TOP

Eyanoonyeza mu Bukedde atenda omukwano gwa bba

By Musasi wa Bukedde

Added 29th March 2018

EYALABIKIRA mu Banoonya ba Bukedde atenda mukwano bba gw’amulaga. Rukia Nassimbwa omutuuze w’e Mateete Ssembabule agamba nti okuva lwe yafuna omwami we Haruna Mutebi obulamu bwe bwakyuka kuba tamujuza mu bintu ebisinga obungi naddala eby’omukwano.

Wambu 703x422

Wano nga beeraga amapenzi. Ate ku ddyo, Haruna ne Rukia ku mbaga yaabwe.

Yannyonnyodde bwati; Nnalabikira mu banoonya ba Bukedde nga December 20, 2015.

Essimu ze nafuna zampitirirako obungi. Newankubadde nnali nnoonya omwami atayogera naye mu bankubira mwalimu n’aboogera nga beetaaga okuneewangulira.

Mu bangi nalondamu omwagalwa wange Haruna Mutebi kuba ye yalina ebisaanyizo bye njagala.

Namutwala mu maka ga bakadde bange, Jalia Namugga ne mwanjulayo nga June 30, 2016.

Omukolo gwali gga kitiibwa kuba yatwala ebirabo bingi ddala omwali obusawo bwa ssukaali, omuceere n'ebirala.

Twazzaako embaga yaffe enkeera eyacamula abatuuze b’ekibuga ky’e Mateete Ssembabule.

Obulamu bwange okutwaliza awamu bwatereera kuba omwami wange andaga omukwano ogwa nnamaddala ate afaayo nnyo gyendi ku buli nsonga era ke kanyiriro kano kendiko.

Okumanya amanyi omukwano olumu antonera ebirabo ne kyongera okukuuma omukwano gwaffe.

Mu bufumbo bwaffe tufuniddemu ebirungi bingi ddala omuli okwekulaakulanya, emirembe, essanyu, ezzadde n’ebirala.

Ate Haruna Mutebi omusuubuzi ate nga mulimi e Mateete Ssembabule nga naye alina obuzibu bw’obutayogera yeebazizza nnyo Bukedde okumufunira omukyala amanyi omukwano kuba amukoledde ebirungi bingi omuli okumuwa ezadde, okumuwonya ekiwuubaalo n’ebirala bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai