TOP

Njagala aneeyanjula ewaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

Gw’oyagala akubiite, alina kuba na bisaanyizo ki? Njagala mwami ali wakati w’emyaka 21 -30 ng’atya Katonda, mwetegefu okugenda ewaffe, okwekebeza omusaayi tteeka ng’alina amaka n’ebirala. Nze sizaalangako era omwetegefu, ndi ku ssimu, 0701187651.

Funayo 703x422

Getrude Kabahururiza. ng'amema

Ondabikidde ng’akola obwa modo!

Ngezaako lwakuba nkola birala.

Ggwe ani?

Nze Getrude Kabahururiza.

Obeera wa?

Mbeera Salama naye nga nzaalibwa Fortportal.

Obuzibu osinze kubusanga wa?

Bwa butabeera na musajja ambiita nange ampiseeko nga bbebi.

Olina emyaka emmeka?

Mpezezza 21.

Gw’oyagala akubiite, alina kuba na bisaanyizo ki?

Njagala mwami ali wakati w’emyaka 21 -30 ng’atya Katonda, mwetegefu okugenda ewaffe, okwekebeza omusaayi tteeka ng’alina amaka n’ebirala. Nze sizaalangako era omwetegefu, ndi ku ssimu, 0701187651.

Nze Jalia N, nnina emyaka 30 nga mbeera Kawanda. Ndi musuubuzi mu Owino, nazaalako. Nnoonya mwami ali ku ddagala ng’alabika bulungi kuba nange ndi mu mbeera nnungi. Njagala ali wakati w’emyaka 38 - 45 ng’alina ke yeekoledde kuba nange ndi bulungiko. Kuba essimu, 0756822898.

Nze Sarah Nalumansi, nnina emyaka 50, neddira Ffumbe nga mbeera Kaleerwe. Nnazaalako naye njagala omwami okuva ku myaka 50 n’okweyongerayo. Njagala bwe tunaasobola okuyambagana ng'ali ku ddagala lya ARVS ate nga tapangisa. Ndi ku ssimu, 0788707488.

Nze Norah Nankya, 47, mbeera Kawempe. Ndi mufumbi, sizaalangako, ndi Mukatuliki. Nnoonya mwami ali wakati w’emyaka 47 - 55 nga mwetegefu okukola obufumbo n’okwekebeza omusaayi. Nkubira ku 0782785366.

Mbeera Mukono, nze Racheal Nazziwa nga nnina emyaka 32. Nasoma era nakuguka mu bya kufumba ete nga nnazaalako. Njagala omusajja ng’ali ku ddagala lya ARVS nga mwetegefu okugenda mu bazadde bange. Njagala okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo. Sifuddeyo oba lina abaana. Ssimu 0782091138.

Nnazaalako naye mbeera ne bazadde bange e Kajjansi. Nze Anet Nakabuye, nnina emyaka 42. Nnoonya mwami ali ku ddagala lya ARVS sifa ku ggwanga, okuva ku myaka 48 n’okweyongerayo. Bw’oba okimanyi ng’otya Katonda, nkubira ku 0705939233.

Nze Christine Nalumansi 28, mbeera Seguku, nneddira Ffumbe. Nze nkola mu dduuka, nina omwana omu. Nnoonya omwami ananjagala n'omwana wange, alina empisa, akola n'okugenda ewaffe. Omwetegefu nkubira ku 0703703033.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Kylianmbappe1 220x290

Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi...

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU