TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Eyalabikira mu Banoonya ba Bukedde afunye amusuuta

Eyalabikira mu Banoonya ba Bukedde afunye amusuuta

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2018

OMUWALA eyalabikira mu banoonya ba Bukedde akyazizza omusajja mu bakadde be. Hadija Namakula, 26 omutunzi w’engoye ate nga mutuuze w’e Kagoma ku lw’e Bombo yakyazizza Juma Semuyaba mu maka ga ssenga we Rehema Namakula ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Sala 703x422

Hadija ng’ali n’omusajja we Juma mu kukyala.

Namakula okufuna omusajja aluyita lutabaalo lwennyini kuba tekimubeeredde kyangu okufuna omusajja omutuufu alina ebisaanyizo by’ayagala era emboozi ye aginyumya bwati; Mbadde n’okusoomoozebwa mu by’omukwano kungi okuva emabega olw’okuba nnina obuzibu bw’obutayogera n’okuwulira newankubadde nga buli kimu nkisobola bulungi kakubeere kukola mirimu gy’awaka.

Kintwalidde ekiseera nga njagala nnyo okufuna omusajja nga naye ali mu mbeera ze zimu bwe tusobola okukwatagana ate nga Musiraamu nga nze.

Gye buvuddeko katono mu June w’omwaka guno, kyampalirizza okwegatta mu Banoonya ba Bukedde nsobole okufuna omusajja ono.

Olunaku lwe nnalabikira mu banoonya nafuna essimu ezitamanyiddwa muwendo. Kw’olwo saafuna ku mpeke ya tulo nga tukola kimu kyokka kya kukwata ssimu.

Nafuna essimu nnyingi ddala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga mwalimu aboogera n’abatayogera, newankubadde nga nnali ndaze nti njagala musajja atayogera.

Mu bangi nalondamu Juma Semuyaba kuba ye yalina ebisaanyizo bye njagala okusinga ku basajja abalala.

Twatandikirawo okukola enteekateeka ne tusisinkana. Olwamulabako namusiimirawo okusinziira ku ndabika ye.

Olw’okuba twali tusiimaganye twasaklawo okugenda butereevu okwekebeza omusaayi. Ebyava mu musaayi byali birungi era nga tewali kitulemesa kugenda mu maaso.

Omwami wange yasalawo naye antwale mu ddwaaliro eddala e Nabweru okwongera okwekebejja omusaayi okuzuulira ddala ekituufu. Bwe twamala okwekebeza nayo byavaamu nga birungi ne kyongera okutuwa essanyu.

Twatandikiddewo okutambuza ensonga zaffe era twasookedde wa ssenga, omwami wange gye yakyadde nga kati tuli mu nteekateeka z’okwanjula mwami wange ate tuzzeeko okunkuba kadaali nsobole nange okusamba ku gawuni.

SEMUYABA AYOGEDDE

Ate Juma Semuyaba 38 omutuuze w’e Lugoba Kazo North, omulunzi w’enkoko, yeebazizza nnyo Bukedde okumufunira omukyala kuba naye ayise mu buzibu bungi kuba abakazi abasinga obungi b’abadde alaba nga tebalina bisaanyizo by’ayagala. Abamu eddiini n’okwogera bibadde bibaggyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda