TOP

Nnoonya omusajja alina empisa ng’afaayo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2018

Okusinga njagala omwami ow’emyaka 30 okweyongerayo, akola nga mwetegefu okukola obufumbo nga ssi muyaaye, afaayo alina empisa nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Zali 703x422

Amannya ggwe ani?

Nze Hadijjah Namubiru.

Obeera wa?

Mbeera Mukono

Olina emyaka emeka?

Ndi wa myaka 28.

Okola mulimu ki?

Ntunga kyalaani n’okusiba enviiri.

Olina abaana?

Ye nazaalako.

Oyagala musajja alina bisaanyizo ki?

Okusinga njagala omwami ow’emyaka 30 okweyongerayo, akola nga mwetegefu okukola obufumbo nga ssi muyaaye, afaayo alina empisa nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Bakufunye batya?

Bakube 0701038200.

ABANOONYA ABABEEZI ABALALA

NZE Grace Namuli 42. Mbeera Ggangu. Nnoonya omusajja ali wakati w'emyaka 45-55 ng'asobola okumuwasa ne bw’aba Musiraamu ng'alina bakyala be abalala sifaayo. Asobola kuba 0775326663.

Nze Nnaalongo Sarah Nakabugo,32. Mbeera Ntebe. Nnoonya omusajja owokufumbirwa naye nga simuyaaye. Njagala ananzikiriza okubeera n'abalongo bange. Ssaagala ananziba ssente zange kuba zirabirira balongo bange. Asobola kuba 0705848936 .

Nze Suzan Namutebi 47. Mbeera Nakulabye. Nneddira Mmamba, sizaalangako, ntunda mu dduuka. Njagala omwami ow’emyaka 45- 55, alina omulimu, asobola okunfunira omulimu ogusinga ku ggwe nninanga, atalina mukazi, alina empisa, afaayo nga Mukulisitaayo oba Mukatoliki. Tujja kwekebeza omusaayi. Kuba 0752352998.

Nze Sophia Mutesi. Mbeera Mbale. Nnina emyaka 47. Ntunda ngoye era sizaalangako. Njagala omwami eyakoowa eby’okuzaala, alina amakaage, omwetegefu okugenda mu bazadde bange n’okwekebeza omusaayi. Njagala wa myaka 50-70 nga yeesobola nga nze mu bya ssente. Kuba 0701726207 oba 0779951995 twogere ebisingawo.

Nze Ryne Mumbejja 27. Mbeera Luweero, neddira Ngabi, nazaalako era ndabika bulungi. Nakuguka mu bya kutimba era gwe mulimu gwe nkola. Njagala omwami nga naye alabika bulungi omwetegefu okwekebeza omusaayi, okukyala mu bakadde bange. Nsinga kwagala Mulokole nga wa myaka 35-40 era nga yazimba. Kuba 0753751023.

Nze Cathy Nakimuli 24. Mbeera Kansanga. Ntunda sipeeya wa mmotoka, sizalaangako, nakula bulungi kuba ffi ga yange ngyekakasa. Njagala omwami amanyi laavu nga nze, ow’emyaka 40-50, omwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0778838085 oba 0794135204

Nze Shakira Mulungi 24. Ndabika bulungi, okugulu kwange okumu kulemamu. Ndi musomesa mutendeke. Njagala omwami alina eddiini n’empisa nga mukkakkamu. Kuba 0701208268.

Nze Shirat Nakimera 26. Mbeera Maganjo. Nnoonya omwami omutetenkanya nga nze, nga wa myaka 30- 55, alina empisa, afaayo. Kuba 0752086345.

Nze Nisha Nakabuye 20. Mbeera Gayaza. Nnoonya omwami ow’amazima, alina eddiini ku mutima nga wa myaka 30- 40. Nkubirako twogere ebisingawo ku 075362170.

Nze Fatumah Namutebi. Mbeera Kasanda. Nnina emyaka 27. Nnoonya omwami nga muntumulamu, alina eddiini nga wa myaka 35- 60. Kuba 0752086023.

Nze Shabiba Namukasa 23. Mbeera Nateete. Nnoonya omwami atya Katonda, ow’emyaka 30-50, amanyi omukwano nga si muyaaye. Kuba 0706197211

Nze Zaituni Nansubuga 22. Mbeera Namasuba. Nnoonya omwami alina eddiini ng’ali wakati w’emyaka 35 ne 50. Ali siriyaasi kuba 0751258656 twogere ebisingawo.

Nze Falidah Nankya. Nnina emyaka 29 Mbeera Mbarara. Njagala omwami atya Katonda, ow’emyaka 38-60 nga mwesimbu. Kuba 0703438188

Nze Sylivia Kansiime. Nnina emyaka 34. Mbeera Kampala. Nnina omwana. Nnoonya omwami omuntumulamu, ow’obuvunaanyizibwa, ow’emyaka 35-45 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0757155833 oba 0787696994.

Nze Anita, nnina emyaka 30. Mbeera mu Kampala. Njagala omusajja alina siriimu naye ng’alabika bulungi nga wa myaka 30-50. Kuba 0701553783.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....