. Nneetaaga omwami atya Katonda, afaayo, amanyi okwagala. Njagala ali wakati w’emyaka 30- 45. Asiimye kuba 0752496977.

Nze Sharon Nabisere 25,neddira Mpologoma, mbe era Jinja, ntunda mu dduuka lya ngatto era sizaalangako. Noonya mwami amanyi omukwano kuba nange ngwekakasa. Njagala ali wakati w’emyaka 25 - 40 bwe tunanyumirwa obulamu nga mwetegefu n’okwekebeza omusaayi. Kuba essimu 0753493517

Nze Tina, nnina emyaka 29 n’omwana omu, mbeera Kayabwe nnoonya omusajja okutandikira ku myaka 40 n’okweyongerayo. Njagala ali siriyaasi era bw’oba tokitegeeza tokuba nkwegayiridde 0756813746.

Nze Moureen Namale, nnoonya omwami omulungi, owobuvunaanyizibwa, ng’alina eddiini, omulimu, alina ku ssente ate nga n’omukwano agutegeera. Njagala mwetegefu okwekebe za omusaayi n’okukyala mu bazadde bange. Sizaalangako ate nnina emyaka 18, omusajja alina okuba wakati w’emyaka 20 - 28. Ow’e Nkonge takuba. Ate ali siriyaasi yekka y’aba akuba ku 0753789310.

 Nnoonya omukazi omukozi

Amannya ggwe ani?
Nze Siraje Isabirye.
 
Olina emyaka emeka?
Nnina 28.
 
Obeera wa?
Mbeera Bweyogerere
 
Okola mulimu ki?
Ndi musuubuzi wa bibala mu butale obw’enjawulo.
 
Lwaki osazeewo okunoonya?
 
Nkooye okusulanga nzekka mu nnyumba era omukyala anaaba  nsiimye alina okubeera mwetegefu okunfumbirwa
n’okuzaala ate nga Musiraamu.
 
Onoonya mukyala atya?
Nnoonya omukyala omweru ng’alina akabina nga Munyankole oba Omuganda naye Omusoga totawaana. Njagala ali wakati w’emyaka 20-27 ne bw’aba yazaalako sifaayo kasita atasussa mwana omu. Alina okuba  g’akola kuba nange nkola. Alina ebisaanyizo ebyo
nkubira ku ssimu, 0782291312.

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo 

NZE Frank Bukenya 28, mbeera Mengo, nnina abaana babiri, nkola mu saluuni. Nnoonya mukazi Mulokole nga mwetegefu okukola obufumbo atali muyaaye okuva ku myaka 24 ne 25. Kuba 0754233963.

Nze Jonathan, nnoonya omukyala Omulokole ng’ali wakati w’emyaka 20-25. Nnina emyaka 31 nga ndi ku ssimu 0706254637.

Nze Timothy Bwambale 35, mbeera Bugoloobi, nzaalibwa Kasese, ssizaalangako ndi mufumbi. Nnoonya mukyala ng’alabika bulungi, atasussa myaka 33. Okwekebeza omusaayi tteeka. Kuba 0751604942.

Noonya omukyala ow’okuwasa nga yasomako, Muganda, Mukatoliki, mweru, tazaalangako. Njagala ali wakati w’emyaka 24 - 30. Kuba 0706900009.

Nze Johnston , nnina emyaka 27. Njagala omukyala akuze oba sugammami ne bwaba nga si mugagga nnyo naye nga waabuvunaanyizibwa. Njagala muyonjo, alina eddiini. Ebisingawo kuba 0704967108.

Nze Patrick, nnina emyaka 34, mbeera Masaka. Nneddira Nte, ndi muzimbi, nnina omwana omu. Nnoonya mukazi alina omulimu ogw’obuvunaanyizibwa atasussa myaka 40. Njagala alina empisa nga mwetegefu okwekebeza. Ndi ku ssimu eno 0755447271.

Nze John Aliddeki Bukenya 35, mbeera Kanyanya. Nnoonya mukyala akola gwe nnabeera naye kuba nazimba. Ali wakati w’emyaka 25 - 35 nkubira ku 0751444950.

Nze Allan Kisambira, emyaka 32 mbeera Kira. Ndi ddereeva ate ntunda n’edduuka,. Nnina abaana babiri naye sibeera nabo. Nasoma byamasannyalaze. Nnoonya mukazi nga mwetegefu okukola obufumbo. Njagala alina empisa, alina eddiini, mukakamu, atasussa myaka 30. Ssimu 0759301452 ne 0784785883.

Nze Kamada Serugo 27 mbeera Kiteezi, n’eddira Mamba. Ndi muzimbi nzaalibwa Masaka era nninayo omwana omu. Nnoonya mukyala wakati w’emyaka 20 - 30, alina

omulimu, mweru nga teyeddira Mbogo ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Ndi ku ssimu 0750915067.

Nze Sylvester 55, ndi musomesa omutendeke, mbeera Ntebe. Nnoonya mukyala Muzungu nga Mulokole okuva mu mawanga omuli Germany, Newziland, Australia, Uk, Denmark n’awalala. Ateekwa okubeera ng’atya Katonda. Ng’ali wakati w’emyaka 20 - 60. Ssimu 0753152617 oba Email. sodoiocai@gmail.com.

Nze Richard, nnina emyaka 36. Nnina amaka gange wano e Kamwokya era ndi musajja mukozi. Njagala omukyala ng’alabika bulungi akola, ng’akulembeza Katonda mu buli ky’akola ng’amanyi ky’ayagala. Njagala eyakoowa agayaaye, anantwala ewaabwe. Ali wakati w’emyaka 24 - 45 nkubira ku 0752890491 tulabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...