TOP

Nnoonya omwami atayogera

By Musasi wa Bukedde

Added 26th March 2019

Njagala omwami nga naye tayogera bwe tusobola okufaanaganya embeera, alina eddiini okusinga nga Mulokole kuba nange ndi Mulokole oba Omukulisitaayo nga wa buvunaanyizibwa, asussa emyaka 30 ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Panda 703x422

Ggwe ani?

Mary Nakubulwa

Obeera wa?

Kasubi

Okola mulimu ki?

Ntunga ngoye era gwe mulimu gwe nakugukamu

Olina emyaka emeka?

Ndi wa 27. Olina abaanabameka? Ssizaalangako era sifumbirwangako.

Olina buzibu ki?

Nnina obuzibu bw'okwogera naye nga mpulira.

Oyagala mwami alina bisaanyizo ki?

Njagala omwami nga naye tayogera bwe tusobola okufaanaganya embeera, alina eddiini okusinga nga Mulokole kuba nange ndi Mulokole oba Omukulisitaayo nga wa buvunaanyizibwa, asussa emyaka 30 ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Bakufunye batya?

Bakube 0753723580.

NZE Mary Nakirijja 25, mbeera Kasubi, nakuguka mu bya kkompyuta, nnina omwana omu era nzaalibwa Masaka. Nnoonya omwami ali ku ddagala lya ARVS, ow’emyaka 29-40, alina ke yeekoledde, ow’obuvunaanyizibwa, akola, alabika obulungi kuba nange bwendi ate nga munene. Kuba 0778542116.

Nze Annet Nampeera 23, neddira Nkima. Nasomako era nazaalako. Nnoonya omwami ow’ emyaka 30-40, atapangisa asobola okunfunira omulimu, amanyi omukwano, alina empisa nga talina mukazi ate nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0756733994 oba 0759160556

Nze Alice Namusi 25 neddira Nkima. Nnoonya omwami alina omulimu asobola okundabirira nga yazimba. Sifuddeyo oba alina abaana kuba nange nnina. Atalina mukazi ate nga mwetegefu okugenda mu bakadde bange. Kuba 0758682022 oba 0773459952.

Nze Lilian Mukisa 30, mbeera Matugga . Nnoonya omwami ali wakati w’emyaka 45-50 nga mwetegefu okukyala mu bakadde bange. Njagala atya Katonda era nga wa mazima nnyo kuba nange ndi mweruufu Ansiimye kuba 0705092948

Nze Eva Nakimera 28 nga mbeera Kayabwe. Nnina omwana omu nga nnoonya omusajja owookubeera naye nga wa myaka 35. Ansiimye kuba 0706580612.

Sifa ku ddiini wadde eggwanga. Nze Mina. Ndi muwala mulungi era ntunda mu wooteeri. Nnoonya omusajja twagalane mu kyama. Ali siriyaasi kuba 0778838085 twogere.

Nnoonya omwami ali wakati w’emyaka 38-50. Nze nnina emyaka 33. Asobola okubeera mukwano gwange ng’ali siriyaasi kuba 0757414954.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...

Baabano babbulooka b’e Mulago abateeka...

BAKAYUNGIRIZI abaali bamanyiddwa ennyo mu kutunda ettaka kyewuunyisa nti kati baatuuka dda ne mu malwaliro!

Minisita 220x290

Kkamera ziyambye okulaga abatemu...

KKAMERA za poliisi ez’oku nguudo n’ezobwannannyini, y’emu ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni ekkumi ze yateekawo...

Capture 220x290

Wuuno Fauziah Nakitende eyafuula...

Wuuno Fauziah Nakitende eyafuula bba Joseph Sseguya eng'oma gy'akuba nga bw'ayagala

Capture 220x290

Ow'e 79 aloopye bba mu b'obuyinza:...

Ow'e 79 aloopye bba mu b'obuyinza: Amulanze kumusuulawo n'apepeya n'abakazi abalala